Ebyobusuubuzi
Pulezidenti agenze Dubai kusakira uganda.
Bya samuel Ssebuliba. Wetwogerera nga omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni mutaka mu United Arab Emirates ku bugenyi obw’enaku esatu nga eno agenzeeyo kwetaba mu lukungana lwebyobusubuzi olwensi yonna olukwata ku Africa luyite annual global Business Forum on Africa. Ono okugendayo yamaze kuyitibwa mukulembeze […]
Ab’omukikuubo bakiise embuga.
Bya shamim Natebwa. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abantu ba Buganda okunyikira okukola newankubadde embeera y’ebyenfuna si nyangu mu uganda. Katikiro okwogera bino abadde asisinkanye abasuubuzi b’omu kikuubo abakiise embuga n’abakalatira okuwagiira enteekateka z’obwakabaka ezizza Buganda ku ntiko Abasuubuzi bano bakise embuga […]
Banna-uganda ensimbi bakyazitereka mu bikondolo.
Bya Ben Jumbe. Waliwo okunonyereze okukoleddwa n’ekizulibwa nga banna Uganda ebitundu nga 30% ensimbi zaabwe bazitereka mubikondolo na wansi wa mifaliso. Kuno okunonyereze kw’akoleddwa eb’ekitongole ekikola ku by’emiwendo mu Uganda ekya Uganda Bureau of Statistics, nga bano bagamba nti wetagawo okusomesa banna-uganda obukulu bw’okutereka ensimbi […]
Okutumbuula ebyo’busuubuzi mu gwanga
Olukiiko oluvunanyizibwa okutumbula ebitundibwa ebweru w’eggwanga olwa Uganda export promotions board lutegezezza nga bwewetagisa okuteekawo ofiisi ezenjawulo mu bifo ebitali bimu ebitundibwa ebweru w’eggwanga bwebiba byakweyongera. Okusinziira ku biwandiiko by’ebintu ebyatundibwa ebweru w’eggwanga mu mwaka gwa 2014, Uganda yafunamu obuwumbi bwa doola 2.6 mu 2015 […]
Abatembeeyi bakugoobwa mu kibuuga
Ekitongole kya KCCA kikakasizza bananyini maduuka nga bwebagenda okugoba abatembeeyi bonna kunguudo mu bwangu. Omwogezi wa KCCA Peter Kauju agamba baasindikidde dda abatembeyi bano amabaluwa agabalabula okwamuka enguudo zino. Kauju agamba singa tebavako mu mirembe, abakwasisa amateeka bakubatwalaganya.
Ekitongole ky’ebyamakomera kigenda kulima kulima pamba
Oluvanyuma lwekiteeso ky’okuwera emivumba, ab’ekitongole ky’ebyamakomera baagala kuteeka nsimbi mu kulima pamba nga batunulidde katale ka East Africa. Akulira ebikolebwa mu makomera Andrew Kisitu agamba baagala kulaba nga nabo bateeka ettooffaali ku byenkulakulana by’eggwanga.
Abasuubuzi basanyufu
Abasuubuzi bakuno basanyukidde ekyeggwanga lya South Sudan okwegatta ku mukago gwa East Africa. Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KCITA Isa Ssekito agamba kati ab’eggwanga lino osanga banagondera amateeka nebatunula mu nsonga eziluma bannayuganda abasuubuzi abakolerayo. Ssekitto kati agamba abasuubuzi bakuno basobola okukozesa omukago […]
Uganda yakufiirwa buwumbi
Uganda eyolekedde okufiirwa akawumbi kamu n’obukadde nga 400 lwankyukakyuka ya budde mu myaka 20 egiggya. Akulira eby’obutonde bwensi n’entobazi mu minisitule y’ebyamazzi n’obutonde bwensi Paul Mafabi agamba eby’obulimi byebigenda okusinga okukosebwa kale nga gavumenti esaanye okusomesa abalimu ku nsonga eno bagisalire amagezi nga bukyali. […]
Mwezi gwa bakyala basuubuzi
Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi z’essa ku nsonga z’abakyala. Okusaba kukoleddwa akulira abakyala abali mu byobusuubuzi Gudula Naiga mu kutongoza omwezi gw’abakyala abasuubuzi. Gudula agambye nti kiwa amaanyi nti abakyala abenyigira mu byobusuubuzi ebitonotono bawezezza ebitundu 44 ku kikumi. Kyokka omukyala on agambye nti abakyala […]
Eby’okwerinda mu katale biragaya
Abasuubuzi abakolera mu katale akakulu e Gulu bemulugunyiza ku by’okwerinda ebiri yegeyege ku katale kaabwe. Ku ntandikwa y’omwezi guno abasuubuzi abasoba mu 1000 abaali mu butale okuli Kakanyero ne Kaunda basenguka nebadda mu katale kano. Wabula nga bakakoleramu kati wiiki 2 zokka, abasuubuzi bemulugunya nti […]