Olwali

Omusibe bimusobedde

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

Omusajja abadde yeevuga okugenda mu komera okumalayo ekibionerezo kye ekyokusibw ku wiikendi akiguddeko.   Jorden Morin, 25, abadde agenda  mu komera police nemukwaata lwakuvuga motoka nzibe. Ono ku kibonerezo ayongeddwako enaku 120 lwakweyisa bubi nga akyaali musibe saako nemyeezi emirala 6 olwokukwaatibwa nekintu ekibbe.  

Gogolo mu Japan

Ali Mivule

July 2nd, 2013

No comments

Abatambuze mu kibuga Tokyo ekya Japan kati bali mu gogolo   Kidiridde olufu okuyiika nga lusereera nga ssabuuni era ngomuntu aba tasobola kutambula     Mu kusooka abantu balowoozezza nti muzira kyokka kyabaweddeko okulaba nga basereera buseerezi

Katemba

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

Katemba taggwa mu nsi muno.   Mu ggwanga lya America, kkampuni emu ekoze ekipipa bya kasasiro mu kifanaanyi ky’okusajja ng’ayambadde engoye ez’omulembe   Kkampuni eno ekoze engoye endala z’etadde ku bud dole era nga kino kisanyukirizza ddala abantu.   Abamu ku bantu abalabye ku bipipa […]

Enviiri z’okukifuba zitunda nga buwuka

Ali Mivule

June 24th, 2013

No comments

Emisono tegiggwa munsi muno.   Mu ggwanga lya Bungereza omu ku bayiiya emisono, awalakase abasajja abyooya ku bifuba n’akolamu jacket ey’omulembe.   Ono kyamutwalidde essaawa 200 okukungaanya enviiri z’abasajja bano okufuna ezimumala okukola jacket eno.   Kkampuni enkozi y’amata emanyiddwa nga Arla yeetongozezza jacket eno […]

Omwana alemedde mu kisero

Ali Mivule

June 24th, 2013

No comments

Omwana abadde azannya alemedde mu kisero ky’engoye mw’abadde azanyira. Omwana ono abadde azadde jangu onkwekule ne maama we kyokka n’atasobola kuva mu kisero kino Poliisi eduukirira ebibamba eyitiddwa bukubirire era y’etaasizza omwana ono.   Omwana ono ekirungi nti tafunye bulabe bwonna.

Ekiwaani ky’enviiri kibizadde

Ali Mivule

June 24th, 2013

No comments

Omukyala eyasaze olukujjukujju omwana we n’awangula empaka z’enviiri ali mu kattu Mpaka z’abadde z’ani asinza enviiri ezirabika obulungi era omukyala ono Sohila teyabiruddemu n’agula ki wiigi. Yakyambazza omwana we eyali yakutuka enviiri bw’atyo n’awangula. Abantu abaalabye omwana ono ow’emyezi ekkumi nga nyina amuyingiza mu kizimbe […]

Batunda keesi n’omufu waamwo

Ali Mivule

June 24th, 2013

No comments

Poliisi eyimirizza eby’okutunda ssanduuko oluvanyuma lw’okugisangamu engubanguba z’abantu Ssanduuko eno esssiddwa ku katale era nga bangi babadde bagaala okugigula kyokka kibaweddeko okusangamue engubagumba z’eyali nyini yo. Ssanduuko eno yabadde esiddwa ku mukutu gwa yintaneeti ng’etundibwa doola omutwalo gumu mu enkumi bbiri Aba poliisi mu kibuga […]

Swiiti w’ebbeere

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Kampuni emu mu ggwanga lya America etandise okukola swiiti w’abaana ng’emukola mu mata g’amabeere.   Swiiti eno omuwa omwana n’atajula kuyonka beere   Nnanyini kkampuni eno, Jason Darling agambye nti akikoze oluvanyuma lw’okulaba nga mikwano gye gyonna kyenkana gilina abaana ate nga ba maama baabwe […]

Ente esobeddwa

Ali Mivule

June 5th, 2013

No comments

Abaddukirize bayitibwa okutaasa engeri ezitali zimu. Abamu bayitibwa kutaasa kappa, mmese n’ebilala naye nga ku luno abaddukirize bano bayitiddwa kutaasa nte eyingizza omutwe mu kituli ekili ku muti negulaalirayo.   Ente eno yabadde egezaako kukunukkiriza muddo ogwabadde wakati w’emiti ebiri okuva ku lunaku lwa bbalaza […]

Eyatta omuyaayu akaabidde mu kooti

Ali Mivule

June 4th, 2013

No comments

Omusajja omu mu ggwanga lya New zealand akubiddwa mu mbuga zamateeka lwakutunda diba lya kappa. Gavin Wilkinson  yatta kappa eno oluvanyuma lwokusanga ka kappa kano nga kalya  obukoko bwe. Ono alajanye nti mpaawo musango gweyazza okutta omuyaayu guno.