Olwali
Yesozze akabaga kwebatamuyise
Abantu abagwiira obubaga obutali bwaabwe tebali Uganda wokka Mu ggwanga lya America, omusajja ow’omusajja ow’emyaka 28 yesozza akabaga k’amazaalibwa ag’omwana ow’emyaka 8. Ono atuukidde mu byakulya n’okukwata balooni z’abana ekinyizizza abazadde ababadde baleese abaana baabwe Omusajja ono abadde tayambadde ngatto na ssati webamufuumulidde Ono nno […]
Amakovu gakola olususu
Abakyala bakola bingi okukuuma ensusu nga zitemagana wano mu Uganda. Bw’oba olowooza nti ofubye nyo wulira bakyala banno byebakola mu Japan. Mu ggwanga lino waliwo saloon eleese enkola y’okukozesa amakovu okukuuma ensusu z’abakyala nga zitemagana Amakovu gano bagasse omuntu mu maaso olwo negatandika okusonokerako okubikka […]
Ente emusse
Mu brazil, ente egwiiridde omusajja mu buliri n’emutta. Joao Maria de Souza, 45, badde mu matta nsejere ente eyatolose mu faamu nerinya enyumba eyise mu kasolya nemwekatako era n’asibula ebyensi. Musajja wattu afiiridde mu kifuba kya kabiite we.
Meeya asiiba mu kunywa Ice-Cream
Bannabyabufuzi emirundi mingi balumbiddwa nebayitibwa n’abaana abato. Kino kituukidde bulungi ku meeya eyalondebwa ow’emyaka ena eyalondebwa okukulira ekibuga Dorset ekisangibwa mu Minnesota. Ono ba meeya abalala gyebalambulira emyaala okulaba oba gigogoddwa , ono obudde bwe abumala mu kunuuna ice cream n’okuvuba obwenyanya Robert […]
Omusajja alobedde ku mukyala abazigu nebakyekola
Waliwo obuboozi obunyuma okuwulira naye nekano kewunyisa. Abazigu mu ggwanga lya Amerika babbye omusajja obutamulekera kantu mu nyumba bw’abadde asamaaliridde ku kabiite we abadde akuba eddubi mu kidiba kyaabwe eky’awaka. Gyooli tasula naye, musajja mukulu ono aweddemu nga atunulira embooko ye ebadde esuddemu obugoye obuwugirwamu […]
Omwenge banaaba munaabe
Mu ggwanga lya Czech Republic abasajja banditandika okuwerekera bakyala baabwe nga bagenda okwewaamu Kino kiddiridde wooteri emu okusaawo ekibaafu mwebawummulira nga kikubyeeko omwenge. Abaddukanya wooteri eno bagamba nti babadde balowooza nti abanakozesa ekibaafu kino bajja kukivaamu nga basanyufu kyokka nga abakakibeeramu banywa nebagangayira nebakiremera […]
Omusajja akojobye mu lifuti
Mu bungereza Omusajja kagwensonyi ayingidde lift najifuula ekyoloni. Kamera ziraze kagwensonyi ono nga ayingira lift awalindirwa train, nakola susu omulundi ogusooka, oluvanyuma neyeyambulamu engoye zonna era naddamu. Okumanya oli ajooga engoye zeyazze nazo yazigyemu olwo nayambala endala noluvanyuma naddamu ekikolwa kyekimu. Police etegeezezza nti ekbikolwa […]
Abakyala bakaaye
Mu ggwanga lya Zimbabwe abasajja ssi bakukomba ku kaboozi ssinga tebetaba mu kulonda. Minister mu gavumenti y’akunze abakyala bonna okumma ba baabwe omukwano okutuusa nga bamaze okwewandiisa okulonda. Priscilla Muhsonga agambye nti abasajja bangi beebulankanya ng’okulonda kutuuse olwo eby’okulonda nebabirekamu bakyala bokka. Omukyala […]
Namukadde amaze okusoma
Namukadde mu ggwanga erya mexico akoze ekyaafayo bwamazeko ekibiina kya primary nga aweza emyaaka 100. Manuela Hernandez, yazaalibwa mu saza lye of Oaxaca June 1913, wabula nawanduka mu somero nga alina okunoonyeza abomumkage ekyiokulya. Omu ku bazukulu be byeyamuwadde amagezu addemu okusoma kyeyakioze noluvanyuma namalako. […]
Omusajja gwebatemako omukono aguzudde
Omusajja enzaalwa ye Vietnam eyatemwaako omukono emyaka egisoba mu ana emabega agufunye Nguyen Hung yakubw aamasasi ku mukoo abajaasi ba America mu mwaka gwa 1966 era nebamusalako omukono kyokka ng’omusawo eyakikola yasalawo okuguterela okujjukirirako olutalo lwa Vietnam ne America Omuukono gwavunda era n’asalawo okutereka amagumba […]