Amawulire
Entalo mu Bodaboda zisajjuse
Entalo mu bagoba ba boda boda mu Kampala zirabika zisajjuse Abamu ku bano abeegattira mu kibiina ekya National Federation of professional cyclist network mu Kampala basabazze ebyogerwa nti beegasse ku kibiina ekirala ekimanyiddwa nga Boda boda 2010. Bano bagamba nti tebasobola kwegatta ku bantu abamaze […]
Uganda eyongedde okuyiiya
Mu kawefube ow’okutaasa ensimbi eziva e South sudan mu misolo, gavumenti evuddeyo n’enkola ezinayamba okuzibikira ebituli. Kamisona akola ku byobusuubuzi ebweru w’eggwanga mu minisitule ekola ku byobusuubuzi, Silver Ojakol agamba nti ekimu ku bino kwekulaba nti ebyamaguzi ebikozesebwa ebibiina ebiddukirize biva mu Uganda. Ono agamba […]
Aba St Balikuddembe bawereddwa amagezi bateese
Abasuubuzi b’omu katale ka Owino bawereddwa amagezi okwegatta bakolere wamu oba sikyo sibakuganyulya mu kya kooti okulangira KCCA okubaddiza ekyapa kyaabwe. Kooti ya City Hall yalagidde KCCA okuwa abasuubuzi bano ekyapa kyabwe ,oluvanyuma lw’okusasula obuwumbi 4 obwa liizi nga era ekyapa kirina kubeera mu manya […]
Abe Ggaali y’omukka babakubye omusumaali
Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue authority bagadde akawunta z’ekitongole ekikola ku ggaali y’omukka Bano bababanj obuwumbi 9 Omukungu mu URA akola ku by’okubanja, Abdu Salam Waiswa agamba bano bafubye okubabanja naye nga tebafaayo nabo kwekugalula.
Gavumenti esaze ebbeeyi y’amasanyalaze
Bannayuganda bakufuna akamwenyumwenyu ku matama oluvanyuma lwa gavumenti okusala ku bbeeyi ya masanyalaze. Kati aga waka omuntu wakusasula 520.4 okuva 524.5 nga ate bbo abagakozesa emirimu bakusasula 474.7 okuva ku 487.6. Bwabadde alangirira enkyukakyuka zino minista omubeezi ow’ebyamasanyalaze Peter Lokeris agamba gavumenti era ekyateekateeka kukola […]
Abe Kalerwe basobeddwa
Abasuubuzi bomu katale ke Kalerwe basobeddwa eka ne mu kibira. Nga bakyanyiga biwundu olw’akatale kaabwe okukwata omuliro ,kati ate enkayaana z’ettaka zibaluseewo. Kino kiddiridde amawulire agafulumye ng’erimu ku ttaka okutuula akatale kano bweryatundibwa nga era ab’okusinga okukosebwa beebakolera mu zooni emanyiddwa nga Mutebi. Abamu ku […]
Bannekolera gyange bagaanye ebye South Sudan
Ekibiina kya banekolera gyange kisimbidde ekkuuli ekiteeso ky’okuteekawo amakubo amalala omunatambuzibwa ebyamaguzi okutuuka munda mu ggwanga lya South Sudan. Abamu ku bekikwatako babadde bateesa bakole kino olw’olutalo olugenda maaso munda mu ggwanga lwa South Sudan okusobozesa eby’obusubuzi okugenda maaso abasubuzi nga beewala amakubo gali ewali […]
Bannayuganda bazzeeyo e Juba
Yadde ng’emundu ziseka e South Sudan, bannayuganda batandise okuddayo. Bannayuganda bangi bakooye embeera eri kuno nga basazeewo okuddayo banoonye ensimbi Baasi ezaali zitakyalina ba kasitoma kati bayitirivu ea nga basuubira nti bajja kweyongera. Omu ku bakozi mu kkampumi ya Bakulu coaches asabaaza abantu, Fathil Wagala […]
Aba USAFI beekyaye
Abasuubuzi b’omukatale ka USAFI wali ku kalitunsi bavudde mu mbeera lwa poliisi kuyingira mu lukungaana lwaabwe . Abasuubuzi babadde bakuteesa ku ky’okutulugunyizibwa abatwala akatale kano beebabalumiriza okubabinika ssente z’empooza enyingi nga ate ng’akatale tekafuna bulungi baguzi. Abasuubuzi bagamba ekya poliisi okwebulungula akatale webagenda okuteeseza kabonero […]
Ebiri e South Sudan bikosa Uganda
Banka enkulu mu ggwanga erabudde nti okulwanagana mu ggwanga lya South Sudan kwandikosa ebyenfuna bya Uganda. Akulira banka eno, Emmanuel Mutebile agamba nti emmere Uganda gy’ensindika mu South Sudan ekendedde ate ng’abadde evaamu omusolo oguwera. Yye akulira eby’okunonyereza ku banka eno, Adam Mugume agamba nti […]