Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abalema bekubidde enduulu

Bya Ali Mivule Abantu abalina obulemu ku mibiri gyabwe bongedde okwekubira enduulu olwokusosolebwa. Omu ku bakulira abalema bano mu disitulikiti ye Wakiso Fred Lukabwe agamba yadde nga bazze bekubira enduulu mpaawo kyakyuuse nyo. Binno yabyogeredde  mu musomo ogwategekedwa kukitebe kya district ye wakiso nga basomesa ba kansala abakikirira abaliko obulemu wamu nabakulembeze abenjawulo ku kuteeka elyayisibwa council ye…

Read More

Aba Mauritania bakulamula ogwa cranes

Bya Ali Mivule Ekibiina ekifuga omupiira ku ssemazinga wa Africa kilonze badiifiri okuva mu ggwanga lya Mauritania okulamula omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Cape verde. Lemghaifry Bouchaab y’agenda okugubeera mu mitambo nga era wakuyambibwako Aderahmane Warr ne Hamedine Diba nga abawuubi b’obutambaala. Ye Match Commissioner ava mu ggwanga lya Gambia. Uganda yakuzanya Cape verd mu z’okusunsulamu abanazanya eza…

Read More

Cranes eraze eryanyi

Bya Ali Mivule Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda Cranes yayongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo bwebaakubye ttiimu ya Kitara 3-1. Omupiira guno gwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Buhinga wali mu tawuni ya  Fortportal. Emmanuel Okwio yateebye ggoolo 2 olwo Nelson Senkatuka n’ateeba eyokusatu nga era gwagenze okuwummula nga cranes ebala 3-0. Beckam Musoki yeyateebedde aba Kitara oluvanyuma…

Read More

Buganda eyisizza embalirira yabuwumbi

  Bya Shamim Nateebwa Gavumenti ya Buganda eyisizza embalirira ya buwumbi 28 nga essira lyakutumbula byabulimi. Ensimbi ezisinga zisuubirwa kuva mu kitongole kya Buganda eky’ebyettaka ekya Buganda land board nga era wasuubirwa okuvaayo obuwumbi 15 sso nga bbwo obuwumbi 11 n’obukadde  300 zakuva mu satifikeeti. Wabula mu mbalirira eno temuli nsimbi ziva mu zabupangisa naddala gavumenti byepangisa.

Read More

Abayizi bakubalibwa mu massomero

Minisitule y’ebyenjigiriza nga eri wamu n’ekitongole ekivunanyizibwa okuwandiisa abantu okufuna endagamuntu ekya National Identification and Registration Authority basuubirwa okutandika okuwandiisa abayizi ku massomero olunaku lwaleero. Okusinziira ku minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako Rosemary Sseninde, abakulu b’amassomero babadde bateeka ku nkalala abayizi abempewo ekifiiriza gavumenti obuwumbi 20 buli mwaka. Agamba  baagala kumanya baana bameka bebalina okulabirira ku massomero mu nkola…

Read More

omwana abidde

Bya Shamim Nateebwa Abatuuze be Kabulengwa mu Wakiso baguddemu ekyekango bwe basanze omulambo gw’omwana nga gulengejjera ku kidiba ky'omugagga. Omugenzi ategerekesse nga Ismail Semakula nga awezza egyobukulu 16,abadde asoma mukibiina ekyomusanvu era nga ekiddiba mwasangidwa kyamutuuze ategerekesse nga  Brian Ssengendo nga kirundibwamu byennyanja. Poliisi ye Nansana  nga ekulembeddwamu agitwala Micheal Tayebwa yatuuse mu kitundui n'etwala omulambo e Mulago…

Read More

Okusiiba kw’ankya

Bya Ali Mivule Aba Uganda Muslim Supreme Council bakakasizza nga okusiiba omwezi omutukuvu ogwaramadhan bwekutandika olunaku lwenkya. Omwezi tegwalabise olunaku lweggulo kale nekitegeeza nti okusiiba kwankya. Nga bwekyakolebwanga nabbi Muhammad, mu kisiibo abasiraamu balekayo okulya n’okunywa okutuusa enjuba bw’egwa nebasibulukuka nga era abalamuzi teri kwegatta misana nga basiiba. Ye supreme Mufti Sheikh Sliman Ndirangwa asabye abasiraamu bonna okutuukiriza empagi…

Read More

Bobi wine bamuwawabidde

Bya Ruth Andera Omu ku balonzi era nga yesimbyewo ku kifo ky’omubaka wa Kyadondo East addukidde mu kkooti enkulu nga ayagala akakiiko k’ebyokulonda kayimirize byekaliko eby’okuzza obujja enkalala z’abalonzi. Muwadda Nkunyingi y’awawabidde akakiiko k’ebyokulonda,omuyimbi BobiWine wamu ne ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura nti bakutte bubi enteekateeka eno. Muwadda agamba nti nga  24th May 2017 yalaba agenti wa Bobiwine…

Read More

FC ne kanso bali butoola

Bya Ali Mivule Abanene  Express ne KCCA FC olwaleero bakuggwangana eggayangano mu luzanya olusooka olwa semi finals z’empaka za Uganda Cup. Express eyagala kwesasuliza ku KCCA olwokujikuba enfunda 2 mu liigi y’eggwanga nga ogwasooka babakuba 3-1 ogwaddako nebabakuba 1-0 e Wankulukuku. Omutendesi wa KCCA  Mike Mutebi mukakafu nti oluvanyuma lw’okuwangula kiraabu ya Tunisia eya Club Africain, baafunye embavu…

Read More

Abakatuula s6 bakusomesebwa okukozesa emmundu

Bya Ritah Kemigisa Abakatuula siniya ey’omukaaga abasoba mu 700 okuva mu disitulikiti ez’enjawulo bakutendekebwa mu ssomo lya mwoyo gwaggwanga okumala wiiki 2 wali mu kisaawe ky’ettendekero lya Shimoni Primary School college mu disitulikiti ye Wakiso. Kamissiona w’enteekateeka eno Col.Patrick Mwesigye agamba essomo lino lyakuyamba abayizi ebintu ebyenjawulo nga okukozesa emmundu, ebty’obulamu sso nga era bakubangulwa mu by’amateeka…

Read More