File Photo :Museveni nga aliko byagamba Bukenya
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya yefudde n’addayo eri pulezidenti Museveni
Bukenya aludde ng’alumba pulezidenti Museveni kati agamba nti wakuwagira yye mu kulonda kw’omwaka ogujja
Bukenya ategeezezza nga bweyazzeemu okusisinkana pulezidenti Museveni era nga kati yakakikola emirundi ena nga tewakyali kubuusabuusa azzeeyo ewaka.
Bukenya agambye nti obutali bwesimbu mu bavuganya bwebusinze…
Abaana bataano beebalumiziddwa ebyensusso mu kabenje ka motoka akabadde wali e Kibuli.
Akabenje kano keetabiddwamu motoka kika kya Toyota Mark 2 eremeredde omugoba waayo n’esabaala abaana bano ababadde ebbali w’ekkubo.
Abaana bano babadde bagenda mu mizannyo akabenje wekagwiriddewo.
Kano kabadde ku kkubo erigenda ew’omulangira Nakibinge.
File Photo:Aba Updf nga babatendeeka
Abamu ku basirikare b'eggye ly'eggwanga elya UPDF mu ttunduttundu lya Central B bakukkulumidde abakulu abali ku mulimu gw'okuwandiika abagenda okuyingira mu maggye olw'okuwandukulula abaana baabwe kyokka nga bo balwanirira eggwanga lino.
Eggye lya UPDF mu kiseera kino liri ku ddimu ly'okuwandiika abaana abakyalina embavu, abalamu obulungi , wamu n'abamala siniya ey'okuna nga…
Eyali minisita w’amakolero James Mutende ayogeddwaako ng’omusajja abadde ateese mu palamenti ne mu bukiiko
Bino byogeddwa sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga mu kuteesa ku mirimu emirungi egikoleddwa minisita ono mu bulamu bwe.
Kadaga agambye nti kyannaku nti palamenti etude mu ssabbiiti ssatu okuddamu okusiibula memba waayo omulala oluvanyuma lw’okusiibula Gen Aronda Nyakairima
Ono era asaasidde ne pulezidenti Msueveni…
File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu
Akakiiko akalondesa kalina ennaku musanvu okunyonyola lwaki kayongezaayo okusunsula abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Mu bbaluwa gy’awandikidde akakiiko kano, eyali ssabaminisita Amama Mbabazi alumirizza akakiiko akolera wabweru w’amateeka n’okuzinira ku ntoli za NRM.
Ebbaluwa eno ewandiikiddwa bannamateeka ba Mbabazi okubadde Fred Muwema, Severino Busingye ne Mary Byamugisha, era nga bagamba nti…
File Photo: Mayiga nga bamulambuza
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga akunze bannayuganda okwettanira okwongera omutindo ku bintu byebakola olwo nebanafunamu okusinga
Ng’atongoza kkampuni ya ensogozi y’omwenge, Owek Katikkiro agambye nti ebintu bingi bwebitundibwa ng’omutindo guli wansi tebivaamu nsimbi ziri awo kale nga ssinga birongoosebwa kiyamba.
Awadde eky’okulabirako kya kkampuni etongozeddwa gy’agamba nti ejja kuyamba okugula ku…
File Photo: Abayizi be Makerere
Poliisi ekyali mu gyangu onkwekule n’abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere abakyekalakaasa nga bawakanya okusasula fiizi zonna mu ssabbiiti 6 ezisooka mu lusoma.
Poliisi kati eva kizimbe ku kizimba okukwata abo abakola effujjo.
Akulira ebyokwerinda ku ttendekero lino Jackson Mucunguzi agamba abayaaye nabo bagasse mu bayizi abekelakaasa nebongera okutabangula embeera.
Okusooka poliisi y’akubye omukka…
File Photo: Ababaka mu Palamenti
Ababaka ba palamenti ab’enjawulo n’abantu abalala bakyeyiwa ku palamenti okukuba eriiso evvanyuma ku mugenzi Dr James Mutende nga ono ye minisita omubeezi ow’amakolero.
Mutende y’afa ku lunaku olwomukaaga mu maka ge e Makindye.
Nga ayogerako nebannamawulire, omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi ategezezza nga okufa kwa Mutende bwerili ekkonde eddene eri ekibiina .
Ono…
Sipiika wa palamenti ategezezza nga bannayuganda bwebasaana okusooka okwebuzibwako nga ebbago ly’etteeka ku by’okuwera akalabba terinayisibwa kufuuka tteeka.
Nga agulawo enteeseganya za palamenti ku ky’okugyawo akalabba,sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ategezezza nga ensinga eno bweli eyamakulu enyo kale nga ne bannayuganda balina okuweeba omukisa okutekako ettaffaali mu nteseganya zino.
Kadaga agamba palamenti erina okufuba okulaba nga amateeka…
Minisitule ekola ku by’enguudo ekwataganye ne kkampuni ya face technologies okutandika okugaba pamiti eri abazeetaga mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
Enkola eno yakusobozesa abagaba pamit okutambula ebitundu ebitali bimu okuyambako abo ababeera ewala.
Ng’atongoza enkola eno, minisita w’ebyenguudo John Byabagambi agambye nti kino kijja kukendeeza n’okulwiisa abantu nga mu kadde kano balina ebifo musanvu byokka ebigaba pamiti…