Poliisi ekyaali ku muyiggo gw'abantu abaalumba abakolera mu lufula ya portbell wano mu kampala
Mu lukiiko olutegekeddwa abasuubuzi ,aduumira poliisi ya Jinja road Wesley Nganizi agambye nti bakyafuna obujulizi okuva eri abantu abaaliwo nga tebannasalawo kisembayo .
Ssabiiti ewedde abantu abatannaba kutegerekeka baalumba ssentebe wa lufula eno Abbey Mugumba nebamukuba akatayimbwa n'oluvanyuma nebamubbako ensimbi ezisoba mu bukadde…
Eby'okwerinda binywezeddwa mu lufula y'eggwanga oluvanyuma lw'ababbi okulumba ssentebe wa Lufula eno ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe nebakulita n'obukadde obusoba mu 10.
Omwogezi wa lufula eno Wilberforce Muteesasira agamba bakakwatako abantu 10 abateberezebwa okuba mu lukwe luno era nga bakuumirwa ku poliisi ya Jinja road.
Agamba bakunze dda abasuubuzi bonna abakolera mu lufula eno okunyweza ebyokwerinda.
Mu kawefube ow’okugogola ekibuga okutemagana, KCCA efunye ebimotoka ebitambuza kasasiro
Minista wa kampala Frank Tumwebaze agambye nti bino byaguliddwa ku nsimbi z’eggwanga eziwerera ddala obwumbi 2
Ono agambye nti ebimotoka bino kuliko ebinyiga kasasiro ate ng’ebirala bbyo bimutambuza
Nga ebula mbale eggandaalo ly’okumalako omwaka lituuke, ebisale by’entambula byo byongedde okwekanama.
Abasabaze abakozesa baasi ne taxi kati bongezeddwamu 5000 ku nguudo empanvu ezisinga.
Okusinziira ku akulira emirimu mu kampuni ya baasi eya Horizon bus Terminal , Muzamir Lukumu, gano gakyali mabaga kubanga ebisale byakwongera okulinya oluvanyuma lwa nga 20 December.
Enteekateeka z'okuggulawo akatale ke Wandegeya zigudde butaka.
Kiddiridde abasuubuzi mu katale kano okugaana okussa emikono ku ndagaano y'obupangisa ebakkirizisa okukayingira.
Abasuubuzi bano bagamba nti ensimbi eziri mu ndagaano nyingi nnyo ate nga n'akatale kenyini tekannaba kuggwa
Akulira eby'obutale mu KCCA, Harriet Mudondo agamba nti mu lukiiko lwebatuddemu n'abasuubuzi kko n'abakungu okuva mu minisitule ya gavumenti ez'ebitundu, bategeraganye nti akatale kano kati…
Ba dereeva ba Taxi abakolera nmu paaka empya ebintu tebibatambulira bulungi.
Ensonga ssi ndala wabula mmere.
Bano nno abakolera mu paaka empya bukyanga eggulwaawo, abateembeeya eby’okulya bagobwa ate nga tewaliiwo birabo bya mmere
Ayagala okulya aba alina okufuluma mu paaka kyebagamba nti kyabulumi
SSentebe w’ekibiina ekigatta ba dereeva Mustafa Mayambala
Ekitongole kya Kampala capital city authority kikoze ebikwekweto ku batembeeyi abeyiye ku nguudo okweyolera ku mudidi nga batunda ebyamaguzi mu naku zino enkulu ezikubye koodi .
Bano kati obubudamu babadde babufunye ku mbalaza z’oluguudo lw’enakivubo nga okusinga bano baali bakolera mu katale ka park yard akaggya gyebuvuddeko.
Nga bwebagamba nti akufumbira eyebigere omufumbira yamutwe nemwenkanya evvumbe, abatembeeyi…
Nga tusemberera ennaku enkulu ebisale by’entambula byatandise dda okwekanama.
Abasinze okukosebwa bebakwata olwobugwanjuba bw’eggwanga nga eno mweyongeddemu 5000.
E Fort portal ebisale birinye okuva ku 15000, okutuuka ku 20,000 , e kasese kati 30,000 okuva ku 25,000 nga embeera yemu nabo abagenda e Bundibugyo.
Ebisale bino bikola ku bakozesa baasi za kampuni ya Kalita ne Horizon.
Okuddamu okuwandiisa emmtoka zonna kwongezeddwaayo okumala emyezi esatu
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue authority kitegeezezza nti abalina emmotoka babongedde emyezi esatu okubeera nga bazzeemu okufuna empappula ku mmotoka zaabwe.
Okwongezaayo kuno kuddiridde okwemulugunya okuva mu babaka ba palamenti nti abantu bang tebamanyi nti balina okuddamu okuwandiisa emmotoka zaabwe.
Abakungu ba URA nga bakulembeddwaamu Allen Kagina era bagambye nti…
Omuliro guzzeemu okukwata akatale ka paakayaadi .
Omuliro guno gutandise nga ku ssaawa kkumi ku makya .
Poliisi enziinya mooto etuuse mu kitundu kyokka nga tewabaddeewo kyakutaasa.
Abasuubuzi abalabiddwaako nga bakuba emiranga beewunise ate abalala balwana kulaba nga bataasa akatono akasigalidde
Yyo poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbulula mu abasuubuzi basuubuzi abagezaako okutaasa emmaali yaabwe era babiri beebakoseddwa