Abatembeyi ku makubo basabiddwa okugenda mu katale ka USAFI okukkalabya egyaabwe nga teri abakuba ku mukono
Amyuka omwogezi w’akatale kano Mohammed Segwaanyi agamba nti emitwalo 150 gikyaali mikalu
Ono agamba nti bakyayogeraganyaamu ne bannanyini katale okulaba nti bakendeeza ku nsimbi ezisasulwa buli mwezi.
Mu kadde kano abasuubuzi basasula emitwalo 8 buli mwezi kyokka nga bangi zibalema olw'obungi.
Abasuubuzi abakolera mu katale ka Usafi empooza ya buli mwezi ebazitoweredde nga abamu bagaala kwabuulira katale kano.
Abasinga ku bakolera mu katale kano beebasuubuzi abali ku nguudo wabula nga kati ebintu bibasobodde olw'empooza egaanye nga ate abaguzi ba lubatu mu katale kano.
Abasuubuzi bano basasula empooza ya mitwaalo munaana omwezi,okwo kw'ossa amazzi n'amasanyalaze.
Wabula ye omwogezi w’akatale kano …
Akulira abakozi mu kampala, Jeniffer Musisi ategezezza nga okulamba siteegi za bodaboda bwekugenda okukolebwa omwaka ogujja.
Ekitongole kya KCCA kyakukwatagana n’ebitongole ebikola ku by'okwerinda, saako n'abakiikirira abavuzi ba bodaboda okumaliriza enteekateka eno okwetoolola ekibuga.
Oluvanyuma bakutandika kawefube w'okubunyisa zi kabuuti eri abavuzi bano, ebikoofira by'okumutwe ziyite helmet saako n'okubateerawo ebisikirize ku siteegi zabwe.
Abagoba ba bodaboda abasoba mu…
Ebikumi n’ebikumi byabasubuzi bakyakonkomalidde ku nsalo ya Uganda ne Sudan olw'enkuba efudemba obutasalako.
Enguudo okuli oluva e Atyak – Nimule terukyayitikamu nga n’emmotoka zikwamye olw'okusalwako amazzi.
Okusinziira ku sabawandiisi w’ekibiina ekigatta, abavuzi ba zi baasi abakolera e South Sudan Willy Katende, abantu batandise okwonoona mu mazzi gano nga kati waliwo okutya nti endwadde eziva ku bujama zandibalukawo.
Wano w'asabidde…
Abawala abasangiddwa nga beerenze ku makubo bamalidde mu kkomera.
Prossy Sentongo ne Edith Nanteza bavunaaniddwa mu maaso g’omulamuzi Sarah Langa
Ba maama bano ababiri tebegaanye gwakulenga kaboozi
Basaliddwa ekibonerezo kya wiiki 2 nga bali mu kkomera
Bano nno kigambibwa nti nga 6th omwezi guno basangibwa nga beerenze kyokka ate nebatakoma awo nebatandika okukuba poliisi amayinja
Mu ngeri yeemu
Abatembeeyi abasoba nmu…
Obadde okimanyi nti okuseka kya mugaso nnyo eri omuntu?
Ng’ogyeeko eky’okugatta abantu abali mu ssany,u enseko zikuuma omubiri nga mulamu bulungi
Eky'enjawulo nti lino bweriba ddagala terigulwa era ng’omuntu wa ddembe okwekuumira mu bulamu bw’ensi nga musanyufu oba ng’asibye feesi.
Enseko ziyamba okwongera omuntu obutofaali obulwanyisa endwadde, zongera amaanyi ,zikendeeza obulumi kko n’okukendeeza okukunyigirizibwa ku bwongo giyite stress.
Mu…
Abasuubuzi ku luguudo lwa Nasser beekalakasizza nga ssi kirala wabula masanyalaze.
Bano abakolero ku kizimbe kya Muzza nga bava mu limu ku maduuka bagamba nti baweebwa bill ya masanyalaze ya bukadde busatu naye nga tebazikozesangako.
Basazeewo okukuma ebipiira mu luguudo ekitataganyizza eby'entambula.
Poliisi wabual atuuse mu budde era ng'akkakkanyizza abasuubuzi bano nebesogga akafubo okulaba engeri y'okukwatamu ensonga eno.
Akulira…
Kampala capital city authority etandise okusengejja abasuubuzi abanakolera mu katale ke Wandegeya
Abasuubuzi abali mu 800 abaali mu katale akakadde keebagenda okuweeebwa enkizo
Omwogezi w’ekitongole kino Peter Kawuju agamba nti abasuubuzi abanayitamu bakusasula
Bangi beesunga okulaba enjuba ng’erwana n’omwezi.
Tekijja kukoma ku kunyumirwa, wabula n’eggwanga lyakuganyulwaamu buwanana.
Abalambuzi abasoba mu mitwalo 3 beebasuubirwa mu ggwanga mu Uganda nga bano bagenda kuleka emisolo
Omu ku bakulira kkampuni eyingiza abalambuzi eya Great African Safaris Amos Wekesa agamba nti Uganda yamukisa okuba nti mu nsi yonna yalondedwa ng'ekifo ekigenda okulabibwaamu ensitaano eno.
Wekesa agamba nti…
Abakulembeze b'abagoba ba taxi bali mu kutya nti omulimu gwaabwe gwandiggwaawo mu kibuga kamapala.
Kino kiddiridde ekitongole kya KCCA okufunza paaka empya nga kati emmotoka nga 350 zokka zeezisobola okusimbamu.
Sentebe wa bakondakita ne ba dereeva ba Taxi Mustapha Mayambala agamba nti aba KCCA bandiba n'ebigendererwa ebirala kubanga engeri gyeyazimbiddwaamu teraga nti yakusimbamu taxi.
Bino webijidde nga pulezidenti…