Olwali

Omufu azuukidde

Ali Mivule

May 16th, 2013

No comments

Abakungubazi mu gwanga lya Zimbabwe kibabuuseko munaabwe gwebabadde batadde mu sanduuko nga bamanyi afudde bwaazuukuse  nebabuna emiwabo. Brighton Dama Zanthe, 34,yaazuukidde mumakage e e gweru oluvanyuma lwokukakasibwa nti yabadde afudde. Oluvanyuma lwokugwamu ekyekango ono adusiddwa mu dwaliro kwasidwa ku kyuuma kya oxygen ekimuyamba okussa.

Asanyizzaawo emmotoka

Ali Mivule

May 16th, 2013

No comments

Omusajja abadde yakagula emmotoka ye kapyata agisanyizzaawo kulaga obusungu olw’abakozi mu kampuni en okumulengezza   Ono apangisizza bawonyondo abakonyekoonye omubiri gw’emmotoak eno negugwaawo nga kino akikoledde ku mukolo ogutegekeddwa kkampuni eno okwolesa emmotoak zaayo Abantu abasoba mu 100 beebakungaanye okwwerabira ku musajja ono obwedda ali […]

OKuwummula ku Mulimu kikosa obwongo

Ali Mivule

May 16th, 2013

No comments

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti omuntu yenna bw’awummula ku mulimu alian engeri gy’akosebw aku bwongo.   Kino kiva ku birowoozo ebyesomba nga byekuusa ku muntu engeri gy’aba agenda owkeyimirizaawo nga talina mulimu.   Ate abalala nebwebaba balian eky’okukola bababalowooza nnyo ku ngeri y’okuzibikira aawabadde wava omusaala […]

Emisinde gy’obukunya

Ali Mivule

May 8th, 2013

No comments

Ebyobwerere birisuula abantu ku buzibu . Mu basel ekisnagibwa mu ggwanga  lya switzerland, abakazi  beetabye mu mpaka zemisinde nga bali bukunya bawangule , engoye ezobwerere. Kino kidiridde nanyini dduuka erimu okutegeka embiro zino eza metre 375  nga omuwanguzi  yabadde wakufuna eakapapula kugula engoye ezibalirwamu pound […]

Obulungi bumumazeeko emirembe

Ali Mivule

May 8th, 2013

No comments

Omusajja eyagobwa mu Saudi Arabia olw’okubeera omulungi ennyo, ebizibu bye bifuuse mabeere ga mbwa.   Omusajja ono agobeddwa ne ku mutimbagano gwa facebook. Olmra Borkan Al Gala buli bw’ogenda ku mutimbagano guno otegeezebwa nti takyaliwo. Omusajja ono nabantu ababadde bamukwana omuli abasajja nn’abakazi babadde bayitiridde […]

Embwa ya poliisi evudde ku mulimu

Ali Mivule

May 7th, 2013

No comments

Embwa ya police enkonzi yolusu mu kibuga oldham mu gwanga lya bungereza evudde ku gwajitutte nerya akamese kaawaka akalundibwa, bwebabadde baaza amaka agamu. Police ebadde enoonya njaga mu nyumba eno, wabula ebwa olulabye akamese kano akeeru wabula nga bananyini maka gano bakalunda, kwekusalawo okuva ku […]

Basenze paakingi

Ali Mivule

May 7th, 2013

No comments

  Omusajja asimbye emotoka ye mu paaking n’ayingira ekizimbe kimuweddeko bw’asanze nga paaking yonna esendeddwa   Kkampuni ya China enkozi y’amakubo ebadde elimu ku kugaziya kkubo kyokka ng’elinze nnanyini mmotoka okudda nga talabikako.   Mu kukoowa okulinda, kkampuni eno etandise okusenda buli kilamu n’erekamu akataka […]

Bamukuludde bukuluzi

Ali Mivule

May 6th, 2013

No comments

Omusajja afunye obutakkaanya ne munne nebamalirira mu katemba.   Omusajja ono Elton Kim asoose kukaaka nemunne era wakati mu kukoow amunne asazeewo okusimbula emmotoka .   Kim tasaaga naye asazeewo okubuukira emmotoka neyelippa ku bonet kyokka nga tekilobedde munne kumukulula.   Ono ate eyali yewera […]

Emmundu ezadde leenya

Ali Mivule

May 2nd, 2013

No comments

Omwana owemyaaka 5 akubye mwanyina owemyaka 2 amasasi agamutiddewo. Oyinza okwebuuza emundu eno yajijeewa, kyabadde kirabo gyamazaalibwa  okuva eri abazadde. Taata womwana yabadde amanyi aguze bino bibundu ebyokuzanyisa wabula nga mundu yaddala. Olwazze mu kisenge pmuto natandika okuzanya nemutowe nga bweyegezamu nga amukuba amasasi. Ebyavudemu […]

Ani asinga ekirevu ekiwanvu

Ali Mivule

May 1st, 2013

No comments

Gyo emizanyo munsi mingi nyo era tegigwayo. Mu Germany abaayo bategese empaka zabasajja abasinga okubeera n’ebirevu ebirungi nebiwanvu.   Abasajja abalina ebirevu ebiwanvu nemisono egyenjawulo beesowoddeyo okwewangulira ekirabo kino. Ba mandeevu ababuli kala baakede bagende beepime ani asinga.   Wabula awangudde empaka zino Bert Reynold’s  […]