Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ogwa FDC gujulidde

File Photo: Besigye nga awubiirako abawagizi be Okuwulira omusango gw’ekibiina kya FDC gwebawawabira ssenkaggale wa poliisi, ssabawolereza wa gavumenti  n’akakiiko k’ebyokulonda kwongezeddwayo. Kino kiddiridde ssabawolereza wa gavumenti akiikiriddwa  Edison Karuhanga okusabayo akadde okutegeka okwewozaako. Mungeri yeemu bannamateeka ba Gen Kale Kayihura eyawawabirwa nga omuntu ssekinoomu bategezezza nga omuntu waabwe bw’ataweebwanga bbaluwa yonna ku musango guno. Kati omulamuzi Benjamin Kabiito…

Read More

Omubaka Namayanja bamulongoosezza

File Photo: Namayanja nga yogeera Omuwanika w’ekibiina kya NRM era omubaka omukyala ow’e Nakaseke  Rose Namayanja alongoseddwa era wakusibulwa mu wiiki nga 2. Amyuka omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa ategezezza nga abasawo nga bakulembeddwamu Isaac Kajja bwebalongosezza Namayanja nebamukubamu emisumaali wamu n’okugatta amagumba agaakutuse. Okusinziira ku  Mbonye, eggumba ly’omukisambi lyakutuseemu emirundi 2. Kati Mulindwa agamba Namayanja agenze akuba ku…

Read More

Basse muganda waabwe lwa bintu

File Photo: Police nga ekola ogwayo Poliisi e Mukono eriko ab'oluganda 4 b'eggalidde nga bateberezebwa okuba nga bekobaana okutta muganda waabwe bafune obugagga. Abakwate kuliko Baliko Muhamadh, Mbidde Karidh, Kawere Abdul ne Nanyunja Violet nga batuuze be Mukono. Bano kigambibwa batta muganda waabwe Ibrah Mbalangu nga 10 omwezi guno wali ku mugga Lwajjali e Goma Bukerere e Mukono. Kiddiridde…

Read More

Besigye awera- poliisi emwekiseemu

File Photo: Besigye nga ayogeera Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti   Dr. Kiiza Besigye alabudde poliisi okwewala okutataganya enkungaana zabwe zebateesetese okukuba. Besigye aweze nga bwebagenda okuggulawo ofiisi z’ekibiina mu tawuni ye Bugiri olwo bakube olukungaana mu paaka ye Bugiri. Besigye agamba ekibiina kye kirina eddembe okukunga abawagizi awatali abakuba ku Mukono. Agamba nti bakugoberera enteekateeka zaabwe ez’okukuyega…

Read More

Akoonye omwana awonye okugajambulwa

File Photo: Police nga etaasa omutu okukubibwa abantu Poliisi eriko omugoba w’emmotoka gw’etasizza ku batuuze ababadde baagala okumugajambula lwakutomera mwana ow’emyaka 4 n’amutta. Abatuuze ababadde baswakidde era balumbye poliisi  Francis Ochaya gy’abadde akumibwa nebagezaako okugimenya bamwekolereko. Bino byonna bibadde ku kyalo  Palabek Kal mu disitulikiti ye Lamwo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Patrick Jimmy Okema ategezezza nga…

Read More

Ababaka bafuuse ebakyekkusa- balwanyisa enguzi

File photo: Ababaka ba Palimenti Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga batabukidde ababaka ba palamenti abazze babanja ensako okujja mu ntuula ez’enjawulo. Akulira ekibiina kya Anti-corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba baafunye amawulire agesigika nti ababaka baasasulwa obukadde 15 buli omu mu mwezi 2 egiyise. Kagaba agamba kino kilaga nti ababaka ba palamenti berowoozako bokka nambuto zaabwe era basoosa…

Read More

Baryamureeba akakasiddwa

File photo: Baryamuleba nga yogeerako eri banamawulire Eyesimbyewo ku bwapulezidenti  Prof Venasuis Baryamureeba akutte olunaku lwa nga 3  November nga kw’agenda okusunsulibwa akakiiko k’ebyokulonda. Nga ayogerako nebannamawulire,Baryamureeba  ategezezza nga akakiiko k’ebyokulonda bwekakasizza nti wakusunsulibwa ku ssaawa mukaaga ez’emisana. Baryamureeba era yewanye nga bweyawaddeyo dda obukadde obulala 12 okujuza 20 g’alina okusasula oluvanyuma lw’etteeka okwongeza ensimbi zino . Mungeri yeemu…

Read More

Namayanja agudde ku kabenje

Filephoto:Emotooka ya Namayanja jabadde atambulira mu Omuwanika w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja Nsereko agudde ku kabenje wali e Kigogwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Nakaseke. Okusinziira kw’omu ku boogezi ba NRM Rogers Mulindwa, Namayanja mu kadde kano aweereddwa e kitanda mu ddwaliro lye Nakasero Ono abadde wamu n’omukuumi we Richard Kyazze, maama we Catherine Namirembene dereeva…

Read More

Aba DP Mbabazi abawuuba

File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao Bannamateeka b’ekibiina kya  Democratic Party bali mu nteekateeka ezisembayo ez’okubaga ekiwandiiko ekinatekebwako emikono ku nkolagana yaabwe n’egwebagenda okuwagira ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi. Ekibiina kya DP kyalangirira nga bwekigenda okuwagira Mbabazi n’ekiwayi kye ekya Go Forward nga kati basaka buwagizi kuva mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu. Ssenkaggale w’ekibiina kino  Nobert Mao…

Read More

Aba FDC begaanye ebyogerwa poliisi

File Photo: Owogezi wa police Fred Enanga Ab’ekibiina kya FDC besamudde ebigambibwa  poliisi nti balina enteekateeka z’okutataganya okukyala kwa paapa omwezi ogujja. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga,gyebuvuddeko y’ategezezza nga bwebafunye amawulire agalaga nga aba FDC bwebatekateka okukozesa obukodyo obw’enjawulo okukuba enkungaana ezitali mu mateeka kale nga poliisi erina okubalabukirira. Enanga era y’ategezezza nga bwebalondoola buli ab’ekibiina…

Read More