Mu bungereza Omusajja kagwensonyi ayingidde lift najifuula ekyoloni.
Kamera ziraze kagwensonyi ono nga ayingira lift awalindirwa train, nakola susu omulundi ogusooka, oluvanyuma neyeyambulamu engoye zonna era naddamu.
Okumanya oli ajooga engoye zeyazze nazo yazigyemu olwo nayambala endala noluvanyuma naddamu ekikolwa kyekimu.
Police etegeezezza nti ekbikolwa nga bino tebikirizibwa era ono waakunoonyerezebwako noluvanyuma avunaanibwe.
Mu misiri amaje gakubye abatu 34 amasasi agabattiddewo lwakwekalakaasa nokugalumbagana.
Bano bebamu ku banakibiina kya Muslim Brotherhood, abawakanya ekyokumamulako Muhammad Mursi ku bukulembeze bweggwana.
Go amaje gagamba bano batyujju ababdde bagezaako okulumba Baraks kumpi nolubiri lwa president.
Abanyu banji bazze batibwa mu kwekalakaasa oluvanyuma lwa president mursi okumamuilwako amaje ku bukulembeze bweggwanga.
Mu ggwanga lya Zimbabwe abasajja ssi bakukomba ku kaboozi ssinga tebetaba mu kulonda.
Minister mu gavumenti y’akunze abakyala bonna okumma ba baabwe omukwano okutuusa nga bamaze okwewandiisa okulonda.
Priscilla Muhsonga agambye nti abasajja bangi beebulankanya ng’okulonda kutuuse olwo eby’okulonda nebabirekamu bakyala bokka.
Omukyala ono agamba nti engeri abasajja bano bwebanyimirwa akaboozi,, bangi bajja kwewandiisa ssinag abasajja babazzaamu amaa
Namukadde mu ggwanga erya mexico akoze ekyaafayo bwamazeko ekibiina kya primary nga aweza emyaaka 100.
Manuela Hernandez, yazaalibwa mu saza lye of Oaxaca June 1913, wabula nawanduka mu somero nga alina okunoonyeza abomumkage ekyiokulya.
Omu ku bazukulu be byeyamuwadde amagezu addemu okusoma kyeyakioze noluvanyuma namalako.
Akakiiko akakubiriza okulonda kwa Fufa olunaku lwenkya lwekagenda okutuula okwekenenya abo bonna abajjayo empapula okwesimbawo kubukulembeze bwa Fufa.
Omumyuuka wakakiiko kano,Vincent Sajjabbi ategezezza nga bwagenda okuwa buli yesimbyewo edakiika amakumi 30 okwenyonyolako nokuwayo empapula ezetegasa okwesimbawo.
Abesimbyewo bali basatu (3) okuli Moses Magogo,Omukiise wa parliament akikirira amasekati ga Kampala Mohammed Nsereko wamu ne Taban Amin,mutabani wa eyaliko…
Omusajja enzaalwa ye Vietnam eyatemwaako omukono emyaka egisoba mu ana emabega agufunye
Nguyen Hung yakubw aamasasi ku mukoo abajaasi ba America mu mwaka gwa 1966 era nebamusalako omukono kyokka ng’omusawo eyakikola yasalawo okuguterela okujjukirirako olutalo lwa Vietnam ne America
Omuukono gwavunda era n’asalawo okutereka amagumba kyokka emyaka 2 emabega yagajjayo n’atandika okunoonya oba nyini gwo akyaaliyo
Omusajja ono…
Omusajja abadde yeevuga okugenda mu komera okumalayo ekibionerezo kye ekyokusibw ku wiikendi akiguddeko.
Jorden Morin, 25, abadde agenda mu komera police nemukwaata lwakuvuga motoka nzibe.
Ono ku kibonerezo ayongeddwako enaku 120 lwakweyisa bubi nga akyaali musibe saako nemyeezi emirala 6 olwokukwaatibwa nekintu ekibbe.
Mu misiri obunkenke bweyongedde nga nsalesale wamaje okuyingira munsonga zabeekalakaasa agenda aggwayo
Okwekalakaasa kukyagenda maaso mu libuga cairo mu kibangirizi kya tahriri square nga abamisiri baagala president mursi alakulira nga bagamba nga mpaawo kyabayambye.
Amajje olunaku lwegulo gaawadde mursi esaawa 48 zokka nga akakanyizza embeera oba sikyo gaakuyingira munsonga zobuyinza mu ggwanga lino.
Kwo okwekalakaasa kuno kulese 16…
Abatambuze mu kibuga Tokyo ekya Japan kati bali mu gogolo
Kidiridde olufu okuyiika nga lusereera nga ssabuuni era ngomuntu aba tasobola kutambula
Mu kusooka abantu balowoozezza nti muzira kyokka kyabaweddeko okulaba nga basereera buseerezi
Omukulembeze w’eggwanga lya Misiri , Mohammed Murisi agamba nti teyebuuziddwaako maggye nga tegannatandika kumulagira kukola ku katuubagiroa kali mu ggwnaga ly’akulira
MUrsi agambye nti mu kaseera kano ekikulu kuteeesa sso kukayaana
Ab’amaggye bavuddeyo dda nebawa mursi essaawa 48 okukola ku kwemulugunya okuvuddeko owkekalakaasa mu ggwanga
Amaggye gano gagamba nti wabula kino tekitegeeza nti bagenda kuvuunika gavumenti