File Photo: Abakazi nga bambadde obugooye obumpi
Abakyala mu disitulikiti ye Moroto balabuddwa nti bakukwatibwa singa basangibwa nga bambadde enkunamyo wamu n’abo abatambuliza embuto ebweru.
Aduumira poliisi ye Moroto Richard Aruku Maruk y’akoze okulabuloa kuno oluvanyuma lw’ekikwekweto ku bamalaaya mu nkuubo ez’enjawulo gyebatwala bakasitooma baabwe.
Ategezezza nga abakyala abambala mini bwebakema abasajja okubatuusako ogwabuliisa maanyi kale nga kati…
File Photo: ebipande bya besimbye wo ku office za Nrm
Abawagizi b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Sembabule bookezza ofiisi y’ekibiina kya disitulikiti mwebabadde babalira obululu bw’akamyufu k’ekibiina.
Kino kiddiridde okulangirira Fred Kalakule ku buwanguzi olwo abawagizi ba Benon Bulora gwebawangudde nebalumba ofiisi nebazitekera omuliro.
Abawagizi Bulora okuva mu mbeera kyaddiridde aba Fred Kalakule nga era ye ssentebe…
File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwekatagenda kukkiriza yesimbyewo yenna ku bwapulezidenti kukuba nkungaana nga ebiseera bya kampeyini ebitongole tebinatuuka.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu ategezezza nga amateeka ga kampeyini bwegali amalambulukufu kale nga abesimbyewo basaanye okugagoberera.
Kino kizze wakayita mbale poliisi kyejje erinye eggere mu lukungaana akwatidde FDC bendera Kiiza Besigye…
File Photo : Bukenya nga bamusitudde
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi asambazze ebigambibwa nti ekya Prof Gilbert Bukenya okuddayo ewa pulezidenti Museveni kyatutengula bannayuganda obutamwesiga mu kawefube gw’aliko okwesibawo ku bwapulezidenti.
Bukenya y’alangiridde nga bw’agenda okuwagira pulezidenti Museveni n’alumiriza oludda oluvganya gavumenti obutaba nakigendererwa.
Omwogezi w’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance Michael Mabikke…
Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu alabudde gavumenti ku kusindikiriza ennyo abavuganya.
Oguttu agamba nti banditendewalirwa nebatandika okwerwanako.
Wafula agambye nti keekadde gavumeti erekere awo okukozesa etteeka ku nkungaana okulemesa emirimu gyaabwe
Ono agamba nti ekibiina kya FDC kiriwo mu mateeka era kirina okukola emirimu gyaakyo ng’amateeka bwegalagira
Bino bibadde mu kiwandiiko kye ky’asomye mu palamenti olw’eggulo lwaleero…
Eyali ssentebe wa DP Damiano Lubega akunze bannakibiina kya DP okuwagira Amama Mbabazi ku bukulembeze bw’eggwanga
Mu Lukiiko olutudde ku Sharing Hall e Nsambya, Lubega agambye nti mu byobufuzi temuba mulabe wa lubereera nga mu kadde kano Mbabazi ye mutuufu.
Olukiiko luno lwategekeddwa omubaka Betty Nambooze era nga kisuubirwa nti aba DP mu Buganda mwebasuubira okuyita okulangirira…
File Photo:Aba Updf nga babatendeeka
Okuwandiisa abaagala okwegatta ku magye kukomekerezebwa leero.
Aba UPDF bagamba nti baagala abajaasi 3000 abakugu saako n;abalala okwongera ku ggye ly’eggwanga.
Kuluno abadde talina ndagamuntu abadde tawandiisibwa kubanga zibadde zikozesebwa nga obukakafu nti ddala omuntu munnayuganda.
Wabula mu bitundu ebimu ebikumin’ebikumi ab’ababadde bagenze okuwandisibwa bagobeddwa lwabutatukiriza bisanyizo nga abamu tebalina biwandiiko byetagisa sso nga…
File Photo: Abalamazi nga bali e namugongo
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni alagidde gavumenti okuwaayo mangu obuwumbi 18 eri okuddabiriza ekiggwa ky’abajulizi nga eggwanga lyetegekera okukyala kwa papa omwezi ogujja.
Kino kiddiridde abakugu abavudde e Vatican okutegeeza nga omulimu bwegwabadde gutambula akasobo olw’ensimbi entono.
Kino kyawaliriza pulezidenti Museveni okugenda okulambula emirimu nga 3 October 2015 n’akizuula nti ddala buli…
Banka y’eggwanga enkulu yedizza emirimu gya banka ya Imperial Bank Uganda Ltd okuva kati.
Kino kiddiridde banka ya Kenya enkulu okwediza ettabi lya banka eno ekkulu mu Kenya okumala omwaka mulamba lwamirimu butatambula bulungi .
Ssenkulu wa banka enkulu eyakuno Tumusiime Mutebile ategezezza nga bwebatagadde banka eno okulaba nga bannayuganda tebafiirwa nsimbi zaabwe .
Tumisiime ategezezza nga banka…
File Photo: Uchumi supamaketi eye Gulu
Abakozi ba supamaketi ya Uchumi e Gulu abasoba mu 90 bakonkomaliridde ku mulyango oluvanyuma lw’okusanga nga webakolera bagaddewo nga n’ebyokwerinda binywezeddwa.
Omu ku bakozi Isaac Okello ategezezza nga nabo bwekibabuuseko okusanga omuggalo nga mpawo kyabategezeddwa.
Bino okubaawo nga aba kampuni enunzi y’enkoko eya Ugachick kyejje eragile bawanyondo ba kkooti nebalumba ettabi ekkulu…