Bulijjo bagamba nti ssi kirungi kweyingiza mu bitakwatako,
Kakati mu kibuga Florida, omukyala eyakubidde poliisi amasimu g’okumukumu ng’awaaba abantu ababadde batamiridde mu baala nebafuuka ebyeneena ate yye gwebasibye
Omukyala ono ow’emyaka 58 avunaaniddwa gwakumalira poliisi budde
Poliisi egambye nti ebbaala ebeera mu banywi era bamala nebatamiira ng’okubayita baduukirire kuba kumala budde
Embaga kafuuka kaseera kakukola kyanjawulo era kino tekikoma mu Uganda wokka
Mu ggwanga lya Bungereza, abagole bakoze keeki mu bifananyi by’emitwe gyaabwe nga gitemeddwaako gibunye omusaayi okulaga nti kufa kwekuli bawukanya
Omugole omukyaala mufumbi wa keeki era nga yamaze essaawa 40 ng’ajjayo ekifananyi ky’emitwe egibunye omusaayi
Omukyala ono yagambye nti yasazeewo okulonda ekifananyi kya keeki kino kubanga akimanyi…
Akapiira ga galimpitawo akakasukiddwa okuyita mu ddirisa kagudde ku ndabirwaamu y’emmotoka nekagyaasa
Abagalana ababadde bagenze okwemalako ejjakirizi mu loogi eri waggulu ku kizimbe kya myaliro 20 beebakasuse akapiira kano oluvanyuma lw’okukakozesa.
Bino bibadde mu ggwanga lya China.
Nanyini mmotoka ono ayitiddewo poliisi nayo esitukiddemu era okusanga nga n’akapiira kano kakyaali ku ndabirwaamu.
Omusajja ono atanziddwa okuddabiriza endabirwaamu eno.
Abantu bangi badduka ku mirimu lwa misaala mibi
Ssi bweguli eri omusajja ono omukugu mu byuuma bikali magezi eyasuddewo omulimu olw’ensimbi enyingi.
Sandeep Jia, yaweereddwa pawunda 45o ekintu ekyamwewunyisizza n’asalawo okuva ku mulimu
Omusajja ono enzaalwa ye Buyindi agamba nti ensimbi zino zimuleese ebirowoozo n’okumumaleko emirembe ky’abadde tasobola kugumikiriza
Ono agambye nti era abadde tasobola kutwala nsimbi mpitirivu bweziti…
Abantu bangi bambala nebatonnya ku lunaku lwebasaba abagalwa baabwe okukkiriza okubafumbirwa
Ssi bweguli eri omusajja Mike King yye asazeewo okwefuula masikiini ataliiko babe n’agenda mu maka agayamba abantu ng’eno mukyala we gy’akola
Ono atuuse mu maka gano ng’atintima , abantu olumulabye nebanguwa okumuyamba nga muno mwemubadde ne muganzi we era wano n’akka ku maviivi n’amusaba akkirize amufumbirwe
Kyabadde kijjobi ng’abasajjja abakuza ebirevu ne biwola bakungaamye okukuza olunaku lw’abantu abalina enviiri mu maaso
Omukolo guno gubaawo buli mwaka nga gukozesebwa okusiima abo abasinga okulabirira ebirevu byaabwe nokubissaamu stitayiro
Omwaka guno abasajja 300 beebetabye ku mukolo guno ogwatandika okubaawo mu mwaka gwa 1999 mu ggwanga lya Bugirimaani.
Omuwala enzaalwa ye Russia embereera atunda mbuzi ye
Shatuniha ow’emyaka 18 agamba nti kyeky’obugagga kyokka ky’ayinza okutunda n’ajjamu ensimbi zeyetaaga mu kadde kano.
Ono agambye nti bw’aba kyamaguzi kipya ttuku ekitakozesebwanga era ng’abakyetaaga bandibadde bamuwa ensimbi zeyetaga.
Embuzi eno egitunda Euro lukumi mu lusnavu mu ataano nga mu za wano, bwebukadde 61 n’ezigwaamu ziizo
Akulira tiimu ya Arsenal, Arsene Wenger agamba nti musanyufu nti basobodde okukakasa ensi nti bakyalimu ssupu.
Kino kiddiridde Arsenal okukuba Liverpool goolo 2 nga yyo eyanjala ngalo
Wenger agambye nti bagenze okuzannya nga bamaliridde oluvanyuma lw’okuwangulwa emirundi ebiri nga bali waka.
Wenger agamba nti ate kyamusnayudde nyo nti bawangudde ne goolo entangaavu nga tewalikubuusabuusa tegwabadde mukisa wabula bumanyirivu.
Essimu eno efuuwa akawoowo ka kaawa era nga abamwagala ku luno ssi bakwekwasa
Okufuna akawoowo kano osobola okussaako akadde akapima obudde olwo buli kade wekakuba ng'akawoowo kafuluma
Essimu eno esobola n'okutambulira ku mukutu gwa Facebook nga buli lw'ofuna obubaka, ng'akawoowo kafumluma
Abanywi ba bbiya bangi bwebamufuna banoonya kaggulawo eccupa ate abangu bakozesa mannyo.
Naye obadde okimanyi nti engeri nyingi nnyo z’oyinza okuggulamu bbbiya ono
Mu ggwanga lya China, abagoba b’enyonyi bategekeddwa okukozesa ennyonyi zaabwe okuggula amacupa g’omwenge
Abagoba bano baweebwa eddaakiika munaana okukozesa opena essibwa ku nyonyi zaabwe wansi okuggula eccupa za bbiya
Akazannyo kano kaleeteddwa kupima bukugu abagoba bwebalina…