Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Alangidde mukama we

Buli muntu aliko engeri gy’ava ku mulimu gwe ng’agukooye. Omuwala ow’emyaka 25 Marina Shifrin, abadde akooye mukama we okumutuntuza nga ky’akoze kwekuyiiya akayimba ng’ono akunganyizza bakozi banne ne mukama we ng’abasuubiza okubaleeterayo akapya. Atandise kuyimba akayimba kano wakati mu kuttottola nga bw’abadde akooye mukama we okumutuntuza era abatandise nga bamukubira mu ngalo bonna bibaweddeko nabasigala nga basamaaliridde.

Read More

Kkappa zeezimu ku nsolo abantu zebanyumira okulunda naye ekizibatamya kwekusaasanya mu nyumba obubi bwazo buwunya okufa. Mu bungereza omusajja alabye bino tabisobola n'atendeka ka kkapa ke okusitama ku tooyi y'abantu era kati mwekamalira ekyetaago kyako. Luke Evans, 29,  agamba yali akooye okuyolanga obubi bwa kappa eno  era kati esitama bulungi nyo nga omuntu nesulayo obubi bwaayo.

Read More

Ensonga eziyinza okukyaaya mu bungereza

Abantu bakyaawa abagaalwa baabwe olw’ensonga ezitali zimu . Gwe gy’okyayira bba wo oba mukyala wo olw’ebwenzi, e Bungereza kizuuliddwa nti omuntu okusanga munne nga tazizzaako kisanikira kya kabuyonjo kimala okumukyaawa Yye gwe obadde okimanyi nti mu Bungereza, obutayoleza muganzi wo kagoye k’akolerako dduyiro kiyinz aokukukyayisa. Okussa ennyo, n’obutasala njala zeezimu ku nsonga lwaki abantu bakyaawa abagaalwa baabwe. Abakyala  n’abasajja …

Read More

Ezzike kkanga baana

Mu ggwanga lya Amerika mu kibuga Dallas azzike eribadde liyigganya amazike amalala naddala amakyala lyakusengulwa litwalibwe mu kifo awakumibwa amakize amalala lyongera okubudabudibwa. Ezzike lino eriyitibwa Patrick libadde lyakamala mu kuumiro ly'ebisolo emyaaka 18 wabula nga teryagala kumanya naddala eri amazike amasajja. Ezike lino lirangibwa kukulusanya ganaalyo empisa abatwala ekuumiro lio zebatakyayinza kugumikiriza. Lino lyerimu ku mazike agasinga…

Read More

Ababbi babayiiya

Ababbi buli lwebeyongera okuyiiya nga n’abantu bayiiya engeri y’okukuumamu ebyaabwe Mu ggwanga lya Bungereza, omusajja akozesezza enkola empa ey’okuwandiisa essimu n’eggulawo ng’ekulabye oba ng’ewunyirizza ekitundu kyo Ono yye yawandisaayo nywato ya bbeere lye. Omusajja ono alese buli omu asamaliridde bw’akutte enywanto ye n’agissa ku ssimu  neyeggula. Ono agambye nti essimu ye teri mulala ayinza kugiggula okujjako ng’asizzaako enywato ye

Read More

Embaga ya bannamaggye

Bw’oba obadde olowooza nti abajaasi tebalina budde bwa laavu osaanye okuwulira gano Abakulembeze mu maggye bategese embaga y’ekirindi eri abajaasi ng’emigogo gy’abajaasi 70 gyegigenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu. Aduumira eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala agamba nti bategese embaga eno okuwewula abajaasi ku byetaago by’okutegeka embaga

Read More

Ono atamiira mpewo

Abantu bangi batamiira olw’ensonga nti beesiwa amagengere. Kubamu akafananyi ssinga ozuukuka otamidde naye nga tonnakomba ku mwenge. Omusajja ow’emyaka 61 awereddwa ekitanda ng’atamidde naye nga tannakomba ku kenge konna Abasawo bagamba nti omusajja ono alina obulwadde bw’okutamiira nga talina ky’anywedde ng’olubuto lwe lufulumya amazzi agalinga omwenge Mukyala we y’amututte mu ddwaliro oluvanyuma lw’okukeeranga nga bba atamidde era ng’oluusi alemererwa…

Read More

Abadde abuusa omwana gamumyuuse

Abakyala bangi babuusa abaana, nebabawuuba n’okuzannya obuzannyo obutali bumu okusanyusa abaana baabwe Binyuma ssinga bitambula bulungi. Omukyala abadde awuuba omwana mu butanwa amukasuse mu Nyanja negamumyuuka Elizabeth abadde awuuba omwana we ow’emyezi omukaaga nga bali ne bba ku lubalama lw’enyanja Omukyala ono okuva e Californi awogganidde waggulu n’okusiita ng’alaba mutabani we egenda kyokka nga bba n’abantu abalala ababadde ku…

Read More