Emboozi
Yeerabidde Mukyala we
Omusajja gwebakubye eddagala nga bamulongoosa akimazeeko mukyala we bw’azze engulu nga takyamujjukira. Omusajja ono atandise na kwegomba mukyala amubadde mu maaso era n’atandikirawo okumusuula obugambo ng’amutenda nga bw’ali omubalagavu. Omusajja ono yebuuzizza oba abasawo beebabadde bamuwadde omukyala ono oluvanyuma lw’okuyita ku kufa. Omusajja bw’ategeezeddwa nti […]
Omukyala ono tasaaga
Mu bakyala ate mulimu abakazi. Mu ggwanga lya Georgia ,omukazi ow’emyaka 40 akuumye omulambo gwa mutabani we okumala emyaka 18 nga gukyaliwo. Oluvanyuma lwa Joni Bakaradze okufa ku myaka 22, maama we yasalawo akuume omubiri gwe kubanga mukyala we yali lubuto kale ng’ayagala muzzukulu we […]
Asinga olulimi oluwanvu
Omusajja eyakasinga olulimi omuwanvu ayogedde okwewunyisa abantu Olulimi lwe luweza inch ssatu n’obutundutundu munaana Stephen Taylor kizuuliddwa nti olulimi lwe lweyongedde okuwanvuwa ate nga lukyakula Ono nno yadde abamu bamutya , eri abalala kyakwelolera era nga yoomu ku bantu abakasinga okunywegerwa emirundi egisinga obungi mu […]
FUFA evuddemu omwasi- Kati tutunuulidde CECAFA
Omwogezi wa Fufa Rogers Mulindwa asabye banayuganda n’abawagizi b’omupiira obutaggwaamu essuubi olw’ebyo byonna ebyaliwo ku lw’omukaaga oluwedde ,oluvanyuma lwa Cranes okuwanduka mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna. Mulindwa ategezezza ng’omupiira gwa Uganda bwegukyaliwo era kati batunulidde empaka za Cecafa ezigenda okubeera mu kibuga Nairobi omwezi gwa […]
Akubye embuzi empeta
Omusajja enzaalwa ye Brazil asazeewo nti bagattibwe mu bufumbo obutukuvu n’embuzi ye. Omusajja ono ow’emyaka 74 asazeewo okumala obulamu bwe bwonna obusigadde n’embuzi ye gy’aludde nayo naye nga temwabuulirangako. Embaga egenda kubeerawo nga 13 omwezi ogujja Ekyewunyisa nti embuzi eno olugoye lwaayo lwebasoose okugigulira yalulidde […]
Omukwano gubatisse
Ebyentambula bisanyaladde abagaalana babiri bwebatandise okunyumya akaboozi wakati mu luguudo Abagoba ba motoka mu kibuga Shanghai ekya China babivuddeko eby’okuvuga nebadda mu kwelolera ku bayonta bano abatalinza kutuuka waka. Abagalana bano ekyewunyisa nti babadde mu motoka ya kupangisa era nga ne dereeva waabwe abadde ali […]
Embaga y’embwa
Mu ggwanga lya Srilanka gavumenti etaddewo okunonyereza ku mbwa za poliisi 18 ezagattiddwa mu bufumbo. Embwa zino zagattiddwa ku mbaga makunule eyasombodde abantu okwerolokera Wabula minister wa Srilanka akola ku by’obuwangwa agamba nti embaga eno teriiyo era yavvodde ennonno ku bufumbo. Poliisi yeetonze dda […]
Ono amanyi laavu
Omusajja omubuusi w’okumwezi akoze akatiisa eri muganzi we Omusajja ono David Osario abuse n’awandika ku mwezi ng’asaba muganzi we akkirize okumufumbirwa Bwebityo omwezi gutuuse negweyoleka n’amusaba atunule waggulu. Omuwala bimusobedde okulaba ng’asomako ebigambo ebimusaba obufumbo era mu ssanyu ery’ekitalo n’akiriza okumwagala
Kaka azzeeyo mu AC Milan
Omusambi w’omupiira enzaalwa ye Brazil Kaka ayabulidde tiimu ya Real Madrid n’addayo mu tiimu ya AC Milan Madri yagula kaka obukadde bwa pawunda 56 kyokka nga kigambibwa okuba ng’addiddeyo ku bwereere nga tiimu zigula n’okutunda abazannyi Kaka nga yeeyawangula ekikopo ky’omuzannyi ow’ensi yonna ey’omwaka 2007 […]
Akukusa ebyenyanja mu mpale
Omusajja abadde akukusa ebyenyanja mu mpale akwatiddwa nga yenna atobye. Bino bibadde mu new Zealand Omusajja ono enzaalwa ye Vietnam abadde adda mu ggwanga to Australia . Omusajja ono abadde n’obwenyannmja musanvu mu mpale kyokka nga’soose kubusiba mu buveera omubadde amazzi Obuzibu bwonna buvudde […]