Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobusuubuzi

Pulezident yeweredde abavuganya mu kampala

Pulezident Museveni alumbye bannabyabufuzi abalemesa enteekateeka za gavumenti naddala mu Kampala Ng’aggulawo akatale ke Wandegeya , president agambye nti tagenda kukkiriza muntu yenna ayimirira mu nteekateeka za nkulakulana Ng’asonga mu babaka abaagobwa mu kibiina kya NRM, Pulezidenti era agambye nti ababaka bano bagobwa mu kibiina  kubanga baali battattana butattanyi mu kifo ky’okuzimba. Mu ngeri yeemu asabye loodi meeya…

Read More

Abe Kalerwe bakusengulwa

Abatembeeyi abasoba mu mitwaalo 2 beebali mu bulabe bw’okusengulwa  mu katale k’oku kalerwe Bannanyini ttaka lino bagala kulikulakulanya Sentebe w’akatale, kano, Salamini Damulira agamba nti obutale obuwerako ku kalerwe buli ku ttaka lya bwannanyini nga buli omu ayagala kuzimba bizimbe bya mulembe Ono agamba nti bagaala wabeewo enkolagana ettaka lino likulakulanyibwe nga nabo balinamu omukono.

Read More

Akatale ke Wandegeya kawedde

Akatale ke Wandegeya kaggulwaawo nga munaana omwezi guno Akatale kano kawemmese obuwumbi 21 era nga kisuubirwa nti kakuyamba abantu abawerako abakozesa enguudo ezikaliraanye Akulira abakozi mu KCCA, Jennifer Musisi agamba nti buli kimu kiwedde nga ssabiiti ejja bajja kuba bakaggula Ono agamba nti kati amaanyi bagatadde mu nguudo ezituuka ku katale okulaba nti tewabaawo mugotteko nga zitambuza bulungi…

Read More

KCCA etunze emmaali y’abatembeeyi

Kampala capital city authority ekakasiza nga bw’etunze ebintu byonna by’ezze ewamba ku basuubula mu bumenyi bw’amateeka Kino kiddiridde okwemulugunya okuva eria bantua batali bamu nga bagamba nti ebintu byaabwe ebiwambibwa tebibaddizibwa Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti kooti y’ebalagira okutunda ebintu bino ssinga ebbanga lya myezi munaana liyitawo nga ba nyini byo tebabikimye

Read More

Abasuubuzi mu Owino basattira

Abasuubuzi baddukanyiza egyaabwe mu katale ka St Balikuddembe emitima gibali ku mutwe Bano olunaku lwaleero basisinkanyeemu KCCA mu kawefube w'okutaasa akatale kaabwe Kiddiridde aba Banka ya Barclays okubawa nsalessale w'omwezi ogujja okuba nga basasudde obuwumbi 6 bwebabanja oba ssi kkyo bakwezza ekyapa ky'akatale Wansi w’ekibiina kya Slowa, abasuubuzi bagamba nti KCCA y’erina okubataasa n’efulumya ekyapa kubanga kyekivuddeko obuzibu. Bano…

Read More

Embalirira eyisiddwa, omusolo ku mafuta gugyiddwaawo

Ab'oludda oluvuganya gavumenti baanirizza ekya gavumenti okujjawo omusolo ku mafuta g’ettaala. Akakiiko ka palamenti akakola ku by'ensimbi olunaku lw’eggulo kayanjudde alipoota  nga kalaga ng'omusolo ogw'enusu 200 ku mafuta gano bwegwagiddwaawo sso nga ogw'ebitundu 18% ku mazzi ga taapu gwo gwasigaddewo. Minister w’ebyenfuna mu gavument ewabula , Geoffrey Ekanya agamba kino kibadde kyetaagisa naddala mu biseera bino nga…

Read More

Owino bababanja

Abasuubuzi mu katale ka Owino bandifiirwa ettaka lyaabwe ely’omu Kisenyi mu kaseera k’okukulakulanya akatale Wansdi w’ekibiina kya Slowa, abasuubuzi bano beewola obuwumbi 3 mu obukadde 800kyokka nga tebasasulanga Omwogezi waabwe, Wilberforce Mubiru agamba nti banka yabawadde okutuuka nga 28 omwezi ogujja okusasula ensimbi zino ezizze zeetuma okutuuka ku buwumbi 6 Abasuubuzi bagusalidde KCCA ebetolozza okutuuka ne banka okutandika…

Read More