Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi mu USAFI bacacanca
Ng’aba taxi bakaaba USAFI ate bbo abasuubuzi bazina gudikudde Kampala capital city authority olunaku lwajjo yasengudde siteegi za taxi 16 mu kawefube w’okukendeeza ku mujjuzo mu paaka enkadde Abataxi kino akivumiridde era nga n’olwaleero batabuse olw’akanyigo nga teri makubo ekyongedde okubakalubuliza emirimu Ezimu ku siteegi […]
Ssabuuni wa Meditex alongoseddwa
Abali mu byobusuubuzi bagenda mu maaso n’okuyiiya okulaba nti bawereeza abantu baabwe obulungi Aba Mukwano industries kati nno tebasigadde mabega nga bakoze ennongosereza mu ssabuuni wa Meditex medicated soap. Ssabbuuni ono ng’atta obuwuka, kati agenda kusobola okuvuganya ne sabbuuni omulala okuva mu mawanga ga Rwanda, […]
Uganda efiirwa buwumbi mu bubbi
Kizuliddwa nga Uganda bwefiirwa obuwumbi obuli eyo mu 500 buli mwaka olw’ababalirizi b’ebitabo mu makampuni agenjawulo okukyanga ebitabo. Okusinziira ku akulira ettendekero ly’ababalirizi b’ebitabo mu ggwanga Timothy Etoori, amancoolo gano era gafiiriza amakampuni ssente eziweza 5 ku kikumi. Bw’abadde ayogerera mu lukungaana lwa banamawulire nga […]
Bekeeri eggaddwa lwa Bujama
Aba kampala capital city authority olwaleero bagadde bekeeri ya Mini Bakeries ng’eno y’ekola omugaati hw SUPA LOAF Obuzibu bwonna buvudde ku bujama. Amyuka omwogezi wa KCCA, Robert kalumba agamba nti abakola ku bekeeri eno babadde bambala bubi okusinziira ku byobulamu,aye nga n’ekifo kyenyini kijama nga […]
Abatunda emmotoka bakaaba
Abayingiza emmotoka enkadde mu ggwanga bakugenda mu maaso nga beekalakaasa lwa misolo egibajjibwaako Omu ku bayingiza mmotoka okuva mu kibanda kya Future Group motors Yunus Imaran agamba nti tebagenda kuddamu kutunda mmotoka okutuusa ng’ensonga zaabwe zikoleddwaako Ono agambye nti bateekateeka kusisinkana minista Amelia Kyambadde okubayambako […]
Sukaali asse
Yadde nga okunabuuka kwa siringi kuleesewo okulinya kw’ebbeeyi ye mmere mu ggwanga, ekitongole ekikola ku muwendo gwebintu mu ggwanga kitegezezza nga ebbeeyi ku bintu ebimu nga sukaali bw’esse. Omu ku bakungu mu kitongole kino Nsubuga Vincent Chris Mukiza, kilo ya sukaali kati egula 2700 […]
UMEME egende-bannakyeewa
Eky’okusazaamu endagaano y’ekitongole ky’eyamaanyalaze ekya UMEME kikyagyamu abantu abenjawulo omwasi. Kino kiddiridde palamenti okuwa amagezi endagaano y’abano esazibwemu lwabutatukiriza bulungi mirimu gyaabwe. Kati sentebe w’ekibiina ekigatta abakozesa ebintu mu ggwanga Mulwani Taminwa agamba endagaano eno yetaaga okuddamu okwekebejebwa. Ono era ayagala okunonyereza kwabo bonna abetaba […]
Ebbeeyi y’ebintu ekyaali waggulu
Yadde ng’embeera mu budde ekyuuseemu, yyo ebbeeyi y’ebintu esigadde ng’eri waggulu. Emiwendo gikyaali ku bitundu 12 n’obutundu 7 ku buli kikumi okwawukanako n’ebitundu 11 mu mwezi gw’okubiri. Omukungu mu kitongole kino Chris Mukiza agamba nti emiwendo gino gakusigala nga giri waggulu kubanga n’enkuba gy’eyise erese […]
Mutwogere akadde- abasuubuzi e wandegeya basabye
Abasuubuzi mu katale ke Wandegeya basabye aba KCCA okubongerea ku kadde nga tebawa musolo kubanga ba kasitoma bababuze Abasuubuzi bano balina okutandika okusasula ez’obupangisa nga 24 omwezi ogujja kyokka nga bangi bagamba nti bigaanye Abasuubuzi bano basasula wakati w’emitwalo 4 ne 25 buli mwezi
Ensimbi z’obwegassi bazirya
Enteekateeka ya gavumenti ey’okuwola ebibiina by’obwegassi ensimbi efunye ekkonde. Obuwumbi bubiri bwebwakabwebwenebwa ebibiina by’obwegassi naye nga tebisasula Ebisinga ababikulembera bwebamala okuuna ensimbi nga badinga abantu okubegattako era bwebamala okubajjamu ensimbi nga babula E Luweero yonna, abasuubuzi abawerera ddala 50 beebabbibwa ekibiina ekimanyiddwa nga Foster Families […]