Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe olwaleero basisinkanye okuteesa ku ngeri gyebanasasulamu obuwumbi obusoba mu busatu zeebeewola mu DFCU nga kati zituuse ku buwumbi 6.
Abasuubuzi bano batudde ku mpiso nga bandifiirwa ettaka lyebaagula mu Kisenyi okusengukirako nga bwebazimba akatale olw’ensonga y’ebbanja lyebafuna okwetuuma
Akulira abasuubuzi Godfrey Nkajja agambye nti babaawa okutuuka mu mwezi gwa November omwaka…
Ebbeeyi y’amafuta g’ettaala yandisigala waggulu yadde nga emisolo gyagiddwaawo.
Minisita akola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka agamba nti gavumenti terina kya maanyi ky’eyinza kukola kukendeeza mafuta kubanga emiwendo gitambulira ku bwetaavu bw’ekintu
Gavumenti wabula yasazeewo okujjawo omusolo ku mafuta g’ettaala oluvanyuma lw’abantu abatali bamu okuguwakanya
Kiwanuka agamba nti omusolo ogwandivudde ku mafuta baali bakugulamu solar mu byaali nga kati…
Gavumenti ya Kenya akkirizza okuliyirira abasuubuzi bonna abafiirwa amaali yaabwe mu kwekalakaasa okwaali mu Kenya nga balonda omukulembeze mu mwaka 2007.
Mu kulonda okwaaliwo, abantu abawera bafiirwa ebintu byaabwe nga muno mwemuli ne bannayuganda ate ng’abantua basoba mu 1000 bbo balusuulamu akaba
Ssabawandiisi w’omukago gw’amawanga ga East Africa Richard Sezibera ategeezezza bannamwulire nti bakyakola ku bisembayo nga…
Abatunda emmere abasoba mu 15 beebayoleddwa mu kibuga olunaku lwaleero
Amyuka omwogezi wa KCCA, Robert Kalumb agamba nti abakyala bano bakwatiddwa lyakukolera mu bifo bijama
Kalumba agambye nti bagaala abantu bano bave mu bifo ebikyaamu kubanga kati babateerawo obutale
Bino bizze nga KCCA era yakaggala emidaala egitunda emmere egisoba mu 200 mu bitundu bye Kinnamwandu, Arua Paaka ne…
Sim card
Kooti eragidde abakozi ba kampuni ya MTN 2 bakwatibwa lwakunyaga ensimbi z’abantu obukadde 2.3 okuva kumukutu gwa mobile money.
Muhammed Kajubi ne Alex Munyambabazi era bavunaniddwa okugala emikutu gya Mobile money mu bukyamu ngabayambibwako banabwe okuli Denis Kagabo, Rogers Maliga ne Atim Harriet a omuyizi mu ntendekero lye Makerere.
Kigambibwa wakati wa November 2012 ne December…
Abatunda amafuta amatabule ku luno bubakeredde
Okusinziira ku mateeka amapya, omuntu yenna anasangibwa n’amafuta amatabule wakusasula ebitundu 10 ku kikumi z’emaali ye
Akulira ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu Ben Manyindo agamba nti olw’amaanyi gebayongera ku nsalo, kati amafuta bagatabulira mu kkubo nga gali mu Uganda
Manyindo agamba nti kati bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga beetegereza amafuta agatundibwa okulaba…
Abamu ku bagoba b'ebidduka mu kibuga bawakanyizza ekya banaabwe okwekalakaasa ku bbalaza eya wiiki ejja.
Abagoba ba taxi, loole , ne boda boda abeegattira mu kibiina ekya National Union of Drivers, Cyclists and Allied workers abalangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka amakakali ku bidduka agateekebwawo KCCA.
Wabula abamu ku bagoba ab’ebidduka nga bakulembeddwa mu Aziz Kirya…
Omubaka wa pulezidenti mu kampala Aisha Kabanda ayingidde mu nsonga z’abasuubuzi abagamba nti baagula emidaala mu USAFI.
Kabanda agamba nti abasuubuzi bano bonna bagenda kuliyirirwa ra ng’ataddewo ne ofiisi enayambako abantu.
Ono agamba nti kikyaamu okulyamanya abantu
Wabula yye maneja wa USAFI Umar SSekamatte agamba nti abantu bonna abakwata emidaala basasulwa nga tewali abanja
Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority bagamba nti baali tebasobola kwebeera kuleeta misolo mipya kubanga eggwanika lyetaaga ensimbi
Mu mwaka gw’ebyensimbi guno, gavumenti yaleeta emisolo emipya ku byobulimi, ku kujjayo ssente n’okwongeza emirala ng’egya Mobile mane
Amyuka akola ku misolo egyamaanyi John Muyanga agamba nti embalirira eyakolebwa ya busiriivu 15 ate nga zonna ziva mu misolo.
Abamu ku babaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti baweze okusimbira ekuulu embalira ya ministule y’amazzi n’obutonde by’ensi singa tessa mu nkola eky’okuwera obuveera.
Mu mwaka gwa 2011, gavumenti yayisa etteeka eriwera okutunda wamu n'okukola obuveera obutali bugumu , kyokka n'okutuusa kati etteeka lino teritekebwanga mu nkola.
Minisita w’amazzi n’obutonde by’ensi mu gavumenti y’ekisikirize Beatrice Anywar…