Emizannyo
Bba wa Inzikuru afudde
Bba w’omuddusi Dorcus Inzikuru nga ye Bosco Acidri afudde Acidri afudde ebirwadde ebitali bimu omuli ekibumba, pressure ne Hepatitis B Ono yafiiridde mu ddwaliro ekkulu erya Arua Muganda we Ronald Candia agamba nti ono yaweebwa ekitanda ku lunaku lw’okuna ng’alumwa olubuto era tasobodde kuwona.
Ono omubbi mugezi
Abazigu bakola kyonna ekisoboka okulaba nti tebakwatibwa naye ono naye yaleese. Omusajja ono Luis Santana omumerica alabye abasirikale bagenda okumutuukako kwekubakasukira enkusu ebadde epapaala Enkusu eno naye erabika ebadde yatendekebwa kubanga etanadikiddewo okubojja omupoliisi era mu kavuyo ako, omusajja ono yemuludde n’adduka. Ono wabula poliisi […]
Enkoko zakusala enguudo awatali kutya
Waliwo akagero akagereesa mu lungereza nga lubuuza nti enkoko yasazeeko etya oluguudo. Ekibuuzo kino ssikyakuddamu kubuuzibwa mu ggwanga lya America anti waliwo obujaketi obuleeteddwa nga buno bwambazibwa enkoko. Obujaketi buno buli mu langi ezaaka era nga bwefananyirizaako bw’olaba ng’abapoliisi bambadde okulambika emmotoka ezitambula Akajaketi kano […]
Omwenge gwa Kkapa guzze
Abantu bangi badda ewaka nga bakooye n’akajjamu negabula era n’ekikoowukoowu bagwa eri ng’ekiyinza okubakkakkanya kunywaamu. Gujabagira ssinga omuntu abeera muwuulu nga ky’alina mu nju by’ebisolo omuli kkapa oba embwa naye nga tasobola kunywa nabyo kugabana ku bukoowu Kino ssikyakubaawo kati ng’abasogozi b’omwenge bakoze ogunyweebwa kkapa […]
Ono akozesa balongo
Abantu bayiiya ngeri zakufunamu baguzi Ow’ekirabo ky’emmere mu Russia asazeewo kukozesa balongo bokka okuva olwaleero okusobola okusika ba kasitooma Bano abambaza ebifanagana olwo nebagabula abantu Ono agambye nti yalabye firimu ekwata ku balongo ng’eno yazanyibwa mu gyenkaaga naye bw’atyo kwekutandika okukozesa abalongo Ono agamba nti […]
Ebbaala efuuse kabuyonjo
Mu nsi eno buli muntu ayiiya w’ajja ssente okweyimirizaawo Mu kibuga kalifoniya omusajja asazeewo ebbaala ye kugiteekamu ntebe eziringa kabuyonjo Buli kimu okuviira ddala ku ntebe, esowani, ebijiiko, nebirala byonna ebyatereddwa mu baala eno byakoleddwa mu kifananyi kya kabuyonjo. Kati kuba ekifananyi nga omwenge oguwutiibwa […]
Omugole asazeeko enviiri
Abakyala bangi beesunga embaga zaabwe olw’okwagala okwambala batonnye Mu birala byebalowozaako ennyo zee nviiri era nga zino buli omu afuba okulaba nti y’asinga ennungi. Kati nno ono yye yewunyisa kubanga ku mbaga ye yasazeewo asale akawalaata okufanaana bba. Omukyala ono ow’emyaka 31 ategeezezza nti yakoma […]
Ono yeekyaye
Ebinyiiza mu nsi tebiggwaayo. Omukozi mu uspermaket yekyaaye ebintu by’abadde yakamala okupanga byonna bwebiyiise Ekisinze okumujja mu mbeera be bakyala babiri abazze nga bakebera ebintu bino nebabitataganya era gyebigweredde nga biyiise Ekisinga omunyiiza nti ate olumaze okukola kino nebatambula nga tebalina kyebaguze
Bano basazeewo kwekalakaasa nga beeyambula
Abayizi ba yunivasite emanyiddwa nga Kaposvár basazeewo okwekalakaasa nga bali buswa nga bawakanya amateeka amapya agaleeta enyambala enkakali. Abayizi bano babadde bagaaniddwa okwambala enkunamyo, n’okwemyuula nga bagenda mu bibiina Yunivasite eno esangibwa mu ggwanga lya Hungary Abayizi bano basoose kwekubisa nga bali mu ngoye n’oluvanyuma […]
Ono endogoyi agikedde
Omwana ow’emyaka esatu gyokka atavuga ndogoyi bitooke byebigwa afuuse ekyerolerwa Omwana ono amanyiddwa nga Harry Edwards agenda kuvuga endogoyi eno ku lw’okusatu ku bikujjukukko by’okuvuga endogoyi mu ggwanga lya Bungereza Omwana ono ekyewunyisa nti muto nnyo tannaba na kutandika kusoma kyokka nga buli omu amulinze […]