Bannanyini buyumba omutundibwa ebintu ku kkubo wali e Lugala ku kidda ku luguudo lwa Northern Bypass bakeeredde mu miranga oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA okumenya obuyumba bwaabwe.
Aba KCCA bamenye obuyumba bwonna obuli okumpi n’ekubo lino okusinga obwobubaawo n’ebibaati nga era obukunukkiriza mu 20 busigadde ku ttaka.
Bbo bananyini bwo bakaaba kimu, tulagawa?
Nga wakayita olunaku lumu lwokka ng’abamasimu bategeezezza nga bwebagenda okwongeza ebisale bya mobayilo mane, bbo ab’amafuta tebalinze era bagongezza
Emu ku kkampuni ggaggadde eya amafuta eya VIVO energy oba giyite shell eyongezza shs 50 ku mafuta nga kati ga shs 3750 ku masundiro gaayo
Akulira kkampuni ya Vivo, Hans Paulsen agambye nti kino bakikoze kubanga…
Abasuubuzi mu katale ke Nakasero bagaala gavumenti ekome okuwa lisinsi ebibiina by’obwegassi abantu byebamanyi nga Sacco.
Kiddiridde ekibiina ekimanyiddwa nga Asalam SACCO okudduka n’obukadde bwaabwe ataano bwebabadde bakaterekawo.
Abasuubuzi bano bagamba nti buli omu yasasula emitwala etaano okuggulawo akawunti era nga babadde kati bawezezze wakati w’emitwalo 20 na 50 buli omu.
Abagoba ba taxi mu kibuga bakangudde eddoboozi ku ky’okuboyebwa kwa taxi ezisimba ku makubo
Aba KCCA olwaleero bakoze ekikwekweto mwebakwatidde taxi zonna ezisimba awakyaamu ng’enguudo ezikoseddwa kwekuli Ntinda ne Jinja Road.
Aba taxi beetwogeddeko nabo bagamba nti basobeddwa ewaka ne mu kibira kubanga bu webadda babalumbayo
Wabula yye omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti omulimu gwaabwe kutereeza…
Abakolera mu katale ka USAFI bavudde mu mbeera nebekalakaasa ng'obuzibu buva ku Kabuyonjo
Abantu bano bagamba nti kabuyonjo balina emu ate nga terina mazzi.
Bano era bawakanya n'eky'okubasasuza shs 200 ez'okuyingira mu Kabuyonjo nga bagamba nti zandibadde zisalwaako.
Bannayuganda abakkakalabiza egyaabwe mu ggwanga lya South Sudan bagaala amaggye ga Uganda gongerwe mu kitundu kino.
Bano bagamba nti kino kyakulongoosa eby’entambula basobole okukola nga tebatya
Bino biggyidde mu kaseera ng’amaggye ga Uganda gakalabula ku bakwatammundu abongedde okuteega ku nguudo okunyagulula abantu
Ssentebe wa bagoba ba biroole mu ggwanga Bylon Kinene agamba nti kino kyekyokka ekijja okubayamba okufuna…
Abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi kyaddaaki bakkirizza okwewandiisi.
Abakulu bano baali bagaana nga bagamba nti tebamanyi lwaki beewandiisa
Wabula bano yadde embeera tekyuuse kuluno bakkirizza okwewandiisa
RCC wa kampala Aisha Kabanda y’akulembeddemu omulimu gw’okubasendasenda beewandiise nga y’aleese n’abawandiisa
Omuwandiisi w’akatale kano, john Bosco Serwadda Kabanda atutegeezezza nti bakooye okusika omuguwa nga y’ensonga lwaki beewandiisizza.
Wabula yye RCC Kabanda agamba nti…
Abantu musanvu abakwatiddwa nga bagula ku batembeyi kkooti ebalagidde bakole bulungi bwa nsi.
Ku bano kuliko omuyizi Salim Musoke eyasangiddwa ng’agula sitokisi.
Omulamuzi w’eddaala erisooka ku City Hall Erias Kakooza bano abalagidde okukola essaawa emu n’ekitundu eya bulungi bwa nsi nga basindikiddwa KCCA gy’ewa kasasiro mu kiteezi
Balabuddwa obutaddamu kuzza musango guno kubanga ekibonerezo kyakusingawo ssinga bageza nebaddamu
KCCA…
Abantu 15 beebayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa KCCA ku bagula ku batembeeyi
Mu bano kwekuli n’abatembeeyi benyini
Ekikwekweto kino kibadde ku luguudo lwa Luwum mu kibuga era ng’emirimu gisanyaladde nga bino bigenda mu maaso.
Omwogezi wa KCCA peter Kawuju agamba nti abantu bano beebasibye abasuubuzi ku makubo nga kati beebakyukidde era ekikwekweto kyakugenda mu maaso.
Abakozesa amasimu baddukidde mu kooti enkulu olw’amakampuni agatabaweereza bulungi.
Bakulembeddwaamu Abel Balemesa nga bagamba nti kkampuni z’amasimu ziyitirizza obubbi nga zisala n’ensimbi ku bubaka obutasindikiddwa
Bano bagamba nti mu ngeri yeemu n’amasimu agakutuka gajjibwaako ensimbi ekintu ekikyaamu
Bano bawaabiddeko n’akakiiko akakola ku by’empuliziganya nga kko bakalanga kusirika ng aba kasitoma babbibwa
Bagaala kkooti alagire akakiiko kano kalonde kkampuni ey’etongodde…