Ebyentambula bisanyaladde abagaalana babiri bwebatandise okunyumya akaboozi wakati mu luguudo
Abagoba ba motoka mu kibuga Shanghai ekya China babivuddeko eby’okuvuga nebadda mu kwelolera ku bayonta bano abatalinza kutuuka waka.
Abagalana bano ekyewunyisa nti babadde mu motoka ya kupangisa era nga ne dereeva waabwe abadde ali ku ka filimuyenyini.
Abangu bbo bakutte ne vidiyo ku masimu ezatandise okubuna ensi…
Mu ggwanga lya Srilanka gavumenti etaddewo okunonyereza ku mbwa za poliisi 18 ezagattiddwa mu bufumbo.
Embwa zino zagattiddwa ku mbaga makunule eyasombodde abantu okwerolokera
Wabula minister wa Srilanka akola ku by’obuwangwa agamba nti embaga eno teriiyo era yavvodde ennonno ku bufumbo.
Poliisi yeetonze dda okutegeka omukolo guno kyokka ng’egamba nti yakikoze okusikiriza embwa zino okuzaala.
Omusajja omubuusi w’okumwezi akoze akatiisa eri muganzi we
Omusajja ono David Osario abuse n’awandika ku mwezi ng’asaba muganzi we akkirize okumufumbirwa
Bwebityo omwezi gutuuse negweyoleka n’amusaba atunule waggulu.
Omuwala bimusobedde okulaba ng’asomako ebigambo ebimusaba obufumbo era mu ssanyu ery'ekitalo n'akiriza okumwagala
Omusambi w’omupiira enzaalwa ye Brazil Kaka ayabulidde tiimu ya Real Madrid n’addayo mu tiimu ya AC Milan
Madri yagula kaka obukadde bwa pawunda 56 kyokka nga kigambibwa okuba ng’addiddeyo ku bwereere nga tiimu zigula n’okutunda abazannyi
Kaka nga yeeyawangula ekikopo ky’omuzannyi ow’ensi yonna ey’omwaka 2007 endagano gy’asizzaako emikono ne AC Milan ya myaka 2
Omusajja abadde akukusa ebyenyanja mu mpale akwatiddwa nga yenna atobye.
Bino bibadde mu new Zealand
Omusajja ono enzaalwa ye Vietnam abadde adda mu ggwanga to Australia .
Omusajja ono abadde n’obwenyannmja musanvu mu mpale kyokka nga’soose kubusiba mu buveera omubadde amazzi
Obuzibu bwonna buvudde ku mazzi agatandise okutonnya era empale ye yonna n’etoba
Omusajja ono wakutanzibwa pawunda emitwaalo 5
Abantu bangi bagaala nnyo ebisolo byaabwe era nga basobola okukola buli kimu okubisanyusa
Mu ggwanga lya Thailand, omusajja ayagala ennyo kkapa ye asazeewo kugikola masaagi
Kkapa en0 ekwatiddwa ku lutambi nga yonna olaba nti enyumirwa okufa ko obufi .
Nyini kkapa enoabadde ajinyiga n’okugiweweeta ku bibegabeega
Omusajja alidde akagere k’omuntu mu baala atanziddwa doola ebikumi bitaano
Akagere kano kabadde kasuuuliddwa mu mwenge nga bw’eri enkola ku ggwnaga lya Canada mu kibuga Dawson.
Mu kibuga kino abaayo , wabaawo empaka ng’omuntu anyway omwenge guno okutuuka lweguggwaamu akagere kano nekakoona ku mimwa gye kyokka ng’ono yye olumutuuse ku mimwa n’akalya
Abategeka empaka zino bbo nakati bakyeralikirira…
Mu ggwnaga lya China omusajja abadde alunda ebiyenje ebiri mu kakadde bimutoloseeko okuva mu famau mw’abadde abikuliza
Ebiyenje bino bibadde bikozesenwa abasawo b’ekinnasnsi era ng’omulunzi ono yasalawo okubikuza yefunire akasente
Kigambibwa okuab ng’ebiyenje bino okutoloka waliwo akumye omuliro ku biyumba byaabyo.
Omuzannyi Daniel Sserunkuuma n’omukwasi wa goolo Abbey Dhaira ssibakwetaba mu gw’omukwano wakati wa Cranes ne Bostswana ku lunaku lw’omukaaga
Omutendesi wa tiimu Micho agamba nti Serunkuuma tiimu gy’asambira mu Kenya yagaanye okumuta ate ng’alina okutya nti Dhaira ayinz aokuba nga tannawona oluvanyuma lw’okufuan obuvune
Wabula MIcho agamba nti yadde bano tebaliiwo tiimu nnetegefu okukola kyomma ekisoboka okuwangula…
Okulya obulungi n’empisa byebisinga obukulu mu byemizannyo
Buno bwebubaka okuva eri president museveni eri abazannyi mu tiimu y’eggwanga eya Uganda cranes
Ono obubaka abubawadde abasiibula mu maka ge Entebbe
Tiimu eno esitula ku lunaku lw’okuna owkoleekera Bostwana okuzannyamu ogw’omukwano aebadde esisisnkanyeemu omukulembeze w’eggwanga okubazzaamu amaanyi
President era bano abawadde obukadde 384 okugula tiketi ate obukadde obulala 559 nga za…