Minisita omubeezi akola ku by’okulondoola ebyenfuna alagidde ekitongole kya KCCa okweddiza lufula y’eggwanga esangibwa ku luguudo lwa Portbell road.
Henry Banyenzaki nga mu kadde kano era ye minisita wa kampala asabye KCCA okutandika okuwooza abakinjaaji bano embagirawo.
Ekiragiro kino kiggyidde mu kaseera nga waliwo okusika omuguwa wakati w’abakinjaaji ne naggagga Basajja Balaba ku ano nanyini lufula eno.
Mu…
Abasuubuzi mu Kikuubo bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’ababakulira aba Kikuubo Business community okubasaba omutwalo ogwa kasasiro buli mwezi.
Abasuubuzi bagamba nti ensimbi zebamanyi ziri kakaaga ng’ababatwala bagaala kubakolamu nsimbi.
Bano nno ensonga bazitwalako ne mu kkooti kyokka n’abasaba bateese n’abakikuubo Business community bwebigaana baddeyo
Abasuubuzi b’omu Kisenyi abafiiriddwa emmaali mu muliro bambalidde abakulembeze ku mitendera egitali gimu olw’okubavaamu mu kaseera ka kazigizigi
Bano emmaali yaabwe yakutte omuliro olunaku lwajjo era nga bangi leero balabiddwaako nga bazzaawo embaawo zaabwe
Abasuubuzi bagamba nti babadde basuubira ku bakulembeze abamu okubakubagiza kyokka ekyewunyisa nti tebannalabako yadde omu
Kampala capital city authority etandise okutunda ku nyondo ebintu byeyawamba okuva ku batembeeyi
Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba nti basanze obuzibu bw amaanyi okutereka ebintu bino nga y’ensonga lwaki batunze
Kawuju agamba nti basoose kusaba abatwalibwaako ebintu byaabwe okubikima kyokka nebatakikola nga y’ensonga lwaki babitunze
Ebintu ebitundibwa byawambibwa emyezi mukaaga emabega nga muno mwemuli engatto, ensawo, emisipi,…
Abantu abasoba mu 30 beebakakwatibwa mu mwoleso gw’ebyobusuubuzi ogugenda mu maaso e Lugogo.
Abasinga ku bano abakuumirwa ku poliisi ya Jinja road basangibwa nga banyakula obusawo n’okusala ensawo.
Anonyereza ku misango, Ronald Bogere agambye nti bano bagenda kubasengejjebwa okujjamu abakyaamu.
Omwoleso guno guggaddwa minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde
Ab’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe bakontodde akulira abakozi mu kibuga olw’okuwera empooza
Musisi yaweze okukwata omuntu yenna anetantala okuwooza abasuubuzi.
Abasuubuzi nno beebamulumbye okumulojjera ennaku gyebayitam u okusasula empooza ebajjibwaako
Kati atwala eby’amateeka mu kibiina kya SSLOA Fred Kalema agamba nti Musisi tayinza kubasalirawo kubanga akatale kaabwe
Agambye nti abasuubuzi bonna bakkiriza okuwa empooza okusobola okukulakulanya…
Emiwendo gy’ebintu gyongedde okukka mu mwezi oguwedde
Kino kibaddewo yadde nga gavumenti yaleetawo emisolo ebipya naddala nga ku mafuta
Omukulu mu kitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu Sam Kaisiromwe agamba nti yadde basanze obuzibu obutali bumu, basanyufu nti basobodde okulemesa emiwendo gino okupaaluka
Vincent Nsubuga okuva mu kitongole kino anyonyola agamba nti ebisinze obutalinnya bizimbisibwa
Emirimu gizzemu okusanyalala ku luguudo lwa Nasser oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi ababadde bekalakaasa lwa bbula ly’amasanyalaze.
Bano batadde emisanvu mu luguudo wakati ssaako n’okukuma omuliro nga kino kisanyalazza nnyo eby’entambula.
Kino kiwalirizza poliisi okubagumbulula era gyebigweredde kubakubamu mukka gubalagala.
Lwo oluguudo lubadde lukyagaddwa olw’effujjo erikoleddwa.
Wiiki ewedde abasuubuzi bekalakaasa ku nsonga yeemu .
Daily monitor olwaleero eyongedde okusiima abasajja n’abakazi b’oyitako nga batunda amawulire ku nguudo
Buli anatunda empappula za Dailymonitor eziwera wakufunanga ekirabo
Bano era olwaleero babaera baddizza abantu ebirabo ebitali bimu omuli manvuuli, emijoozi , amabaafu n’ebirala
Ekitongole ekigatta abasunda mata kigamba nti omusolo ogwassibwa ku mata amalongooseemu guleeseewo okukusa mu mulimu gwaabwe
Mu mbalirira y’omwaka guno, gavumenti yalangirira omusolo gwa VAT ku mata amalongooseemu n’ekigendererwa ky’okugaziya ensawo y’omusolo.
Ng’ayogerera mu musomo gwaabwe, omu ku bali mu kibiina kino Robert Walimbwa agambye nti abantu kati basazeewo kugula mata ga mu bipipa kubanga tebasobola mata…