Ebyobusuubuzi

Musikirize bamusiga nsigo

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

Pulezidenti museveni asabye wabeewo obukuumi ku ttaka lya gavumenti naddala erisengulwaako ababundabunda Pulezidenti agamba nti ettaka lino lisobola okukozesebwa okusikiriza bamusiga nsigo  mu ggwanga Pulezidenti agamba nti era kino kyakuvaamu emirimu ekinayamba okujja bannayuganda bangi mu bwavu. Pulezidenti abadde ali ku mukolo gw’okutema evuunike ery’okuzimba […]

Ebbeeyi y’amafuta erinnye

Ali Mivule

February 17th, 2014

No comments

Ebbula ly’amafuta litandise okuluma era nga bangi baliwuliddemu Mu kadde kano amafuta (Petulooli)agabadde gagula 3550 kati ku 3800. Diesel ali ku 3150 Akulira bannayini b’amasundiro g’amafuta mu Uganda Rajeen Taylor agamba nti ebbula lino livudde misoso egiri e Mombasa Wabula newankubade ebbeeyi y’amafuta erabika nga […]

Abasiga ensimbi mu Uganda bakendedde

Ali Mivule

February 17th, 2014

No comments

Omuwendo gwa bizinensi ezatandikibwaawo omwaka oguwedde gwakenderera ddala Alipoota efulumiziddwa ekitongole ekisikiriza bannaggagga mu ggwanga eraga nti emirimu 123 gyokka gyegyatandikibwawo Ku gino ebitundu 20 ku kikumi gyegikyakola ate emirala gyagwa dda Akulira ekitongole kino, Frank Ssebowa agamba nti kino kivudde ku mitendera emingi egiyitibwaamu […]

Aba Taxi babayiribya

Ali Mivule

February 17th, 2014

No comments

Abagoba ba taxi mu Kampala balaze obutali bumativu olw’engeri kcca gyebagobaganyaamu okuvva mu bifo eby’enjawulo gyebabade bakolera Bino webigidde nga KCCA kyegye egobaganye emotoka ezibadde zikolera mu cooper complex nga kw’ogasse nabade badukidde e nsambya abagobeddwa amakya galeero  nga bonna eyagala bedde mu paaka ya […]

Omuliro mu basuubuzi

Ali Mivule

February 15th, 2014

No comments

Ekitongole kya polisi ekizikiriza omuliro kinunudde ebintu bya bukadde nabukadde mu muliro okubadde gukutte edduuka erimu ku luguudo lwa William street. Akulira ekitongole kino Joseph Mugisa agambye nti omuliro guno guvudde ku masanyalaze. Wabula Mugisa agambye nti abantu bategezeza polisi mu budde okutaasa embeera

Abasuubuzi bakaaye

Ali Mivule

February 13th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu kibuga bazzeemu okutegeeza nga bwebagenda okuggala amaduuka Obuzibu buvudde ku kya kitongole ekiwooza okukwata banaabwe olw’emisolo Abasuubuzi bano bagamba nti omusolo ogwogerwaako bangi bagusasula era nga babalanga bwebamage Basazeewo mu Lukiiko lwebatuuzizza mu kibuga nti omusuubuzi yenna addamu okukwatibwa nga nabo baggala amaduuka […]

KCCA esenze obuyumba

Ali Mivule

February 8th, 2014

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kikedde kusenda bizimbe ebiri mu maaso g’akatale ke wandegeya Mu bisendeddwa kwekuli n’ekizimbe okubadde akafo akaganzi aka Chicken Tonight. Abasirikale ba KCCA obwedda abakolagana ne poliisi bategeezezza ng’abasuubuzi bonna abasendeddwa bwebalabulwa nate nga tebafaayo. Yye ekulira poliisi ye wandegeya, […]

Okusima amafuta kutandika mwaka gujja

Ali Mivule

February 6th, 2014

No comments

Uganda yakutandika okufulumya amafuta omwaka ogujja. Kino kiddiridde okutuuka ku nzikiriziganya n’amakampuni agawebwa olukusa okusima amafuta gano ku ngeri gyegagenda okutundibwamu. Wabula minister w’ebyamasanyalaze  Irene Muloni agamba go amafuta amasengejje gakufuluma mu 2017 nga wamaze okuzimbibwa omudumu ogugatambuza.

E juba emirimu gizzeemu

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Abasuubuzi abakolera mu ggwanga lya South Sudan bategeezeza nga emirimu bwegigenze gidda mu nteeko ,newankubada abaguzi bakyali batono. Akulira ekibiina ekitaba abagoba b’ebimotoka ebitambuza eby’amaguzi  Bylon Kinene, atubuulide nti mu kibuga Juba emirimu gigenda bulungi. Kinene agamba nti bannayuganda abaliyo nabo betaaya awatali kutya kubanga […]

Amaduuka gaggaddwa

Ali Mivule

January 29th, 2014

No comments

Bannanyini maduuka abatasasula misolo ku luno baakuliira ku nsiko Ab’ekitongole ekiwooza ekya URA bazzeemu buto okulabula nga bwebagenda okuggala abo bonna abatasasula Akulira ababanja, Abdi Salam Waiswa agambye nti abantu abano baagufuula muze obutawa misolo ate nga bagala okukola ensimbi. Ono bino abyogedde aggalawo amaduuka […]