File Photo: Hajji Nkambwe ngali ne mukyala
Abantu abenjawulo bakyakungubagira abadde omwogezi wekibiina ekikulembera omuzannyo gwemotoka zempaka Haji Nkambwe afudde enkya ya leero.
Ab’ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga nabo bawaddeyo obubaka bwabwe obukubagiza
Omugenzi okubiddwa ekirwadde kya puleesa enkya ya leero ku ssaawa bbiri ez'okumakya .
Amyuka omukulembeze wekibiina ky'omuzannyo gw'emotoka z'empaka Dusman Okee ategeezezza nga omulambo bwegwatwaliddwa dda…
File Photo: Fred Enanga
Poliisi etegeezezza nga bw’efunye amawulire nga bwewaliwo ekibinja kya bannabyabufuzi abakolagana ne bannakyeewa okuttattana erinya lyayo nga paapa akyadde kuno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bagudde mu lukwe olulukibwa wansi wa kawefube atuumiddwa “kkomya obukambwe bwa poliisi” agendereddwamu okutaataganya okukyala kwa papa omwezi ogujja.
Enanga alabudde abateekateeka okukola kino okwewalira ddala…
File Photo : Bukenya nga bamusitudde
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ayongedde okufuna abawagizi abamwegattako.
Waliwo bannakibiina kya Pressure for National union ekikulemberwa eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya abekutudde ku mukulembeze waabwe nebegatta ku Mbabazi.
Ekibinja kino kirimu abakulembeze abasoba mu 30 okuva mu disitulikiti nga Jinja, Busia, Pallisa, Luweero ,Nakaseke n’endala.
Bano era begatiddwako ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina…
File Photo: Uhuru nga yogeerako eri na kibiina kya NRM
Bannakibiina kya NRM batandise kakuyege nga betegekera okusunsunsulibwa kw’omuntu waabwe eyesimbyewo ku bwapulezidenti omwezi ogujja.
Bannakibiina wano mu Kampala bebakulembeddemu nga era baatandise dda okukuba enkungaana ezisaka obuwagizi.
Akulira NRM mu Kampala Salim Uhuru agambye nti ekisinga obukulu kulaga maanyi ku lunaku luno
Ye amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard…
File Photo: Akulira Akakiiko ke byo kulonda
Akakiiko k’ebyokulonda kamalirizza okukakasa emikono gy’abasembye eyesimbyewo ku bwapulezidenti nga talina kibiina Joseph Mabirizi. .
Abawagizi bano bava mu disitulikiti 75 nga era kati Mabirizi afuuse eyesimbyewo ku bwapulezidenti owokutaano okutuukiriza ebisanyizi by’okwesimbawo.
Wiiki 2 eziyise akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde pulezidenti Museveni,akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr. Kiiza Besigye , Abed Bwanika…
File Photo: Police nga ekuba omukka ogubalagala
Poliisi yakuno erabuddwa obutamala gakozesa mukka gubalagala nemubiseera nga tegwetagisa.
Ab’ekibiina ekirondola eddembe ly’obuntu mu nsi yonna ekya Human Rights Watch bagamba poliisi esanye okugoberera amateeka nga ekozesa omukka guno okwewala okutyobola eddembe ly’obuntu.
Ssabanonyereza w’ekibiina kino mu Africa Maria Burnett agamba poliisi okugumbulula ab’alodda oluvuganya gavumenti buli kisera n’omukka ogubalagala…
File Photo: Abasubuuzi nga baali mukataale e'Gulu
Abasuubuzi abakolera mu katale akakulu e Gulu bemulugunyiza ku by’okwerinda ebiri yegeyege ku katale kaabwe.
Ku ntandikwa y’omwezi guno abasuubuzi abasoba mu 1000 abaali mu butale okuli Kakanyero ne Kaunda basenguka nebadda mu katale kano.
Wabula nga bakakoleramu kati wiiki 2 zokka, abasuubuzi bemulugunya nti abantu abakyamu bamala gayingira katale kano…
File Photo: Amasanyalaze
Poliisi mu disitulikiti ye Pallisa ekutte avunanyizibwa ku by’ensimbi ku disitulikiti ye Kibuku Stephen Mwilugazu ku byekuusa ku kutta abayizi 3 mu disitulikiti ye Pallisa.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Micheal Odongo agamba omukungu ono y’akwatiddwa n’abalala okuli Koloneryo Koyi , Peter Dambyone Kattooko Mwilugazu nga bonna batuuze ku kyalo Kalaki.
Okusinziira ku…
Poliisi ye Kalungu eriko omuwandiisi w’ekibiina kya NRM ne Kansala bekutte lwakubba nkalala z’ekibiina okuva ku ofiisi z’ekibiina ku disitulikiti.
Abakwate bategerekee nga Kristopher Mulindwa ow’egombolola ye Bukulura wamu ne Daniel Sejjoba nga ono ye kansala.
Ababiri bano bavunanibwa kubba nkalala n’ekigendererwa z’okuzitwala eri eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi nga era betaba nemukubba obululu mu kamyufu k’ekibiina.
Omuwandiisi…
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao ategezezza nga ekibiina kye bwekikyali ekyamanyi nga era kyakusigala bwekityo.
Mao agamba nti yadde nga abakulembeze bangi bavuma ekibiina kino, kyekyabatuusa webali.
Nga agulawo olukungaana lw’ekibiina olw’ennaku 2 Olw’ennaku 2, Mao ategezezza nti bannabyabufuzi bangi bakulembeze ebigendererwa byabwe nga abantu nebasimuliza ebitoomi ku kibiina kino sso nga kyekibatusizza webali.
Ye ssabawandiisi…