Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu basuubuzi bomu katale ke kireka oluvanyuma lw’ebiwayi bibiri okufuna obutakanya ku ani alina okufuna tenda y’okuddukanya akatale kano.
Ekiwayi kya Dan Mubiru kilumbye aba Muzzanganda wasswa olwo nezidda okunywa ekiwalirizza poliisi okubakubamu omukka ogubalagala okusobola okukakanya embeera.
Dan Mubiru nga y’abadde ne Tenda eno yamugyidwako abakulira Division ya Kira nebajiwa Muzzangada ekileesewo…
Abakozesa amasimu mu ggwanga olwaleero baatuulidde abakkampuni z’amasimu beebagamba nti babbye
Mu Lukiiko lw’abakozesa amasimu olubadde mu kibuga, abantu becwacwanye nga bagamba bakooye empeereza embi
Bano basinze kwemulugunya ku masimu agataggwayo ate nebasalwaako ensimbi, obubaka obubawerezebwa ku masimu nga tebabusabye n’ensimbi za mmobile money enyingi
Olukiiko luno luzze ng’eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abakozesa ebikolebwa nga lubaawo buli nga…
Omubaka akiikirira abantu be Makindye mu Buvanjuba,alumbye ekitongole kya KCCA olw’okutulugunya abantu
John ssimbwa agamba nti bukyanga KCCA esengula emmotoka ezaali zisimba ku cooper complex n’ezitwala ku USAFI, waliwo okutulugunya kwa maanyi okugenda mu maaso
Ssimbwa agamba nti abasirikale ba KCCA bayonoona taxi a’abantu n’okubakwata nga babakaka okudda ku USAFI ekintu ekikyaamu
Wabula yye akulira ebakozi mu Kibuga…
Abatuuze mu division ye Makindye basabiddwa okukolagana ne KCCA olw’empeereza ennungi
Omulanga guvudde w’akulira abakozi mu kampala Jennifer Musisi bw’abadde ku mukolo gw’okutongoza omulimu gw’okuzimba n’kuddabiriza enguudo nnya e Makindye
Musisis agambye nti Kontulakiti eno egenda okumala emyezi mukaaka yakuwemmenta obuwumbi 8 nga kkampuni ya China Construction Company y’epatanye omulimu guno
Kampala capital city authority ekkirizza aba kkampuni ya Pioneer Easy Bus okuddamu okuddukanyiza emirimu gyaabwe mu kibuga
AKulira abakozi mu Kibuga Jennifer Musisi agamba nti baliko okutegeragana kwebatuuseeko n’aba baasi
Wabula Musisi agambye nti bano baasi zaabwe tezijja kuweebwa nkizo kubeera na nguudo zaazo nga abakungu baabwe bwebaali bagaala
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agumizza abantu b’omu katale ka paakyaadi nti byonna bijja kuba bulungi
Ono agenze okukimayo ettofaali ly’amasiro agambye nti mu bulamu buno mulimu okugezesebwa kyokka ng’obuvumu ky’eky’okuddamu eri ekizibu kino.
Katikkiro era abagaanye okutitiira olw’omuliro oguzzenga gusaanyaawo akatale kaabwe enfunda eziwera bagume bongere kukola.
Ono abategezezza nga mu mulembe guno omutebi eby’okwekubagiza…
Eklezia Katolika egasse eddoboozi ku basaba nti alipoota ezizze zikolebwa ku muliro gw’omu paaka yaadi zifulumizibwe.
Akatale kano kaddamu okukwata omuliro ku nkomerero y’omwaka oguwedde.
Ssabasumba Cyprian Kizito Lwanga olwaleero alambuddeko abantu bano era nga bino gy’abyogeredde.
Ono wabula asabye abasuubuzi okusigala nga bakkakkamu kubanga akavuyo tekalya era ng'eno gy'avudde n'agenda okusiiga abakkiriza evvu.
Bbo abasuubuzi b’omu katale kano…
Poliisi mu kampala eweze ebimotoka bya breakdown okuddamu okusimba okumpi ne zi poliisi.
Kino kiddiridde abantu okwemulugunya nti aba poliisi bakolagana ne banyini byo okusika mu bagoba b’emmotoka ensimbi.
Akulira poliisi mu kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti kino kirina okukoma kubanga kivumaganya bbo.
Wabula bbo abamu ku basing okukululwa ebimotoka bino aba taxi bagamba nti kino…
Poliisi ekyayiriddwa okwetolola oluguudo Kafu e Nakasero oluvanyuma lwabakinjaji abasoba mu 500 okuva mu lufula yoku Portbell okuzingako kooti enkulu ekola ku byettaka.
Bano bazze kuwulira musango gwawabwa naggaga Hassan Basajjabalaba nga ayagala okwediza ettaka okutula lufula eno.
Ekibinka kino nga kikulembeddwamu ssentebe Abbey Mugumba bakalambidde nti bebalina obwananyizi ku lufula eno nga era teri gyebalaga.
Omulamuzi Andrew…
Gavumenti etandise okuddamu okwetegereza etteeka ku bantu abeewola ensimbi
Minister omubeezi akola ku byobusuubuzi, James Mutende agamba nti abantu bangi abali mu mulimu gw’okuwola ensimbi naye nga tebalina bisanyizo gyebigweera nga babbye abantu
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku busuubuzi, Mutende agamba nti abanti bangi babatuukirira naye nga tebalina ngeri gyebabayamba.
Mu tteeka eppya bagaala abawola bonna…