Omusajja eyakwata embuzi kimuweddeko mu kooti embuzi eno bw'emulumirizza nga bweyagikabasanya
Embuzi eno ereeteddwa ng'obujulizi era ng'eyimiriddewo ng'omusango gugenda mu maaso.
Omusajja ono ategerekeseeko erya Gona obwedda yebwaarabwaala ng'atunuulira embuzi era nebamusingisa omusango guno bw'atyo n'akaligibwa emyaka kkumi mu kkomera.
Ono omusnago yaguddiza mu kibuga Mombasa
Omusajja anywedde n'agangayira akubidde poliisi essimu lwa mukazi kumufulutiira mu matu
Ono yagenze mu bbaala okunywaamu, gyeyasanze ekijujuulu era n'alonda ekkubo ng'enjogera y'ennaku zino bweri.
Bagenze bombi ewaka kyokka ekiro yabuliddwa ekiro olw'omuwala okufuluuta ng'omuwendule era asazeewo okukubira poliisi essimu.
Ono asoose kwegaana kumanya muwala ono kyokka nga waliwo abamulumirizza nti omuwala yabadde amujje mu bbaala
Poliisi emaze n'egenda…
Omukyala aguze ebijanjalo ebibisi kimuweddeko bw’asazeemu omutwe gw’omusota ogufudde
Omukyala ono bweyaguze ebijanjaalo yabituusiriza mu firiigi kyokka nga atuuse akaseera k’okufumba kwekubiyiwa mu kibakuli
Ono asoose kulowooza nti kijanjaalo kyekyakula kyokka ng’okukyetegereza agenze okukakasa nti mutwe gwa musota kubanga gubaddeko enswiiriri n’amaaso kko n’omumwa.
Omukyala ono avuze butereevu okuzzaayo ebijanjalo bino kyokka nga bakabitunda betonze nebasuubiz aokunonyereza
Omuvubuka abadde yabula okuva ewaka okumala ebbanga kimuweddeko bw’asanze bakadde be nga bali ku malaalo bamusabira
Bakadde be baali bamanyi nti yafa oluvanyuma lw’okuweebwa omulambo gw’omuvubuka gwebasanga ku kkubo ng’atandise okuvunda ate nga mu biseera ebyo owaabwe yali yamubula era baziikamu oyo
Okuva olwo babadde baleetaganga ebimuli nebabissa ku malaalo ge era nga nakati kyebabadde bakola
Omuvubuka ono…
Abakola ebyamagero tebaggwa mu nsi
Omusajja enzaalwa ye China okutambula kumusingira okudduka
Ono kati awezezza emyaaka etaano ng’atambula
Ono nno yali mukungu mu gavumenti kyokka n’alekulir aera okuva olwo yatandika okutambula ng’ava kyaalo ku kyaalo ku bigere era kati myaka 10 ng’akola.
Ono atambula n’ensawo entono gy’assa ku mugongo, camera ne bendera y’eggwanga lye
Buli gy’ayita abantu bamwegattako nabo nebatambula…
Kubamu akafananyi nga muwezezza emyaka etaano ne muganzi wo nga mwagalana.
Oyiiya eky’okukola ekyenjawulo okugezesa mukyala wo era ekikujjira kyakumulimba nti oyagala akusonyiwe kubanga oliko omuwala oba omusajja gwewayagala .
Kino okikola kugezesa mukyala wo oba balo kyokka nga naye akugamba nti naye ayagala omusonyiwe kubanga naye aliko omusajja oba omukazi gw’aludde nga beeyagala era ng’akusaba omusonyiwe
Abadde…
Omukyala eyagabira lukumpe ataliiko w’asula essimu kimuweddeko, lunkumpe ono bw’agikomezzaawo.
Omukyala ono nno okugaba essimu teyakigenderera nga yakikola mu butanwa yagyerabira mu mugugu gweyagaba.
Lunkumpe ono agambye nti mu kifo ky’okubba essimu eno, kimulumirizza okulaba nti essimu eno egizzayo eri nyini yo era ng’akikoze.
Wano wewebuuliza nti bameka b'oyitako ku kkubo abayinza okukola kino
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo embizzi eyingidde mu bitabo by’ebyafaayo lwa kuzaala obwana 27 mu myezi mwenda
Embizzi eno yazaala obwana 11 mu mwezi gw’okubiri nga kati yazade obulala 16 ssabiiti ewedde
Embizzi eno amanyiddwa nga Daisy ya myaka 2
Omusajja amaze ssabiiti mukaaga nga yetegeka kusaba muganzi we okumufumbirwa kyadaaki akikubyeewo
Lee Vernon apamgisa kwaaya namba , abazinyi kko n’abakumba nga balina bandi nga bano bayise ku nguudo ezitali zimu
Bano obwedda buli gyebayita ng’abantu era batuukidde w’abadde ne muganzi we , bwaatyo afukamidde ku maviivi n’amusaba akkirize amufumbirwe.
Omuwala ono mu ssanyu appitirivu agambye nti yye.
Omusajja eyazaalwa n’engalo 12 afuuse ensonga
Ono bw’omussa ku komputa awandiika ebigambo 100 mu ddakiika emu
Vijay Singh ng’alina n’ebigere 12 ateekateeka kusenguka okuva e Buyindi okudda mu Bungereza oluvanyuma lw’okulemererwa okufuna omulimu mu ggwanga lye.
Omusajja ono agambye nti yakasaba emirimu egisoba mu 50 nga teri amuwa kubanga bagaala bawala babalagavu
Kyokka era agamba nti ne mu buyindi…