Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi bali ku mugano e Moroto
Abasuubuzi bakozesezza akakisa k’enteekateeka z’amagye okukuza olunaku lwa Terehesita mu disitrulikiti ye Moroto ne baseera emmere mu kitundu kino. Emikolo gy’omwaka guno gitambulira ku mulamwa ogugamba nti okujaguza eky’okugatta ekitundu kye Karamoja ku by’enfuna by’eggwanga. Kati essowaani y’akawunga n’ebijanjaalo ya 3500 okuva ku 2500 sso […]
Umeme efiirwa buwumbi
Obuwumbi obusoba mu 19 bwebufiirwa buli mwezi mu kubba amasanyalaze mu bitundu bya Elgon. Akulira ekitongole kya UMEME mu bitundu by’e Mbale Edison Arinaitwe agamba ab’e Buduuda, Manafwa, Sironko, Bulambuli, Pallisa ne Budaka amasanyalaze bagabidde ddala nga kuno bagasseko okubba n’emiti ne waya z’amasanyalaze. Agamba […]
Gula Coke w’erinnya lyo
Okimanyi nti kati osobola okunywa soda wa cocacola ng’aliko erinnya lyo Aba kkampuni ya century bottling company abasobola soda wa Coke baleese akapya nga kati osobola okufuna soda ng’aliko erinnya lyo ate ku bbeeyi yeemu. Amannya gano balonze kw’ago agasinga okutuumibwa ag’olungereza n’ekinnansi. Ng’atongozeza kawefube […]
Abe wa kisekka basiba bikutuka
Kkooti enkulu wano mu Kampala egaanye okuyimiriza okukulakulanya akatale ke Wakisekka nga bwekyasabibwa abamu ku basuubuzi. Kino kiddiridde abasuubuzi abamu okuddukira mu kkooti nga baagala okuzimba kwonna kuyimirizibwe kubanga tebaweebwa wakulaga nga era baagala okusooka okuteeka omukono ku ndagaano eraga buli omu w’agenda okukolera. Omulamuzi […]
Endagaano ku nyonyi
Abakulembeze 4 okuva mu mawanga omuli Uganda Kenya, Rwanda ne South Sudan abatadde omukono kundagaano, okwongera okutumbula entambula y’enyonyi mu mawanga gano. Bano okutuuka kundagaano eno babadde mu kibuga Nairobi mu lukungaana lwa Northern Corridor Integration Project. Abakulembeze bano era balagidde ba minister okuva mu […]
Abasuubuzi ba Kisekka mazzeemu okwekalakaasa
Emirimu gyisanyaladde mu katale kewa Kiseka oluvanyuma lw’abasubuzi okwekalakasa ngabawakanya ekyokumenya akatale kabwe. Abasubuzi bewa Kiseka bamaze ebanga nga balwanagana , wakati wabo abawakanya ekyokumenya akatale kano nabo abakiwagira. Kati poliisi ya military eyiriddwa mu katale kano okusobola okuza embeera munteeko.
Muve e Dubai mukomewo ewaka
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye bamusiga nsimbi okuva mu kyombo kya buwarabu okujja kuno batandikewo emirimu egyenjawulo. Museveni agamba nti abawarabu bano basobola okuyamba okuzimba emyalo egyenjawulo olwobumanyirivu bwebagirinamu okuva ewaabwe nga kino kyakuyamba Uganda okutumbula eby’obusuubuzi bwayo mu mawanga amalala. Bino pulezidenti y’abyogeredde ku […]
Ekibinja ku bicupuli
Poliisi y’ensi yonna etaddewo ekibinja ekigenda okuyamba okulwanyisa eby’amaguzi ebitali ku mutindo Kiddiridde okukwatibwa kw’abantu 14 nga batunda ebyamaguzi ebikyaamu. Amyuka akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda Elly Womanyi agamba nti ebintu bino babiggye mu kitundu kye Gaza Land, Yamaha Center, Kikuubo ne Container village. […]
Abatega ensenene bazizza omuliro
Ekibiina ekigatta abatega ensenene basabaze ebyogerwa nti bakozesa eddagala okukwata ensenene. Kinajukirwa nti ku lunaku olwokuna nankulu wa Kampala Jennifer Musisi, yalangira abakwata ensenene okukozesa eddagala eritta ebiwuka okukwata ensenene n’alabula n’abazirya Akulira ekibiina kya Old Masaka Basenene Association Kuraish Katongole agambye nti ebyayogeddwa Jennifer […]
Kenya etadde ebyamaguzi bya Uganda
Kenya kyaddaaki epondose n’eyimbula eby’amaguzi bya Uganda byeyali yawambira ku nsalo. Abasuubuzi bonna abalina emmaali yaabwe ku mwaalo gwe Mombasa basabiddwa okugenda okugikima Omwogezi w’abasuubuzi mu kibuga Issa Sekitto agamba nti ekitongole ekiwooza ekya Kenya kikwataganye n’abakola ku mwaalo nebakkiriza bannayuganda okukima ebintu byaabwe Bino […]