Bya Ali Mivule
Ttiimu ya Kawempe Muslim SS yesozze fayinolo zempaka za liigi y’eggwanga ezokusatu ezomuddiringanwa.
Kawempe yetakuluzzako aba Olila High Scool 2-0 .
Akulembeddemu abateebi Hasfa Nassuna yateebye goolo 2 okuwa Kawempe obuwanguzi .
Kati Kawempe yakuzanya aba UCU lady cardinals abaakubye Uganda Martyrs Lubaga 2-1 mu semi fayinolo endala.
Bya Ali Mivule
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredejovic ayungudde ttiimu kabiriiti egenda okuttunka n’eggwanga lya Cape Verde n’okuzanya emipiira gy’omukwano.
Mu bano kuliko abakwaasi ba goolo 2, abazibizi 5, abawuwuttanyi 6 n’abateebi 5.
Abaalondeddwa kuliko Ismail Watenga, Murshi Juuko, Khalid Aucho, Farouk Miya n’abalala nga ye kapiteeni Denis Onyango asuubirwa okwegatta ku ttiimu gyebujja.
Mungeri yeemu Cranes esuubirwa…
Bya Shamim Nateebwa
Ate abadde yakagula pikipiki nga asaaliza bavubuka banne mubitundu bye Mubende takyagadde bwatemeddwa ejambiya kumutwe olulimi nelufuluma.
Robert Magala mukiseera kino tasobola kwogera olwokuba olulimu lwafulumye nga n’embeera ye yelarikirizza olwokuba yavuddemu omusaayi munji sso nga n’abantu bbe babadde tebanajja.
Ono yaletedwa poliisi nga alina akapapula akamwogerako nti ye Robert Magala atemera mugyobukulu 35 era…
Olwaleero abayisiraamu lwebajjukira abajjulizi baabwe abatibwa ku bitagiro bya ssekabaka Mwanga ku muzikiti gwe Namugongo.
Omukwanaganya w’emikolo gy’abasiraamu okujjukira abajulizi Hajj Suleiman Musana agamba abasiraamu nga 74 beebatibwa nebanaabwe abakulisitu 45.
Agamba mpaawo kimanyiddwa nyo ku bajulizi bano abasiraamu wabula abasiraamu ku lunaku luno basabira emyoyo gy’abagenzi kubanga bbo balamaga Mecca na Madiina wokka.
Hajj Musana era agamba…
Bya Moses Kyeyune
Palamenti akawungeezi akayise yayisizza embalirira yabutabalika 29 bwebuwumbi 29000 okusobola okutuukiriza nsalessale wa nga May 31 nga bwekilambikiddwa mu mateeka.
Akatabalika kamu n’ekitundu kakugenda eri eby’okwerinda, ebyenjigiriza bifunye obutabalika bubiri n’ekitundu sso nga ebyenguudo neera byebisinze okufuna ensimbi bwebyaweereddwa obutabalika buna n’ekitundu.
Eby’obulimi byo byaweereddwa obuwumbi 863 ate amazzi n’obutonde bw’ensi byafunye obuwumbi 595.8 .
Amaka…
Bya Damali Mukhaye
Poliisi ye Jinja eriko omukazi ow’emyaka 33 gwekutte lwakuyiira omuserikale abadde agenze okumukwata amazzi agookya.
Omukwate ategerekese nga Fazira Nangobi omutuuze ku kyalo Budumbiri mu tawuni kanso ye Bugembe .
Atwala poliisi ye Bugembe Sam Talemwa agamba omukazi ono ayiiridde Mebra Mpabulungi owa poliisi ye Bugembe nga agenze okumukwata.
Wabula ye omukyala ono agamba essimu teyagibbye yagiwambye…
Bya Damali Mukhaye
Okusabira omwoyo gw’omugenzi munnabyanjigiriza Lawrence Mukiibi asabiddwa wali ku lutikko e Rubaga.
Mukomukulembeze w’eggwanga nga era ye minisita w'ebyenjigiriza Janet Museveni yetabye mu kusabira omugenzi.
Emmisa ekulemebeddwamu Emmanuel kaliddinaali Wamala .
Mungeri yeemu bbyo eby’okwerinda ku lutikko binywezeddwa nga era abagenyi abayite bebokka abkkirizibwayo nga teri wa bodaboda akkirizibwa kugenda ku lutikko.
Abakungubazi…
Abakulira eby’obuvubi mu minisitule y’ebyobulimi balabudde abalunzi b’ebyenyanja ku kirwadde ekitandise okusenkenya engege .
Bano okuvaawo nga ekirwadde kino gyekijje kisaasanire mu mawanga nga Equador, Colombia, Thailand ne misiri.
Akulira eby’obuvubi mu minisitule y’ebyobulimi owekiseera Dr Edward Rukuunya agamba okuva bwekiri nti misiri nayo erimu ekirwadde kino nga ate bagabana amazzi ku mugga kiyira kale basanye okwegendereza.
N’okutuusa…
Bya Gertrude Mutyaba
Abalamazi okuva e Tanzania abaafunye akabenje olunaku olweggulo basiibuddwa okuva mu ddwaliro e Masaka nebeeyongerayo e Namugongo.
Okusinziira ku mukwanaganya w’emirimu mu ddwaliro ekkulu e Masaka Ereazer Mugisha agamba nti baakoze ekisobika okuwa obujanjabi abalamazi bano olw’obwetaavu bwebaabadde nabwo obw’okugenda okujjukira eyali president wa Tanzania Julius Nyerere asuubirwa okulangirirwa mu lubu lw’abeesiimi.
Mugisha atubuulidde nti…
Bya Moses Kyeyune
Omubaka wa Bukoto East e Masaka Florence Namayanja asabye palamenti okuyingira mu nsonga z’amagye ga UPDF agatandise okugobaganya abantu ku mbalama z’enyanja mu kitundu kyakiikirira mu palamenti.
Namayanja agamba ebyalo 2 mu gombolola ye Buwunga bwaweereddwa ennaku 5 zokka okwamuka ettaka lino ky’agamba nti ssikyabwenkanya.
Namayanja agamba nti amagye gameya mateeka okutaataganya abantu abali mu…