Emboozi

Ente emusse

Ali Mivule

July 15th, 2013

No comments

  Mu brazil, ente egwiiridde omusajja mu buliri n’emutta. Joao Maria de Souza, 45, badde mu matta nsejere ente eyatolose mu faamu nerinya enyumba eyise mu kasolya nemwekatako era n’asibula ebyensi. Musajja wattu afiiridde mu kifuba kya kabiite we.

Meeya asiiba mu kunywa Ice-Cream

Ali Mivule

July 11th, 2013

No comments

Bannabyabufuzi emirundi mingi balumbiddwa nebayitibwa n’abaana abato. Kino kituukidde bulungi ku meeya eyalondebwa ow’emyaka ena eyalondebwa okukulira ekibuga Dorset ekisangibwa mu Minnesota.   Ono ba meeya abalala gyebalambulira emyaala okulaba oba gigogoddwa , ono obudde bwe abumala mu kunuuna ice cream n’okuvuba obwenyanya   Robert […]

Omusajja alobedde ku mukyala abazigu nebakyekola

Ali Mivule

July 11th, 2013

No comments

Waliwo obuboozi obunyuma okuwulira naye nekano kewunyisa. Abazigu mu ggwanga lya Amerika babbye omusajja obutamulekera kantu mu nyumba bw’abadde asamaaliridde ku kabiite we abadde akuba eddubi mu kidiba kyaabwe eky’awaka. Gyooli tasula naye, musajja mukulu ono aweddemu nga atunulira embooko ye ebadde esuddemu obugoye obuwugirwamu […]

Omwenge banaaba munaabe

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Mu ggwanga lya Czech Republic abasajja banditandika okuwerekera bakyala baabwe nga bagenda okwewaamu   Kino kiddiridde wooteri emu okusaawo ekibaafu mwebawummulira nga kikubyeeko omwenge. Abaddukanya wooteri eno bagamba nti babadde balowooza nti abanakozesa ekibaafu kino bajja kukivaamu nga basanyufu kyokka nga abakakibeeramu banywa nebagangayira nebakiremera […]

Ayise ku lugwaanyu

Ali Mivule

July 10th, 2013

No comments

Mu ggwanga America  omukazi awonedde watono okujibwamu ebitundu bye ebyomunda bwazuukuse nga abasawo bamubaaze batandika okubijamu. Colleen Burns41- yatwaaliddwa mu ddwaliro ku lunaku lwa sande oluvanyuma lwokumira amakerenda nagamukanula.   Oluvanyuma abasawo baategeezezza nga omukyaala ono bweyabadde omufu, olwo nebajawo ebyambe namakansi nebatandika okumubaaga. Nga […]

Omusajja akojobye mu lifuti

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

Mu bungereza Omusajja kagwensonyi ayingidde lift najifuula ekyoloni. Kamera ziraze  kagwensonyi ono nga ayingira lift awalindirwa train, nakola susu omulundi ogusooka, oluvanyuma neyeyambulamu engoye zonna era naddamu. Okumanya oli ajooga engoye zeyazze nazo yazigyemu olwo nayambala endala noluvanyuma naddamu ekikolwa kyekimu. Police etegeezezza nti ekbikolwa […]

Amaggye gasse abantu

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

Mu misiri amaje gakubye abatu 34 amasasi agabattiddewo lwakwekalakaasa nokugalumbagana. Bano bebamu ku banakibiina kya  Muslim Brotherhood, abawakanya ekyokumamulako Muhammad Mursi  ku bukulembeze bweggwana. Go amaje gagamba bano batyujju ababdde bagezaako okulumba Baraks kumpi nolubiri lwa president. Abanyu banji bazze batibwa mu kwekalakaasa oluvanyuma lwa […]

Abakyala bakaaye

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Mu ggwanga lya Zimbabwe abasajja ssi bakukomba ku kaboozi ssinga tebetaba mu kulonda. Minister mu gavumenti y’akunze abakyala bonna okumma ba baabwe omukwano okutuusa nga bamaze okwewandiisa okulonda.   Priscilla Muhsonga agambye nti abasajja bangi beebulankanya ng’okulonda kutuuse olwo eby’okulonda nebabirekamu bakyala bokka.   Omukyala […]

Namukadde amaze okusoma

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Namukadde mu ggwanga erya mexico  akoze ekyaafayo bwamazeko ekibiina kya primary nga aweza emyaaka 100. Manuela Hernandez, yazaalibwa mu saza lye  of Oaxaca  June 1913, wabula nawanduka mu somero nga alina okunoonyeza abomumkage ekyiokulya. Omu ku bazukulu be byeyamuwadde amagezu addemu okusoma kyeyakioze noluvanyuma namalako. […]

FUFA esengejja nkya

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

Akakiiko akakubiriza okulonda kwa Fufa olunaku lwenkya lwekagenda okutuula okwekenenya abo bonna abajjayo empapula okwesimbawo kubukulembeze bwa Fufa.   Omumyuuka wakakiiko kano,Vincent Sajjabbi ategezezza nga bwagenda okuwa buli yesimbyewo edakiika amakumi 30 okwenyonyolako nokuwayo empapula ezetegasa okwesimbawo. Abesimbyewo bali basatu (3) okuli Moses Magogo,Omukiise wa […]