Olwali
Entulege esibidde ku bipaapi webasalira
Entulege ebuze okuva mu kuumiro esezza bangi bw’efunye weyewogoma Eno nno esoose kwezooba na poliisi obwedda egigoba kyokka nga bw’etuuse awali enkoloboze awasalira abantu n’esiba. Poliisi oluvanyuma lw’okusagggula ensiko ebivuddeko n’edda ku kkubo ng’asaze entulege enpo eyimiridde era tezzeemu kudduka Ababimanyi bagamba nti ebipaapi ebigifanaana […]
Wallet eyabula emyaka 24 alabise
Omusajja eyabulwaako wallet ye emyaka 24 emabega amaze n’agifuna Manyi kati bangi bawakana naye nga kituufu . Omusajja ono amanyiddwa nga Shrivel yewnyizza omuntu okumukubira essimu ng’amutegeeza nga bw’alonze wallet eno. Ekyewunyisizza nti byonna ebyaali mu wallet eno mwebili yadde nga munda abadde atandise okuvunda.
Yakoowa poliisi
Abantu abamu bakoowa poliisi naye ono yayitawo. Ashton Powers, a 24 okuva mu ssaza lye Arizona ageze omusirikale wa poliisi atudde mu motoka ye , n’agyayo akambe nagifumita emipiira gyonna. Ono abadde amulanga kulawuna nyo kiro nga abalekanyiza akagombe ka police.
Bibasobedde
Abaagalana babiri ababadde bagenda va okubwa empeta emitima gibavuddemu n’eby’okwemoola nebabivaako ekizimbe bwekiyiise nga bayitawo. Bano babadde batuuka bwebati ku lutikko webabadde bagenda okugattibwa ekizimbe nekiyiika ku muliraano buli omu n’ateekako kakokol atondeka nyuma okubadde ne Reverand yennyini abadde alina okubagatta Ekirungi nti tebakoseddwa kyokka […]
Aweeweeta amabeere
Omusajja omukugu ku by’okuyonsa ayolese okufiirwa omulimu gwe oluvanyuma lw’abasajja okwemulugunya nti abadde aweweeta amabeere ga bakyala baabwe Yang Jun okuva mu masekkati ga China agaba nti okusomesa omukyala obulungi ku ngeri gy’ayonsaamu oba gyebamukebera kokoolo aba alina kuweweta ebbbere buli n’ategeera Ono era […]
Asaze amasanvu n’awangula empaka
Omukyala eyali yagejja yenna ng’awedde ku mpagala awulidde empaka z’obwannalulungi n’atabukira gymn okukakkana ng’aziwangudde Omukyala ono ow’emyaka 31 asoose kwesonyiwa bisiike olwo n’ayingira abavuganya era yayingiddewo bulungi mu kagoye akawungirwaamu enduulu n’eraya Yatandika okwekozza mu mwaka gwa 2011 nga takyamala galya era nga abadde alya […]
Eddugu lilina swagga
Abantu abalina amasaali bangi naye obadde okimanyi nti n’ebisolo tebinyigirwa mu ttooke Mu ggwanga lya Ireland, Eddubu liyingidde mu baala nerisaba eky’okunywa Eddubu lino wabula ekyewunyisizza ababaddewo teririnze muwereeza kuleeta kyakunywa neryekandagga nerifuluma Ekirungi nti ba customer abasinga babadde mu kisenge kya bbaala ekirala era […]
Munnamawulire akikoze
Munnamawulire abadde anyonyola banne nga bwawandiika saako n’okukuba obufananyi nga anyonyola, yeekanze akubye ekifananyi ky’obusajja mu butanwa. Ono awulidde banne kuseka nga tamanyi kigenda maaso . Agenze okwekanga nga mu bufananyi obwedda bwakuba mulimu akafanana obusajja bwe.
Abbye omufu
Ono bukyanga bamutenda okubba abbyeemu bino. Omusajja ono ayeeyita Billy ebbye evvu ly’omufu Muliranwa yeeyafiirwa nyina nebamwokya ne evvu n’alitereka ng’abadde alitunulako okujjukira nyina. Omusajja ono b’wabuuziddwa wa gy’abadde atwala omufu n’ategeeza nga bw’abadde agyiyita enjaga y’obuwunga
Iryn Namubiru mu kooti
Okunonyereza ku musango ogwawaabwa omuyimbi Irene Namubiru kukyagenda mu maaso. Ono yawaaba munnabyabusuubuzi era nga yeeyali manager we Kim Tumwesigye ng’amulanga kumutikka njaga mu bugenderevu Kigambibw anti wakati w’enaku z’omwezi 1 ne 5 mu mwezi gw’okutaano mu mwka aguno, Kim ono yamusaba okumutwalira ku case […]