Mu nsi eno buli muntu ayiiya w'ajja ssente okweyimirizaawo
Mu kibuga kalifoniya omusajja asazeewo ebbaala ye kugiteekamu ntebe eziringa kabuyonjo
Buli kimu okuviira ddala ku ntebe, esowani, ebijiiko, nebirala byonna ebyatereddwa mu baala eno byakoleddwa mu kifananyi kya kabuyonjo.
Kati kuba ekifananyi nga omwenge oguwutiibwa mu giraasi efanana nga kabuyonjo.
Ba kasitooma beeyunira ebbaala enoabasinga bajja kulaba ku kyebatalabangako…
Abakyala bangi beesunga embaga zaabwe olw’okwagala okwambala batonnye
Mu birala byebalowozaako ennyo zee nviiri era nga zino buli omu afuba okulaba nti y’asinga ennungi.
Kati nno ono yye yewunyisa kubanga ku mbaga ye yasazeewo asale akawalaata okufanaana bba.
Omukyala ono ow’emyaka 31 ategeezezza nti yakoma okusala enviiri nga wa myaka 16 era ng’akikoze ng’abanonero akalaga nti atandise bulamu…
Ebinyiiza mu nsi tebiggwaayo.
Omukozi mu uspermaket yekyaaye ebintu by’abadde yakamala okupanga byonna bwebiyiise
Ekisinze okumujja mu mbeera be bakyala babiri abazze nga bakebera ebintu bino nebabitataganya era gyebigweredde nga biyiise
Ekisinga omunyiiza nti ate olumaze okukola kino nebatambula nga tebalina kyebaguze
Abayizi ba yunivasite emanyiddwa nga Kaposvár basazeewo okwekalakaasa nga bali buswa nga bawakanya amateeka amapya agaleeta enyambala enkakali.
Abayizi bano babadde bagaaniddwa okwambala enkunamyo, n'okwemyuula nga bagenda mu bibiina
Yunivasite eno esangibwa mu ggwanga lya Hungary
Abayizi bano basoose kwekubisa nga bali mu ngoye n’oluvanyuma nebeyambula nga bayingira mu bibiina okusoma
Omwana ow’emyaka esatu gyokka atavuga ndogoyi bitooke byebigwa afuuse ekyerolerwa
Omwana ono amanyiddwa nga Harry Edwards agenda kuvuga endogoyi eno ku lw’okusatu ku bikujjukukko by’okuvuga endogoyi mu ggwanga lya Bungereza
Omwana ono ekyewunyisa nti muto nnyo tannaba na kutandika kusoma kyokka nga buli omu amulinze kulaba ng’avuga endogoyi eno kubanga bangi bawulira muwulire
Abantu bakozesa ebintu bya njawulo okwekuuma nga balamu
Omukyala ow’emyaka 63 akimazeeko abantu bw’ategeezeza nga yye bw’akozesa omusulo okwekuuma nga mulamu.
Omukyala ono Suylivia Chandler agamba nti buli ku makya omusulo gwe taguyiwa agunyw abunywi era nga kino akikoledde emyaka 20 amabega
Omukyala ono agamba nti amaze emyaka egisoba mu kkumi nga talwala olw’omusulo guno ogumukuuma nga mulamu
Agambye…
Abantu bangi bagamba nti emizimu gitambulira mu kkapa nti era ne kkapa ziraba emizimu.
Kino nno kyandiba ekituufu ng’omukyalamu ggwnaga lya Bungereza okwerinda kkapa ezirugavu gy’alabyeemue mizimu
Omukyala ono Caroline agamba nti kkapa eno yagiteze zi kamera era n’agikwata ngetambulira amabega w’entimbe z’omu ffumbiro lye
Omukyala ono agamba nti kkapa eno elina amaasi ga kiragala era ngomuntu bw’agisemberera…
Abakola ebyewunyisa tebaggwa mu nsi
Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja asangiddwa ng’avuga emmotoka naye nga bonnet ye tagigadde.
Ono abadde avuga emmotoka kika kya benz batule ye abadde agitadde ku charger
Abapoliisi basoose kumutunuulira nga tebakkiriza kyebalabye kyokka nga bagenze okumusanga ng’ali munda semaka atereedde anyoola siteriingi
Ekisinze okwewunyisa buli omu kwekulaba omusajja no nga naye yewuunya abantu era…
Ssabassajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi asiimye okuggalawo empaka za’Masaza kulwomukaaga lwa week eno e’ Nakivubo.
Sentebe wakakiiko akategesi Godfrey Mablire Ssalongo ategezezza nga emilyango bwegigenda okugulwawo ku ssaawa nnya ezokumakya.
Ssingo ne Mawokota bebali ku final zempaka zino.
Abasawo mu ggwanga lya China batunudde nebasamaalira oluvanyuma ow’okukizuula ntu omwana omulenzi owemyaka 2 abadde lubuto lwa mwana.
Omwana ono bamulongoosezza okumujjamu ekintu ekyefananyirizaako omwana yenyini
Ekintu kino nno kibadde kinywedde omwana ono ng’alinga eyalwaala entumbi nga yenna amyuukiride akabuto.
Abasawo bagamba nti omwana ono ng’akyaali mu lubuto lwanyini yali alina okuzaalibwa ne mulongo munne wabula n’akulira muyye…