Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi ssibakusengulwa
Ab’obuyinza mu kibuga kye Mbale bayimirizza eky’okusengula abasuubuzi bokunguudo okudda mu katale akapya mu kibuga kino. Kino kiddiridde abasuubuzi bano okulumba ofiisi ya RDC Kachimate Shaban nga baagala abataase. Kati RDC yasabye tawuni clerk okuvaayo ne alipoota enambulukufu ku nsonga eno nga tanakiriz basubuzi bano […]
Gavumenti eremedde ky ky’okusabika amata
Gavumenti ekyakalambidde ku ky’okuwera amata agatali malongose era nga simasabike. Minister omubeezi owamagana Bright Rwamirama agamba gavumenti tejja kulinda kulaba nga omutindo gw’amata gusse okubaako nekye’kola. Kino kiddiridde bananyini bimotoka by’amata okusimba ebimotoka byabwe nga bawakanya kino. Agamba amateeka gano gabaddewo okuva mu 2007 wabula […]
Abatunda amata mu bipipa beekalakaasizza
Abasuubuzi b’amata mu ggwanga bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulagira amata gonna agatundibwa mu ggwanga gabe nga galongoseddwa era nga gasabikiddwa mu bipaketi. Bano basazeewo okusimba ebimotoka byabwe eby’amata byonna okwetolola eggwanga. Edward Butera nga ye mwogezi w’ekibiina ekitaba abatunzi b’amata bano agamba […]
Obutale obulala musanvu bujja
Ekitongole kya kampala capital city authority kimalirizza enteekateeka z’okuzimba obutale 7 obw’omulembe mu division za Kampala etaano nga era bwakubeera ku mutindo gwakatale ke Wandegeya.. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba omulimu guno kwakuwemmenta obuwumbi 250 nga era abasuubuzi abasoba mu mitwalo 2 bakufuna webakolera. […]
Abantu bategedde yinsuwa
Gavumenti egamba nti abantu bazze bategeera omugaso gwa yinsuwa Kino kyeyolekedde ku bantu abazze bafuna yinsuwa ng’obuwumbi 456 bwebwafunibwa okuva ku buwumbi 351 mu mwaka ogwa 2012 Bino biri mua lipoota ekoleddwa ku nsonga za Yinsuwa nga bwezatambula mu mwaka 2013 Akulira ekitongole ky’eggwanga ekitwaala […]
Poliisi etabukidde aba betingi
Poliisi eyisizza amateeka amakakali ku kkampuni za bettingi. Kkampuni zino zonna kati zakuggulwangawo ssaawa nnya ez’okumakya era ziggale ku nnya ez’ekiro Akwanaganya poliisi ku Muntu wa bulijjo Anatooli Muleterwa agamba nti ekigendererwa kukuuma mirembe awali kkampuni zino Ono agamba nti kyo ekikwekweto ekiggala kkampuni zonna […]
Aba taxi baweze obutasengulwa
Ba dereeva ba taxi baweze nga bwebatagenda kuva mu paaka enkadde okutuuka nga babafunidde webadda Abakulira Mustafa Mayambala agamba nti kikakata ku KCCA okubafunira webadda awagazi mu kifo ky’okubaisndika ebweru Mayambala agamab nti paaka ezoogerwaako ng’eya USAFI ntono nnyo okubamalawo KCCA yalangiridde nti yakutandika okuddabiriza […]
Abagoba ba baasi bakaaba
Bannayuganda abavuga baasi ezigenda e Kenya bongedde okukandula ku maloboozi nga bagaala buyambi bwa gavumenti Okuva ssabiiti ewedde nga bagezaako kusisinkana bakulu mu gavumenti kyokka nga bakyalemereddwa Bano nno ssi basanyufu nti gavumenti ya Kenya tebaagala bavuge kiro ate nga babakak n’okwewandiisa mu bibiina by’obwegassi […]
Emiwendo gy’amasanyalaze gyetaaga kukyuuka buli kaseera
Yadde nga gavumenti yagaana UMEME okwongeza ebbeeyi y’amasanyalaze, yeemu eno egamba nti ebisale bino bijja nga kwongezebwa okusinziira ku mbeera y’ebyenfuna mu ggwanga Ab’ekitongole ekya ERA bagaana UMEME okwongeza amasanyalaze wabula bongere kukendezaako shs 1. Omwogezi w’ekitongole kino Julius Wandera agamba nti ebisale bino birina […]
Aba konteyina basenguddwa- 2 bakwate
Abantu 2 bakwatiddwa oluvanyuma lw’okugezaako okulmesa poliisi okusengula abasuubuzi ababadde bakolera kumpi n’essundiro ly;amafuta erya Petro city e Nateete . Amakya ga leero bawanyondo bakooti nga bayambibwaako poliisi basengudde obuyumba bw’abasuubuzi bano oluvanyuma lwa nanyini taka lino atannaba kutegerekeka okuweebwa ekiragiro kya kkooti ekiragira nti […]