Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobusuubuzi

Parambot eggaddwa

Ekitongole ekiwooza olwaleero kigadde kkampuni ensogozi y'omwenge eya Parambot Breweries. KKampuni esangibwa Kitetikka ku lwe Gayaza Bano bagamba nti kkampuni eno egibanjibwa emisolo egisoba mu buwumbi 2 era nga baludde nga bababanja naye nga tebekyuusa. Allan Ssempebwa nga ono yakulembeddemu ekikwekweto kino, atubuulide nti bano bamaze ebbanga nga tebeefirayo kyebavude babaggala.

Read More

Abatembeeyi babayodde

Abatembeeyi b’okumakubo abasoba mu makumi 40 beebayoleddwa okuva mu kibuga. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti abantu bano babajje ku luguudo lwa Luwum, Kampala ne wandegeya Kaujju agamba nti ekyewunyisa nti abasinga mu bakwatiddwa bayizi ba masomero abatalina kuba nga bakola Kawuju agamba nti n’ekikwekweto ekikwata abagula ku bantu bano nakyo kyakugenda mu maaso

Read More

UMEME etunze emigabo

KKampuni ezagaala okugula emigabo mu UMEME zeeyongedde okutuuka ku 30. Ssabiiti ewedde, kkampuni 20 zeezawaayo okusaba okugula emigabo Ekiwandiiko ekivudde mu ttundiro ly’emigabo nga kiriko omukono gwa Patrick Mweheirwe kitegeezezza nti wabula balonzeemu kkampuni 20 zebawadde emigabo. Ono wabula tazatuudde mannya

Read More

Teri kusengula ba paakayaadi

Omubaka wa pulezidenti mu kampala, Aisha Kabanda ayimirizza eby’okugoba abasuubuzi abakolera okumpi n’ekisaawe kye Nakivubo. Abasuubuzi bano babadde balwanagana n’abaddukanya ekisaawe era nga n’abamu baamaze okusengulwa Kabanda agamba nti kino kirina okukoma okutuusa ng’enjuuyi zonna zikkanyizza. Bbo abasuubuzi abasoba mu 100 e Seeta Mukono batiisizzatiisizza nga bwebagenda okwekalakaasa nga bavunaanibwa abakulembeze baabwe okwegatta n’abagga okubasengula.

Read More

UMEME tetundibwa

Kkampuni ya UMEME evuddeyo n’ewakanya ebigambibwa nti etundibwa Omu ku batwaala kkampuni eno Sam Zimbe agamba nti omu ku balina emigabo mu kkampuni eno y’atunda sso ssi kkampuni yonna Ono agamba nti bali mu nteekateeka ez’ongera okusiga obukadde bwa doola 400 mu kulongoosa empeereza era nga tebafunanga kirowoozo kitunda Bino bijjidde mu kaseera ng’ababaka mu palamenti bongedde akazito…

Read More

Abakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi bavunaaniddwa

Abantu 15 abaakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi basimbiddwa mu kkooti Bano bagguddwaako misango gyakukolagana n’abatembeeyi mu kulemezaawo ensuubula emenya amateeka Bano beebasoose okuvunaanibwa wansi w’etteeka lya KCCA eppya erigendereddwaamu okukoma abantu okutundira ku makubo Abavunaaniddwa babadde basajja na bakyala abasuuze mu kkomera ekiro kyonna. Bano wabula balagiddwa okussa mu buwandiike okwetonda nti tebajja kuddamu kukikola Bbo aba kampala capital city…

Read More

Siteegi za Boda ziwedde

Siteegi za bodaboda zakutandika okukola omwezi ogujja Omwaka oguwedde KCCa yawandiika abagoba ba pikipiki n’ekigendererwa ky’okutereeza omulimu guno Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti bakafunamu siteegi eziwerera ddala emitwaalo etaano mu enkumi nnya. Ono wabula agamba nti siteegi ku nguudo eziriko abantu abangi zakujjibwaawo

Read More

Bawanyondo basenze obuyumba mu kisenyi

  Emirimu gisanyaladde mu kisenyi oluvanyuma lwabawanyondo bakooti okukeera okumenya obuyumba bwonna obwazimbibwa kumpi n’oluguudo mu kitundu kino. Kino kiddiridde omusango ogwawaabwa omusuubuzi John Bosco muwonge olwo kooti neragira obuyumba buno bumenyebwe. Twogeddeko n’omu ku bawanyondo bano nategeeza nga buli awakanya kino bwali ow’eddembe okugenda mu kooti. Gwo omulimu gw’okumenya obuyumba bwonna gukomekerezeddwa.

Read More