Olutalo lw’okugyako aba Mobile Money omusolo lutuuse mu kkooti.
Minisita w’ebyenfuna Maria Kiwanuka akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakutandika kujja musolo ku mobile Money abamuwawabidde kyebagamba nti kimenya mateeka g’ebyenfuna.
Joshua Tumwiine nga ono mukugu era yebuzibwako ku by’omusolo anenya Kiwanuka okubinika omusolo guno ogwa 10% ku Mobile Money mu mbalirira y’eggwanga eya 2014/2015 kubanga etteeka ly’ebyenfuna teryalambika …
Abavuzi ba zi baasi nga beegattira mu kibiina kyaabwe ekibataba baweze okwediima KCCA k’egenda maaso n’okulemerako ku kubakuba engassi gyebatakkiriziganya nayo n’okubabinika emisolo emipya.
Ezimu ku nsimbi eziteesebwako kwekuli okusasula emitwalo 54 buli mwezi, nga ate abo abattikira awatali paaka ya zi baasi naabo abamala gawoganya ngombe mu kibuga balina okusasula emitwalo 3.
Kati ssabawandiisi w’ekibiina kino…
Abakozi ba kamuni y’enyonyi ya Air Uganda bakujira nga balindamu ennaku 90 okulaba oba gavumenti enaddamu okukiriza kampuni eno okuddamu okukakalabya egyaayo.
Abakozi 230 kati bali ku katebe oluvanyuma lw’ekitongole ekikola ku by’embuuka by’enyonyi okufuna alipoota nti kampuni eno yali tegoberera mateeka g’ambuuka za nyonyi olwo neyimirizibwa.
Omwogezi w’ekitongole kino Ignie Igundura agamba bakyekenenya mirimu gya kampuni…
Sukaali abalirirwamu ttaani 50,000 nga abadde alina kutundibwa mu ggwanga lya Kenya akyafa tulo lwa miziziko gy’ebyobusuubuzi mu ggwanga eryo.
Omu ku basuubuzi basukaali ono okuva mu kkolero lya Madhvani Jim Kabeho agamba sukaali akyabadibiridde abalirirwamu obukadde bwa ddoola 3 bulambirira.
Kabeho agamba bannakenya bataddewo nyo kiremya okukkiriza sukaali wa Uganda okutundibwa munda mu ggwanga lino.
Wabula omukungu…
Abamu ku bagoba ba boda boda mu Kampala baweze okusimbira ekkuuli omusolo omujja KCCA gyetegeka okubasolozamu.
Mumusolo oguletebwa KCCA abagoba ba Boda Boda bakusasula emitwalo 25000 buli mwezi eri KCCA eza sticker.
Abamu ku bagoba ba boda boda bagamba nti ensmbi zino yingi nyo ate nga KCCA teyabebuzizako.
Bbo aba kansala mu KCCA bawadde endowooza za njawulo ku…
Abatunda emichomo ku makubo nebiribwa ebirala babayimiriza mu kibuga kye Kakiri okumala ebbanga eritali ggere.
Kino kikoleddwa okulaba nti bonna bazooka kuwandiisibwa n’okwekebejjebwa okulaba nti tebafuuka ate ba bulabe eri abantu beebaguza ebintu byaabwe.
Akulembedde ekibinja kyabasawo okuyimiriza abantu bano, Emmanuel Batemyetto agambye nti kibadde kizibunnyo okumanya ani yaani mu kale ng’okwewala ebizibu kuyimiriza bonna babawandiise buto.
Abavubuka…
Siteegi za taxi endala okuva mu paaka empya zigenda kusengulwa, nga kuno kuliko eya Kibibi, Bulo, Butambala ne Gomba , nga bano kakano baakugenda mu park ya Kisenyi mu nnaku ttaano zokka,
Ate bbo abakolera ku siteegi ya Hoima ne kiboga bagenda mu paaka ya Namayiba.
Akulira ebikwekweto bya KCCA Kituuma Rosoke agambye nti bano balina okukozesa…
Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe kyaddaaki bafunye ekyaapa ky’akatale okuva mu kakiiko akakola ku by’ettaka
Kiddiridde kkooti enkulu okuwa aba KCCA ennaku 14 okuwa abasuubuzi ekyapa kyebaludde nga babanja.
Omwogezi w’abasuubuzi bano Wilberforce Mubiru agamba nti kati batunuulidde kutandika kuzimba katale ak’omulembe nga beetaga obukadde bwa doola 200 okugenda mu maaso.
Abatunda amafuta bagamba nti tebakyasobola kwebeera kugongeza
Kiddiridde silingi okwongera okunafuwa okusinziira ku doola ate nga bakozesa doola okusubuula
Mu kadde kano amafuta ga petulooli gali ku shs 3800 okuva ku shillings 3700 ate nga diesel ali ku shs 3350 okuva ku 3250.
Kino kivuddeko ba dereeva okwongeza ebisale ate nga era abalina ezaabwe kaseera ka kukekkereza
Mu kawefube w’okutereeza ekibuga, abantu 15 beebakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti abantu bano bajjiddwa mu bitundu bya kampala ebitali bimu
Kawuju azzeemu okulabula abantu obutagula ku batembeeyi bwebaba tebagaala kukwatibwa