Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omukazi eyayambuddwa- poliisi erumbye bannamawulire

File Photo:Aba Police ngabasitudde omukazi Poliisi erumirizza emikutu gy’amawulire okutataganya akatambi k’omuwagizi w’ekibiina kya FDC eyayambuddwa engoye nga akwatibwa nebaraga nga poliisi bweyakoze kino. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga omukyala ono bweyeyambuddemu engoye nga bamukwata sso ssi poliisi nga ab’amawulire bwebalaze mu katambi kaabwe. Enanga ategezezza nga poliisi kati bwetandise okunonyereza okulaga eggwanga amazima…

Read More

Ebigezo bya siniya y’okuna- ebigezo bikereeye

File Photo: Abayizi ba siniya eyokuuna nga bakoora ebigeezo Wabaddewo akajagalalo ku ssomero lya Namakwa Senior Secondary School mu gombolola ye Nakisunga e Mukono abayizi bwebavudde mu mbeera oluvanyuma lwomukulu we ssomero okubagaana okukola ebigezo. Omukulu we ssomero Joseph Lukwago aliko abayizi ba S4 20 babadde agaanye okukola ebigezo nga kigambibwa abadde ababanja, ekijje abaana mu mbeera. Baddukidde…

Read More

Amaggye ga Yuganda gavudde e South Sudan

File Photo:Gen Katumba nga yogeerako nga bajjasi ba Updf Uganda etandise okuggya amaggye gaayo mu ggwanga lya South Sudan. Bino birangiriddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Ambasada James Mugume. Kino kiddiridde endagaano eyassibwaako emikono okuzza emirembe mu ggwanga lino ng’amaggye gonna amagwiira gaali galina okwamuka eggwanga lino. Nsalessale yali wa nga 10th October 2015. Ambassador Mugume…

Read More

Aba FDC bawanda muliro

File Photo:Aba Police ngabasitudde omukazi Ab’ekibiina kya FDC bategeezezza nga bwebagenda mu kkooti ku nsonga z’abantu baabwe abakwatibwa mu ngeri evvoola eddembe lyaabwe. Ku lw’omukaaga bannakibiina kya FDC okuli Dr Kiiza Besigye Paul Mwiri, Ssemujju Nganda ne Geoffrey Ekanya kko n’abalala bakwatibwa bwebaali bagenda e Rukungiri ku lukungaana. Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda agambye nti aduumira poliisi gen…

Read More

UCHUMI ezindiddwa

File Photo: Uchumi supamaketi Bawanyondo ba kkooti bazinzeeko ssemaduuka wa UCHUMI wali ku Garden City nebabowa ebintu ebiwera. Bano batambulira ku kiragiro kya kkooti okununula ensimbi UGACHICK z’ebanja UCHUMI mu nkoko gy’erudde ng’ebawa. Twogeddeko n’omu ku bawanyondo Dirisa Sekiziyivu agamba nti Uchumi bagibanja enkoko ebalirirwaamu obukadde 185. Enkoko eno bagibawa wakati w’omwezi gw’okusatu n’omusanvu mu mwaka guno.

Read More

Aba NRM bayomba

File Photo: Abawagizi ba NRM Abawagizi b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Lwengo batiisatisizza obuteetaba mu kulonda kwa NRM, lwa mivuyo mu nkalala z’abalonzi. Bano okwogera bino babadde mu lukungaana oluyitiddwa omubaka omukyala akiikirira disitulikiri Gertrude Nakabira Lubega  e Kinoni Abawagizi bagamba nti enkalala zijjuddeko abantu abatali bawagizi ba NRM, ekintu kyebatasobola kuguminkiriza. Ye Nakabira agambye nti ategezeddwa abamu…

Read More

Besigye akwatiddwa

File Besigye nga alwanagana ne police Poliisi ekutte banakibiina kya FDC ababadde boleekera ekibuga Rukungiri okukuba olukungaana. Abakwatiddwa kuliko Hon Semujju Nganda, Hon Amuriat, Hon Paul Mwiru, Wasswa Birigwa,Harold Kaija, Atuhairwe Nicholas, Zaina Fatuma, Kankweza Kakuru. Bano bakwatiddwa poliisi ye Ssanga. Yye Dr Kiiza Besigye alemedde mu motoka ye. Kati poliisi esazeewo kuleeta buleeke dawuni egiwanise ku kimotoka egiri mu…

Read More

Ebola azzeemu

File Photo: Abasawo nga basomesa abantu kukilwadde kya Eboola Ab’obuyinza wamu n’abatuuze mu ggwanga lya Nigeria batandise okusattira, oluvanyuma lw’ekirwadde kya Ebola okuzuulibwa mu bukiikaddyo  bweggwanga lino. Kino kizze ngawakayita omwaka mulamba nga Nigeria erangiridde nga bwerinye ekirwadde kino kunfeete. Abantu 10 bamaze okuzuulibwa n’ekirwadde kino era nga kati bagaaniddwa okutambula. Waliwo omuntu omu agambibwa okuba nga yafudde dda…

Read More

Pulezidenti Museveni alabudde ku buvuyo- bafunye emidaali

File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu Pulezidenti Museveni agumizza abantu nti tewali kigenda kutataaganya mirembe yadde ne mu biseera by’okulonda Pulezidenti agambye nti waliwo abatandise okutiisatiisa abantu nti okulonda kuggya kubaamu akavuyo kyokka tekisoboka Ono era agambye nti musanyufu nti eggwanga lyonna litebenkedde nga n’obukiikakkono obwalimu entalo bwatereera kati. Olunaku luno lukuziddwa ku mulamwa ogugamba nti okukolerera abantu abakulakulana…

Read More

Ruto alumbye abavuganya

File Photo: Ruto nga yogeera Amyuka omukulembeze w’eggwanga lya Kenya William Ruto asekeredde abavuganya abeekolamu omukago okusigukulula pulezidenti Museveni Ono agambye nti kyamwewunyisizza okulaba ng’abavuganya bwebalemereddwa okukkaanya baagenze gw’oyo gwebawangula Raila Odinga kale nga tasobola kubawa magezi ga kuwangula Ng’ayogerera ku mikolo gy’amefuga g’eggwanga, Ruto agambye nti ebyobufuzi ebirungi tebirina kutambulira ku mawanga n’abantu abantu bonna okukulembeza ensonga…

Read More