Omwana omuwala ow’emyaka esatu eyagaana okwogera nga bulijjo kasiru ayogedde ekigambo ekisoose mu bulamu bwe.
Manyi bangi bebuuza atya naye ng’ekyewunyisa nti omwana ono ekimwogezza bya kulya
Omwana ono babadde bamuwa olububi lw’amata muyite cheese okumala akabanga era babadde awo n’avaamu ekigambo
Abasawo baali bamwekebejja nebategeeza nga bweyali alina buzibu ku bwongo kyokka nyina wakati mu ssanyu agambye…
Buno bwebutaba bugwenyufu, kirala.
Mu ggwanga ly’Amerika mu kibuga New york, abaayo bategese empaka z’omusajja asinga obusajja obutono.
Nick Gilronan yeyawangudde empaka zino olwo ebifananyi nebiruma.
Empaka zino zibadde mu bbaala emu ey'abazinyi b’ekimansulo era nga omu kwomu obwedda y'avaayo okulaga kyalinawo.
Omuwanguzi abuusewo ne doola 200.
Oyo naye kati afunye ekitiibwa nga omusajja akyasinze obusajja obutono mu Amerika.
Abantu abaeesunga ennaku nkulu bangi naye bano basusse
Mu ggwanga lya America, abeesunga Christmas batandise nga waliwo edduuka eddene elitandikiddwa
Edduuka lino litunda ebintu ebitali bimu omuli baluuni, ebimuli ,obuti bwa Christmas ne kalenda z’omwaka ogujja
Omu ku bakoze edduuka lino Rev Roger Bush agamba nti abantu bangi beewunya okulaba edduuka lino nebatamanya nti waliwo n’abatandise okugula
Abasajja mu ggwanga lya Japan bakutunuulira ebisambi by’abakyala awatali kwebbiririra.
Kampuni ekola ogw’okulanga ebintu etandise okulangira ku bisambi by’abakyala.
Kampuni eno epangisizza abakyala abanyikira amata nebabakuba obulago ku bisambi nga bano bayita mu kibuga wakati abasajja nebafa amababbanyi
Abawala bano balina kubeera nga basussa emyaka kkumi munaana kyokka nga kati okutya okuliwo kwa basajja kutomera bantu na bifunvu…
Police y'oku kisaawe ky’enyonyi mu ggwanga lya Buyindi ekutte abantu babiri ababadde bakukusa enfudu.
Mu migugu gyaabwe musangiddwamu obufudu obuto lukumi.
Police yewunyizza engeri bano gyebasobodde okupakira obufudu buno okuja mu bitereke bye babadde nabyo.
Omukyala abadde asinda omukwano ne muganzi we okumpi n’amadaala omutwe gwe gulaalidde mu byuuma
Omukyala ono wa myaka 46 okuva mu ggwanga lya Russia
Omukyala ono amaze kuggwaako jjakiriza ng’ayimuka okwambala kyokka agenze okukizuula ng’omutwe gwe teguyimuka
Abaddukirize bayitiddwa bukubirire era webamusnagidde ng’ali bute afukamidde agezaako okulwaana okuggya omutwe gyegulaalidde.
Tiimu ya Manchester united ezzeemu okukinoganya nga bw’etatunda muyizi tasubwa waayo Wayne Rooney
Aba Chelsea beebabadde beesibiridde okugula omusambi ono kyokka ng’obusente bwaabwe butono.
United yagobye dda aba Chelsea nebategeeza nga bwebatatunda
Rooney yye akyakiremeddeko nga bw’ayagala okuviira aba Manunited olw’omutendesi omupya obutamuwaana ng’atunuulira Van Piersie yekka
Akabaga ke mbwa akategekeddwa okuzimalako ekiwubuulo kalese bangi nga bafa enseko
Mu kabaga kano emwa ezisoba mu 300 zeezikunganidde ku lubalama lw’enyanja gyiyite Beach nezirya obulamu
Embwa zino zimanyi enyambala kubanga zizze zambadde enkofiira, Bandana, ne galubindi nga waliwo n’ezambadde obuwale bw’ebimuli bu kamiimo
Embwa zino zizannye buli muzannyo era zigenze okunyuka nga nsanyufu nzibu
Omusajja n’omukazi abaali bagalana kyokka nebeebulako nga bakyaali bato bazzemu okusisisnkana
Baweza kati emyaka 80 kyokka nga webakoma webatandikidde nga bagenda kwekuba mbaga
Omukyala wa myaka 89 ate omukyala alina 87 nga buli omu yabula ku munne mu ssematalo ow’okubiri
Bannamukadde kano basazeewo okufumbirigana ku mukolo makunale ogugenda okubaawo ku lw’omukaaga luno.
Mu china abasirikale ba traffic babiri nga bakyala bagobeddwa ku mulimu lwakulwana .
Ababiri bano bagwanganye mu malaka nga kw'otadde okwepacca empi.
Abaabadde mu mugoteko gw'emotoka bavudde mu by'okuvuga ne beerabira ku b'afande abaabadde beemala egayangano.
Abagoba b'emotoka babakubidde engobe bakendeze ku mugotteko nga bafuyira ndiga mulere.