Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Emboozi

Anoonya za kupika mabeere

Omuwala ayagala okupika amabeere gen aye nga talina ssente asazeewo kugenda ku luguudo asabe obuyambi Christina Andrewsokuva mu Florida agamba nti akooye obubeere obutabimba   Ono nno ku luguudo ayimirirako ng’ayambadde aka bulawuzi aka pinka akaliko nti nina wensula naye njagala mabeere   Omuwala ono agamba nti musanyufu nti abantu basobodde okumuyamba yadde nga yabadde n’okutya ng’atandika okusabiriza.  

Read More

Ekyenyanja kirya obusajja

Abasajja mu ggwanga lya Sweden balagiddwa okwongera okusabika obusajja bwaabwe nga bagenda okukka mu mazzi . Kino kiddiridde abakugu okugwa ku kyenyanja nga kino tekibuwomeddwa bitooke byebigwa   Ekyenyanja kino kirumba basajja bokka nekibalumako ebyaabwe era nga waliwo abaluguddemu edda Abasajja nabo balabye bili bityo nebafuna ebyuuma byebambala ku busajja okudduka ekyenyanja kino kyokka ng’era okutya kukyaliwo  

Read More

Leila Blick atunuulidde Muwonge

Omuvuzi w’emmotoka z’empaka Leila Blick agamba nti ekigendererwa kye kikyaali kyakuvuga kutuuka ku mutindo gwa Suzan Muwonge.   Muwonge ye mukyala yekka eyakawangula empaka za bannantameggwa ba Africa  mu mwaka gwa 2011. Lelial muwonge ne munnakenya Helen Shiri bagenda kukwatagana n’abasajja 24 mu mpaka za pear of Africa Uganda rally   Muwonge wakuvuga Subaru N11, Leila wakubeera mu Evolution five…

Read More

Omugejjo mu baana abawere

Abantu bangi bagaala nnyo okuzaala abaana abagimu naye nga ssinga kisukka, ate gayinza okufuuka amaziga Mu ggwanga lya spain ,Baby eyazaaliddwa nga wa kilo 6 buli omu kw’asizza amaaso oluvanyuma lwa nyina okumuzaala nga talongoseddwa. Omukyala omungereza ew’emyaka 40 yeeyazadde omwana ono era nga bebi ne maama tebalina mutawaana. Bangi bakyewunya naye wali webuuzizza kiki ekivaako abaana okuzaalibwa…

Read More

Asinga obukadde yetegekedde okufa

Omusajja agambibwa okuba nga yasingayo obukadde munsi yonna ku myaka 130  yewunyisizza  abe Nyamitanga mu district ye Mbarara. Muzei Paul Munyambubya   yetegekera embuzi ze 6 enene ezokusalibwa nga afudde ,era asula nazo mu muzigo gwe ogwebisenge ebibiri . Avunanyizibwa ku bantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe mu district ye Mbarara  Habomugisha era nga muliranwa wa muzeyi ono,…

Read More

Tongaana kunywa naawe

Omusajja mu ssaza Lya Ohio mu ggwanga lya Amerika akubye munne essasi lwakumugaana kuvuga nga atamidde. Java Bowling  43, akubye munne ekyaasi abadde amuggyako ebisumuluzo by’emotoka oluvanyuma lwokukongojja omumbejje namaalwa ate nga nayagala kwepampalika ku nkata avuge. Entabaza bakadde emuweddeko ali mabega wamitayimbwa nga aguddwako gwa kugezako kutta muntu.

Read More

Bano babbira ne mu Kabuyonjo

Nga techonologiya ajja akula, n’abagezi beyongera. Mu ggwanga lya America, abantu abagezigezi bayize engeri y’okunyagululamu abali mu kabuyonjo. Kino kiddiridde abazigu bano okuzuula nti buli Muntu lw’abeera mu kabuyonjo ebirowoozo bitambula nnyo neyerabira n’ebyamututteyo. Kati nno abazigu bano bayiiyizza kabuyonjo ezituulibwaako naye ng’omuntu olugibeerako, wabaawo abamulaba buli kimu ky’akola. Abakungu mu by’empuliziganya batandise okunonyereza okuzuula engeri bino gyebyakoleddwa okumanya…

Read More