Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abalwanyisa enguzi balumbye ababaka ba palamenti

File photo: Ababaka ba Palimenti Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga batabukidde ababaka ba palamenti abazze babanja ensako okujja mu ntuula ez’enjawulo. Akulira ekibiina kya Anti-corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba baafunye amawulire agesigika nti ababaka basasulwa obukadde 15 buli omu mu mwezi 2 egiyise. Kagaba agamba kino kilaga nti ababaka ba palamenti berowoozako bokka era basoosa bigendererwa byabwe…

Read More

Munonyereze ku mukyala eyayambulwa- ba mawanga magatte

File Photo:Aba Police ngabasitudde omukazi Gavumenti esabiddwa okuteekawo akakiiko kanonyereza ku bannakibiina kya FDC abagmbibwa okutulugunyizibwa poliisi ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, kamissiona akola ku nsonga z’eddembe ly’obuntu mu kibiina ky’amawanga amagatte mu Uganda  UchennaEmelonye ategezezza nga okunonyereza ku nsonga eno bwekwetagisa. Agamba kyannaku okuba nti n’omukyala yayambulwa wabula gavumenti…

Read More

Abanasisinkana paapa bakusunsulwa

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono Ekeleziya katolika etandise okusunsula abakulu abagenda okubeera okumpi ne paapa ng’akyadde kuno. Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga agambye nti teri ajja kugaanibwa kwetaba ku mikolo gya paapa kyokka ng’abajja okumusemberera balina okusengejjebwa Ssabasumba Lwanga agamba nti buli busumba bwakuwereeza abantu baabwo omunabeera abavubuka, abasomesa n’aba katikisimu olwo…

Read More

Babiri balumbiddwa enjuki

File Photo: Abalunzi be njuki Abantu babiri beebafuddde n’abalala 20 nebalumizibwa byansusso oluvanyuma lw’okulumbibwa enjuki e Butalejja Kino kyabadde ku kyaalo Kachonga e Butaleja mu maka ga Muhamood Miya ng’ono mutabani we abadde yekulisa kamyufu ka NRM ake gombolola ye Naweyo. Omwogezi wa poliisi ye Bukedi Michael Odongo agambye nti omugenzi ategerekese nga Yusuf Mutembuli n’omukyala omulala ow’emyaka…

Read More

Abasoba mu 20 bafudde mu wiiki emu

File Photo: Fred Enanga Abantu 26 beettiddwa mu ggwanga mu ssabbiiti emu yokka. Bino biri mu alipoota ya poliisi efulumiziddwa olwaleero. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ku bano munaana babafumita biso, basatu betta, bana battibwa mu bukubagano mu maka , bataano battibwa bantu abatwalira amateeka mu ngalo ate abalala ekyabatta tekyategerekese Ebifulumiziddwa poliisi olwaleero bikyuusa…

Read More

Omujaasi gamumyuse – omwana bamusibye

File Photo: Abajasi bejje lye gwanga elya UPDF Omusirikale wa UPDF gamumyuuse bw’asangiddwa nga afuyiisa mu paaka enkadde, yogayoga mu kkooti ya City Hall. Omusirikale ono nga ye Emmanule Amaku akwatiddwa  abasirikale ba  KCCA ababadde balawuna  ekibuga  mu  Kampala, era nga akwatiddwa lubona mu kikolwa. Asimbiddwa mu kkooti  y’omulamuzi w’eddaala erisooka Moses Nabende  omusango n’agukkiriza, era neyetondera omulamuzi…

Read More

Eby’okwerinda mu katale biragaya

File Photo: Abasubuuzi nga baali mukataale e'Gulu Abasuubuzi abakolera mu katale akakulu e Gulu bemulugunyiza ku by’okwerinda ebiri yegeyege ku katale kaabwe. Ku ntandikwa y’omwezi guno abasuubuzi abasoba mu 1000 abaali mu butale okuli Kakanyero ne  Kaunda basenguka nebadda mu katale kano. Wabula nga bakakoleramu kati wiiki 2 zokka, abasuubuzi bemulugunya nti abantu abakyamu bamala gayingira katale kano…

Read More

Enkalala z’abalonzi bazibbye

File Photo: Owa Nrm ngalaga enkalala zekibiina Poliisi ye Kalungu eriko omuwandiisi w’ekibiina kya NRM ne Kansala bekutte lwakubba nkalala z’ekibiina okuva ku ofiisi z’ekibiina ku disitulikiti. Abakwate bategerekee nga  Kristopher Mulindwa  ow’egombolola ye Bukulura wamu ne  Daniel Sejjoba nga ono ye kansala. Ababiri bano bavunanibwa kubba nkalala n’ekigendererwa z’okuzitwala eri eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi nga era…

Read More

Owa poliisi asse bana

File Photo: Police nga ekola ogwayo Omuserikale wa poliisi akubye abantu 4 amasasi mu gombolola ye Akokoro mu disitulikiti ye Apach mu kikwekweto ky’okufuuza abamenya amateeka g’ebyenvuba ku Nyanja Kyoga. Kigambibwa nti omuserikale ono awandagazza amasasi nga agezaako okuwamba obutimba bw’abavubi abavuba obwenyanja obuto. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti ya Apac John Robert Omuut, akakasizza akabenje kano n’ategeeza…

Read More

Piki agivuze Bukunya

File Photo:Aba boda boda nga bali ku pikipiki zabwe Abatuuze ku kyalo  Namadi mu disitulikiti ye Mayuge beerabidde katemba atali musasulire oluvanyuma lw’omusajja ow’emyaka 19 okuwakanira siringi 7000 n’ajjamu engoye zonna n’avuga pikipiki nga ali bukunya. Kizige Isiko nga muvuzi wa bodaboda mu kitundu kino abatuuze bonna bamwegese amaaso nga teyefiirayo ayagala kuwangula ssente zino. Ssente zino zisimbiddwawo…

Read More