Oluvanyuma lwabavuzi ba taxi okumala akabanga nga bemulugunya ku basirikale ba poliisi n’ebizibu ebirala, Minister wa Kampala Frank Tumwbaze ayise olukiiko bateese ku nsonga ez'enjawulo bazinogere eddagala.
Omubaka wa Makindye eyobuvanjuba gyebuvuddeko yakwanga minister ekiwandiiko ku kwemulugunya kwaba taxi bano nga bawakanya empooza eyitiridde eri KCCA saako n’ebigambibwa nti batulugunyizibwa.
Sentebe w’ekibiina ekigatta badereeva nebakondakita ekya DAK…
Abasuubuzi mu ttawuni kanso ye Wakiso bavudde mu mbeera nebekalakaasa lwabakulira ekitundu kino okuggala amaduuka gaabwe .
Kanaluzaala gwe musolo gw’amayumba nga aba tawuni kanso balumiriza abasuubuzi bano okugwebalama.
Abasinga ku basuubuzi bakedde ku makya nebasanga nga amaduuka gaabwe kuliko kufulu wabula nga mpaawo mukungu wa tawuni kanso alabikako.
Abasuubuzi betwogeddeko nabo baweze okugenda maaso n’kwekalakaasa okutuusa nga…
Abamu ku basuubuzi bomu katale kewakisekka bawakanyizza ekirowoozo ky’okumenya akatale kaabwe omulundi gumu nga kagenda okukulakulanyizibwa.
Nga bakulembeddwamu Hasad Bukenya bagamba nti singa abasuubuzi basangulwa omulundi gumu bandifuna ebizibu nga abasuubuzi b'omukatale ke wandegeya byebafuna nga era batya nti munamaggye Col John Mugyeyi yandikozesa akakisa kano okweddiza ettaka lino olw'enkayana zebazze babeera naye.
Bbo abakulembeze b’akatale kano…
Kkampuni z’amafuta mu ggwanga zaanirizza ekya poliisi okubawa obukuumi.
Olunaku lwajjo poliisi yategeezezza nga bw’egenda okwongera obukuumi eri abatambuza amafuta mu tanka oluvanyuma lw’abatujju okuddamu okuwera okulumba Uganda.
Akulira kkampuni ya VIVO Energy Uganda Hans Paulsen agamba nti nabo batandikiddewo okwongera ku bukuumi okuziyiza ennumba zonna.
Hansen era agamba nti n’omuwendo gwa tanka zamafuta agayingira eggwanga gukendedde naddala…
Abagoba ba taxi mu paaka ya Namayiba basabye KCCA ebaayambe ku basajja baayo ababatulugunya
Abagoba bano bagamba nti nnnayini paaka eno Bosco Muwonge abajjako enkumi bbiri buli lunaku okusimba mu paaka eno ate ngaa basasula n’omusolo gwa KCCA.
Bano era bagamba nti kuno kw’ossa n’ekya basajja ba TAPSCO okubakwata mu ngeri etali nnungamu
KCCA yasalawo taxi ezimu zidde…
Abasuubuzi mu katale ke wa kisekka bali mu keetalo kakuzimba katale ak’omulembe
Enteekateeka eno yakutandika mu gw’okutaano ssinga KCCA eba eyisizza pulaani y’ekizimbe kyebagaala
Bano basazeewo konteyina zaabwe okuzissa ku paaka ya Namayiba
Kino kirese abataaxi baali mu kutya nti bandigobwa mu paaka eno
Kampuni gagadde esaasadde ssemazinga zonna eya Aga Khan Foundation for Economic Development nate eguddewo omukutu gw’ebyempuliziganya ogwa Smart -Tele Communication Company.
Kizuulidwa nga guno gwegumu kumukutu ogugenda okubeera nebisale ebyawansi, kale nga gwakubeera gwankizo eri bamufuna mpola abaagala okutambula n’omulembe
Abdellatif Bouziani nga ono y’akulira emirimu mu kampuni eno , agambye nti bagenda kuba basolooza kubili simu…
Abavuzi ba taxi e Mukono beekalakaasizza nga nabe tenda
Kiddiridde abaddukanya ekibuga tenda ya taxi okugiwa aba MUTODa abayise olukiiko olunaku lwaleero.
Abataxi tebakkirizza na lukiiko kutandika tnebatandika okuwogganira waggulu kko n’okukwata ebipande ebirumba aba MUTODA
Olukiiko olwayitiddwa lubadde lwakwanjulira ba dereeva bintu bya bwebinatambula mu nkoal empya
Olukiiko luno olubadde mu baala eyitibwa Godwin , lubadde luyitidwa aba …
Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu paaka ya baasi eya Qualicel bus terminal basabiddwa okusigala nga bakkakkamu nga byonna bwebiterezebwa
Kiddiridde omugagga Drake Lubega okuddamu okuddukanya paaka eno okuva ku Charles Muhangi
Ssabawolereza wa gavumenti yeeyawandiikidde poliisi ng’agisaba ewe Lubega obukuumi okuddukanya paaka eno era nayo teyebase asiibye ekuuma
Lubega kati agamba nti agenda kukwatagana n’abasuubuzi bano okulaba nti tebakosebwa…
Abasuubuzi bannayuganda abagiddukanyiza mu ggwanga lya South Sudan basazizzaamu akeediimo kaabwe.
Kiddiridde ensisinkno gyebabaddemu n’aduumira poliisi Gen Kale Kaihura
Kaihura ategeezezza abasuubuzi bano nti gavumenti ebadde ekola ku nsong zaabwe lwakuba nti waliwo emisoso mingi.
Asabye n’abasuubuzi okwewala ebikola by’effujjo bulijjo basooke nga kuteesa
Abasuubuzi bano baali bateekateeka kwekalakaasa nga bagaala kusasulwa olw’emmaali yaabwe gyebafiirwa.
Abasuubuzi bano babanja obuwumbu 41