File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Kyotera mu disitulikiti ye Rakai eriko abasajja 2 bekutte lwakufera musuubuzi 500,000.
Deo Kyobe 25 ne Godfrey Kasaga 27 bonna nga batuuze be sanje bebakwatiddwa lwakufera Dickson SsebugwawoKigambibwa nti ababiri bano befudde ab’ebyokwerinda nebasaba Ssebugwawo ssente zino okumuyambako okumubanjiza ssente ze ku babadda bakyaganye okumusasula.
Okunonyereza kwa poliisi okusoose kulaze…
File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera
Abamu ku batunulizi b’ebyobufuzi bategezezza nga ebigenda mu maaso mu kibiina kya NRM bwebitali bipya kale nga betaaga okutuula bateese okugonjoola ensonga zonna.
Omukugu mu by’obufuzi Mwambutsya Ndebesa agamba okwongezaayo akamyufu kano kiraga nti ebintu tebitambula bulungi mu NRM.
Ono agamba nti ekibiina kisaanye okwewala obwanakyemalira mu kukulembera bannakibiina wabula bateese okumalawo…
File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera
Abantu 4 balumiziddwa mu fujjo erikoleddwa abawagizi ba NRM mu disitulikiti ye Lwengo nga betegekera akamyufu k’ekibiina akayongezeddwayo okutuusa olunaku lw’enkya.
Abalumiziddwa kuliko Mzee Nyansi owokukyalo Mijumi , Hamdan Muddu o’we Kayirira, Alex Kamya ow’e Lwensalon’omulala ategerekese nga Kafeero.
Kafeero nga y’omu ku bakulembeze ku kyalo Tayirira y’ajiddwa mu nyumbaye nebamukuba mizibu…
File Photo: Katikiilo Peter Mayiga nga tambula
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga akunze baminista ba ssabajja kabaka abakalondebwa okukola enyo okutuusa Buganda ku Ntikko.
SSabasajja yakola enkyukakyuka mu ba minisita be nga mu bakyusibwa kwekuli ne katikkiro namba bbiri nga kati ye wekitiibwa Twaha Kawaase.
Katikkiro agambye nti abakulu bano balondeddwa mu kaseera nga Buganda ebeetaga…
File Photo: Besigye ngali ne Mbabazi
Ab’omukago gwa The Democratica Alliance bakyagenda mu maaso n’enteseganya z’okusimbawo omuntu omu ku bwapulezidenti .
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye n’eyesimbyewo nga atalina kibiina Amama Mbabazi bazzemu okuteesa ku wikendi.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omukago guno, enteseganya zino zakwatiddwa nga zikubirizibwa ab’ekibiina kya Kofi Annan Foundation mu kibuga…
File Photo:Ebipande Ebitimbidwa mukibuuga
Waliwo ekibinja ky’abavubuka abagenze batimba ebipande wano mu Kampala ebiriko obubaka obubanja enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda nga okulonda tekunatuuka.
Bano kawefube waabwe bamutuumye “Red top” nga era ebipande bitimbiddwa okwetolola ekijukizo ky’amefuga, ekibangirizi kya ssemateeka ssaako ne kanisa ya Kampala Pentocostal church.
Ebipande bino era bitimbiddwa e Masaka, Mbale, Iganga ne Kyotere.
File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera
Ab’ekibiina kya NRM balangiridde nga bwebongezzaayo okulonda kw’akamyufu okubadde okwaleero okutuusa olunaku olw’enkya.
Akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kekalangiridde kino awatali kunyonyolwa kwonna.
Ab’ekibiina bakulonda abanabakwatira bendera ku bubaka bwa palamenti ssaako nebassentebe b’ebyalo.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM Dr.Tanga Odoi agamba akakiiko kazibye buli muwatwa omuntu mwayinza okubbira obululu nga era bakolagana n’ebitongole ebikuuma…
File Photo:Museveni ngali mudwaliro okulaba ku Namayanja
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwalero akyaliddeko Omuwanika w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja akyagenda mu maaso n’okujaanjabibwa mu ddwaliro e Nakasero.
Namayanja yagwa ku kabenje ku lunaku lw’okubiri e Kigogwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo era naddusibwa mu ddwaliro e Nakesro ng’embeera mbi nyo.
Wabula abasawo okuva e…
File Photo: Mbabazi nga ne mukyala we
Eyali Ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi agamba nti tasobola kwetaba mu ttabamiruka wa kibiina kya NRM.
Ab’ekibiina kya NRM baayise Mbabazi ne mukyala we okwetaba mu ttabamiruka w’ekibiina atandika ssabbiiti ejja.
Mbabazi agambye nti mu kifo ky’okugenda e Namboole , wakusigala ng’alabirira mukyala we ali ku kitanda mu Bungereza.
Ono agambye…
File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be
Eyali ssabaminista w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi kyaddaaki ayanukudde abalowooza nti ayinza okudda mu NRM nga prof. Gilbert Bukenya bweyakola.
Mbabazi agambye nti akkiririza mu nfuga y’amateeka, ate ng’akimanyia abakulembeze mu kibiina kino tebakitegeera kale nga tasobola ate kwetema ngalike.
Mbabazi agambye nti akaseera ke keekano…