Ebyobusuubuzi
Abe wa Kisekka bakaaye
Wabaddewo akavuyo ku palamenti abakyala babiri okuva mu katale ke wa kisekka bwebagaaniddw okuyingira okulaba omukubiriza w’olukiik Rebacca Kadaga. Hajjati Hamida Nassimbwa ne munne Aisha Nakiranda,bakalambidde ne bawera okugumba ku parliament okutuusa nga bamulabye bamukwange ekiwandiiko kyaabwe ekyemulugunya ku nkayana eziri mu katale kano. […]
Temuddamu kuzimba Nakivubo
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimiriza bunambiro okuzimba kwonna ku kisaawe kye Nakivubo. Kcca egamba abali emabega w’omulimu ,baava dda kupulaani y’okuzimba ekisenge nga bwebakkiriziganya nga kati bali mu kuzimba midaala ekitali mu pulaani. Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bazze nga balabula […]
Abasuubuzi bafunye paaka
Ekitongole kya KCCA kiwadde olukusa abaddukanya akatale ka USAFI okubeerawo ne paaka ya taxi. Kino kigendereddwaamu kuyamba mu kukendeeza omugotteko. Omwogezi we kitongole kya KCCA Peter Kawujju agamba nti bawadde aba USAFI ekiseera kya myezi 12 nga baddukanya paaka ya taxi nga yakukozesebwa emmotoka ezikozessa […]
Ekisaawe kye Nakivubo tekiri ku pulaani
Kampala capital city authority akanze nga bw’egenda okuyimiriza eby’okuddabiiriza ekisaawe kye Nakivubo. Kino kiddiridde ebigambibwa nti abakiddabiriza bavudde dda ku pulaani Ab’ekisaawe kino bakkirizibwa okuzimba ekikomera kyokka nga KCCa egamba nti bano bali mu kuzimba maduuka Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti agambye nti […]
Teri South Sudan kwegatta ku mukago
Eky’okuyingiza eggwanga lya south sudan mu mukago gwa East Africa kisimbiddwa ekkuuli. Ababaka abamu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagamba nti aba sudan bayitirizza okutulugunya abasuubuzi okuva mu mawanga amalala nga betaaga kubonerezebwa Omubaka we Bukoto mu bugwanjuba, Mathius Nsubuga n’owe Bugweri, Abu Kauntu bagamba nti […]
OKuwandiisa Piki kuteredde
Okuwandiisa abagoba ba bodaboda kyaddaaki kuweddemu emivuyo Abagoba ba piki bano batandise okugenda okwetaba mu kubawandiisa ku bitebe ebitali bimu Wetwogerera nga piki ezisoba mu 1000 zeezimaze okuwandiisibwa ate ng’abalinze bangi Omwogezi a KCCA Peter Kawuju agamba nti bakusigala ng’era basomesa aba piki bano ku […]
Akatel ke Wandegeya kaggulwaawo mwezi gujja
Akatale k’omulembe akamu tekamala mu kampala Loodi meeya Erias Lukwago agamba nti obutale obulala bulina okuzimbibwa ng’ake wandegeya kawedde Lukwago agamba nti wansi w’enkola ya MATIP, baafuna obukadde bwa doola 70 nga zonna zakukola ku butale Lukwago agamba nti batunuulidde obutale mukaaga. Wabula bbo abasuubuzi […]
Aba biloole batoba
Abagoba ba bi loole abaddukanyiza emirimu gyaabwe mu ggwanga lya Congo bakyatoba olw’amataba. Amataba gano gaava mu mwezi gw’omunaana era nga gaziba amakubo nga teri mmotoka zitambula Akulira ekibiina ekigatta abagoba ba bi loole mu ggwanga lino, Bylon Kinene agamba nti bangi ku banaabwe tebalina […]
Kisekka atankuuse
Wabaluseewo obutakkaanya mu katale ke wa Kisekka Abasuubuzi abamu balumbye abakulembeze baabwe nga babalanga kutunda katale Abasuubuzi bano bakulembeddwaamu Hamida Nasimbwa nga bagamba nti bafunye amawulire ng’omwaka ogujja wegunatuukira ng’akatale Mye Wabula omwogezi w’akatale, Mubarak Kalungi agamba nti kino ssi kituufu nga ssinga baba bakukulakulanya […]
Aba Bodaboda bawera
Abakulembeze b’akulembeze ba boda boda basitudde buto. Bano baweze nga bwebatagenda kukkirizza KCCA kugenda mu maaso na kuwandiisa pikipiki kutuusa ng’egyeewo obulango obulangirira okuwandiisa kuno. Mu Lukiiko lwebatuddemu, abakulembeze bano bagambye nti bakkanya nti buli kimu kiyimirizibwe kyokka nga kibewunyisa okulaba nga KCCA terina kyeyatadde […]