Entulege ebuze okuva mu kuumiro esezza bangi bw’efunye weyewogoma
Eno nno esoose kwezooba na poliisi obwedda egigoba kyokka nga bw’etuuse awali enkoloboze awasalira abantu n’esiba.
Poliisi oluvanyuma lw’okusagggula ensiko ebivuddeko n’edda ku kkubo ng’asaze entulege enpo eyimiridde era tezzeemu kudduka
Ababimanyi bagamba nti ebipaapi ebigifanaana oba olyaawo bigirowoozesezza nti entuuse mu zinaazo.
Omusajja eyabulwaako wallet ye emyaka 24 emabega amaze n’agifuna
Manyi kati bangi bawakana naye nga kituufu .
Omusajja ono amanyiddwa nga Shrivel yewnyizza omuntu okumukubira essimu ng’amutegeeza nga bw’alonze wallet eno.
Ekyewunyisizza nti byonna ebyaali mu wallet eno mwebili yadde nga munda abadde atandise okuvunda.
Abantu abamu bakoowa poliisi naye ono yayitawo.
Ashton Powers, a 24 okuva mu ssaza lye Arizona ageze omusirikale wa poliisi atudde mu motoka ye , n'agyayo akambe nagifumita emipiira gyonna.
Ono abadde amulanga kulawuna nyo kiro nga abalekanyiza akagombe ka police.
Abaagalana babiri ababadde bagenda va okubwa empeta emitima gibavuddemu n’eby’okwemoola nebabivaako ekizimbe bwekiyiise nga bayitawo.
Bano babadde batuuka bwebati ku lutikko webabadde bagenda okugattibwa ekizimbe nekiyiika ku muliraano buli omu n’ateekako kakokol atondeka nyuma okubadde ne Reverand yennyini abadde alina okubagatta
Ekirungi nti tebakoseddwa kyokka ng’omukolo guyimiridde akabanga naye nga bamaze nebagattibwa
Omusajja omukugu ku by’okuyonsa ayolese okufiirwa omulimu gwe oluvanyuma lw’abasajja okwemulugunya nti abadde aweweeta amabeere ga bakyala baabwe
Yang Jun okuva mu masekkati ga China agaba nti okusomesa omukyala obulungi ku ngeri gy’ayonsaamu oba gyebamukebera kokoolo aba alina kuweweta ebbbere buli n’ategeera
Ono era abadde aweeweeta abakyala amabeere ekibayamba okufuna amata
Wabula abasajja bannanyini bakazi abakolebwaako bekyaaye nebamuloopa…
Omukyala eyali yagejja yenna ng’awedde ku mpagala awulidde empaka z’obwannalulungi n’atabukira gymn okukakkana ng’aziwangudde
Omukyala ono ow’emyaka 31 asoose kwesonyiwa bisiike olwo n’ayingira abavuganya era yayingiddewo bulungi mu kagoye akawungirwaamu enduulu n’eraya
Yatandika okwekozza mu mwaka gwa 2011 nga takyamala galya era nga abadde alya bibala, bivavava n’enyama etaliimu masavu
Mukyala ono asanyudde ababadde balamula empaka zino era…
Abantu abalina amasaali bangi naye obadde okimanyi nti n’ebisolo tebinyigirwa mu ttooke
Mu ggwanga lya Ireland, Eddubu liyingidde mu baala nerisaba eky’okunywa
Eddubu lino wabula ekyewunyisizza ababaddewo teririnze muwereeza kuleeta kyakunywa neryekandagga nerifuluma
Ekirungi nti ba customer abasinga babadde mu kisenge kya bbaala ekirala era tebalabye bibaddewo oba olyaawo nabo bandyekandazze nebafuluma
Munnamawulire abadde anyonyola banne nga bwawandiika saako n'okukuba obufananyi nga anyonyola, yeekanze akubye ekifananyi ky’obusajja mu butanwa.
Ono awulidde banne kuseka nga tamanyi kigenda maaso .
Agenze okwekanga nga mu bufananyi obwedda bwakuba mulimu akafanana obusajja bwe.
Ono bukyanga bamutenda okubba abbyeemu bino.
Omusajja ono ayeeyita Billy ebbye evvu ly’omufu
Muliranwa yeeyafiirwa nyina nebamwokya ne evvu n’alitereka ng’abadde alitunulako okujjukira nyina.
Omusajja ono b’wabuuziddwa wa gy’abadde atwala omufu n’ategeeza nga bw’abadde agyiyita enjaga y’obuwunga
Okunonyereza ku musango ogwawaabwa omuyimbi Irene Namubiru kukyagenda mu maaso.
Ono yawaaba munnabyabusuubuzi era nga yeeyali manager we Kim Tumwesigye ng’amulanga kumutikka njaga mu bugenderevu
Kigambibw anti wakati w’enaku z’omwezi 1 ne 5 mu mwezi gw’okutaano mu mwka aguno, Kim ono yamusaba okumutwalira ku case ye gyeyali apakiddemu enjaga eweza kilo kumpi enkumi ssatu
Enjaga eno yagisosoneka mu…