Amawulire
Embalirira- abamu bagisanyukidde ate abalala bakaaba
Abasomesa basanyukidde ekya gavumenti okubongeza omusaala Gavumenti olunaku lwajjo yalangiridde obuwumbi 450 okukola ku musaala gw’abasomesa oguludde nga gubanjibwa. Ssabawandiisi w’abasomesa James Tweheyo agamba nti kati balindiridde kulaba oba kino kyeyoleera ku nsimbi ezinabaweebwa. Bbo abakyala bbo nno ssibasanyufu n’embalirira eno gyebagamba nti egenda […]
Okulunda enjuki kufibweeko
Abalunzi be Njuki basabye parliament eyise eteeka Erirungamya omulimu gwaabwe . Abantu abasoba mu kakadde kamu beebalunda enjuki kyokka nga bano tebalina tteeka libalambika. Akulira ekitongole kya National Apiculture Development Organisation Dickson Biryomumaisho agambye nti bagaala etteeka lino liwalirize gavumenti okuteeka ensimbi mu kulunda enjuki. […]
Aba Paaka e Nakawa bakaaba
Abaddukanya ebyantambula mu paaka ye Nakawa ssibasanyufu n’okuddabiriza oluguudo lwe Nakawa okugenda mu maaso. Bano bagamba nti okuyingira paaka n’okufuluma kufuuse okuzibu ddala olw’okukola oluguudo Omu ku bakulu mu paaka eno Umar Kyewalabye agamba nt ate tebafunye kutegeezebwa kwonna ekireese ekikosezza entambula.
Aba Sipesulo e Bwaise bakaaba
Abavuzi ba sipesulo ku siteegi ye Bwaise basigadde bemagazza oluvanyuma lwa KCCA okubagoba mu paaka yaabwe amakya galeero. KCCA bano ebazindukirizza mungeri yakibwatukira nga bayambibako poliisi. Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba siteegi eno ebaddewo mungeri yabumenyi bw’amateeka.
Ebyenfuna ssi bibi nnyo
Nga ebula mbale omukulembeze w’eggwanga ayogereko eri eggwanga abakugu mu by’enfuna bategezezza nga eggwanga bweritakola bubi nyo mu byanfuna nga abamu bwebagamba. Bwiino okuva mu Banka enkulu alaga nti eggwanga likuze ebitundu 5% yadde nga abasing baali balisuubira kukulira ku biyundu 6%. Omukugu Elly Twineyo […]
Abakinjaaji bacacanca
Abakinjaaji okuva mu lufula enkulu mu ggwanga bali mu kucacanca oluvanyuma lwa naggaga Dan Katarihwa Akwatampola okujjayo omusango gweyali awaabwe mu kkooti nga ayagala okwezza ettaka okutudde lufula eno lyeyagula ku mugagga munne Hassan Basajjabalaba. Ono akkanyizza ne Basajjabalaba olwo omusango nagugyayo mu kkooti Katarihwa […]
Abasuubuzi mu Owino beecwacwanye
Okuwulira omusango gw’abasuubuzi ba Katale ka ST Balikuddembe kuzzeemu akakyankalano oluvanyuma lw’abasuubuzi okuva mu mbeera oluvanyuma lw’okikitegerako nti omu ku bakwasisa empisa aba KCCA alina emmundu. Bano bavudde mu mbeera nebalumba omusajja ono eyebulankanyizza n’abulawo olwo poliisi nebiyingiramu mangu okutakiriza embeera. Yye omuwandiisi wa kkooti […]
aba taxi bawagidde okusengula Nakawa
Abagoba ba taxi bategeezezza nga bwebatalina buzibu bwonna ku y’okusengula paaka ye Nakawa kasita babawa webadda awatuufu. KCCA yalangiridde nga bw’egenda okusengula paaka eno eddizibwe e Banda mu kawefube w’okukendeeza omujjuzo. Akulira ba dereeva Mustapha mayamba agamba nti beebasooka okusaba paaka zino zissibweewo kale nga […]
Bamusiga nsigo beeyongedde
Yadde nga ebyenfuna tebitambula bulungi, bamusiga nsigo bbo beyongera bweyongezi Ekitongole ekikola ku kusikiriza bannaggagga mu ggwanga kigamba nti wakati w’omwezi gwa January ne March 2014 obukadde bwa doola 852 bwebwafunibwa okuva mu bamusiga nsigo Bino zaava ku bukadde bwa doola 403 ozakufunibwa mu kiseera […]
Aba Paakayaadi tebalina kabuyonjo
Abaddukanya ekisaawe kye Nakivubo beeralikirivu olw’abasuubuzi mu katale ka paakayaadi obutaba na kabuyonjo Akola ku byensimbi ku Lukiiko oluddukanya ekisaawe Hajjati Miminsa Kabanda agamba nti kyewuunyisa nti abasuubuzi abasoba mu 1000 tebalina yadde kabuyonjo emu bweti Wabula yye ssentebe w’abasuubuzi mu katale Hamza Kalema bino […]