Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

E Kyambogo beekalakaasizza

File Photo:Omuselikale wa police nga ali nabayizi be makerere Poliisi eyiiriddwa okwetolola ettendekero lye Kyambogo abayizi gyebali mu kwekalakaasa. Bano nga bakulembeddwamu akulira abayizi Ian Kafuko bategezezza nga obukyafu bwebususse naddala mu kabuyinjo, balya bubi sso nga n’obutebe kwebasomera tebumala nga abamu basoma bayimiridde.   Wabula abakulira ettendekero lino batimbye ekiwandiiko ekiraga nga bwebaguze obutebe obusoba mu 6000 kale…

Read More

Ba yinginiya tebalina bukugu

  File Photo: Abazimbi nga bakoola ogwa bwe Kizuuliddwa nga kumpi kitundu kyabayinginiya bonna mu ggwanga bwebakola emirimu gyabwe nga tebalina lukusa kukakkalabya mirimu gyabwe. Kino kibikuddwa ssentebe w’ekibiina ekiwandiisa bayinginiya Micheal Moses Odong Odong agamba eggwanga lirina bayinginiya abasoba mu 800 wabula nga 400 bokka bebaandiise kale nga abasinga bekolera byabwe. Biono abyogedde ayogerako eri bayinginiya abasoba mu 200…

Read More

Ekibuzaawo abantu kyongedde okutwala abalala

File Photo: Abaana nga bakukusibwa Abantu bomu Gombolola ye Mpunge e Mukono bali mu kutya olwekibuzaawo bantu ekyeyongedde mu kitundu. Abantu abawerako beyongera okubula nebikolobero ngokuzikula abafu. Abatuuze okuva mu byalo 6 bazze okwetaba mu lukiiko lwebyokwerinda wabula mpaawo kitukiddwako. Abatuuze bavudde mu mbeera olukiiko nerusasika nga bawakanya banabyabufuzi abangi abazze, ababadde batandise okubasaba obululu, okubajja ku mulamwa mu…

Read More

Okusabira omulambo gwa minisita Mutende kutandise

File Photo: Omugenzi Dr Mutende Omulambo gw’abadde minisita w’ebyamakolero, James Mutende gutusiddwa ku kanisa ya Allsaints e Nakasero. Olunaku lw’enkya omulambo gwakutwalibwa mu palamenti ku lunaku olwokusatu. . Okusinziira ku minisita w’ebyamasanyalaze Irene Muloni omugenzi era bakumusabira ku kisaawe kya Cricket e Mbale nga era ku lunaku lwelumu wakukubibwako eriiso evvanyuma ku ssomero lya Mafudu Primary school. Omugenzi wakuzikibwa ku…

Read More

Abasomesa e Mukono bakaaba

File Photo:Abasomesa nga bekalakasa Abasomesa e Mukono bakaawu oluvanyuma lwempeera yaabwe kati emyezi essatu zebatanafuna. Abasomesa  ababadde bakulembeddwamu ssentebbe wa UNATU Nabungu  Josephin abatagadde kwatukiriza mannya gaabwe bavuddemu  mu masomero ga gavumenti agenjawulo. Waliwo abategezezza nti bbo babanja emyeze gisoba mu essatu kati 5 nga tebafuna ku ddente. Abasomesa  basinzidde ku mikolo gyabwe mu Kisister e Nagalama okuwogera…

Read More

Omuvubuka gumusinze

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda Omuvubuka ow’emyaka  20 asingisiddwa omusango gw’obuliisa manyi. Henry Muduuku alabiseeko mu maaso g’omulamuzi omukulu ku kkooti ento ey’okuluguudo lwa Buganda  Flavia Nabakooza era teyegaanye musango. Omulamuzi amusindiise ku meere e Luzira Okutuusa nga October 7th 2015 lw’anamusalira nga amaze okuwulira  gwebatusaako obuliisa manyi atabadde mu kkooti . Muduuku omusango yaguza nga July 19th…

Read More

Owa Boda bamufumise omusumaali mu matu

File Photo: Aba boda boda nga bogeeramu Omugoba  wa Boda Boda ku siteegi ye masanafu apookya na biwundu ababbi abeefudde abasabaaze byebamutusizzaako nga tebanabulawo na boda ye. Erias Kasango ow’emyaka 26 apangisiddwa omusabaaze okumutwala e Nansana wabula awo weyakomye okutegeera. Ono asangiddwa ng’afumitiddwa emisumaali mu matu era nga tajjukira byamutuseeko. Kasango tanaba kufuna bantu be olw’ensonga nti namba ya…

Read More

Abanyazi b’oku mazzi battiddwa

Poliisi ku bizinga bye Migingo esse abanyazi b’oku mazzi bana  nga nzaalwa ze Tanzania. Abanyazi bano kigambibwa okuba nga babadde batigomya abasuubuzi abakozesa omukutu gwe migingo Dorwe mu disitulikiti ye Namayingo Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti abanyazi bano babadde babba obutimba, ebidomola by’amafuta, ensimbi enkalu n’ebyamaguzi ebirala. Enanga ategeezezza nga bwebakolagana ne banaabwe mu…

Read More

Abakyala batabuse ku mateeka

Ab’ebibiina by’abakyala mu ggwanga bavumiridde ekya Palamenti olw’okuyisa enongoosereza mu tteeka erikwata ku by’okwesimbawo n’okulonda kwa Pulezidenti n’ababaka mu Palamenti. Kati abaagala okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bateekeddwa okusasula obukadde amakumi abiri okuva ku bukadde bwa silingi munaana eri ab’akakiiko k’ebyokulonda, ate abaagala okukiika mu Palamenti baakusasula obukadde bwa silingi busatu okuva ku mitwalo abiri. Abakyala abeegattira mu…

Read More

Lukyamuzi addukidde mu kkooti

Ssenkaggale w’ekibiina kya CP John Ken Lukyamuzi ayagala okulonda kwa 2016 kuyimirizibwe Ataddeyo omusango mu kkooti enkulu ng’alumiriza akakiiko akalondesa okuwandiisa ab’ekibinja ekikulemberwa Daniel Walyemera ate nga tebabamanyi Lukyamuzi yegasse wamu ne ssabawandiisi we Ssemusu  Mugobansonga n’alumiriza akakiiko akalondesa olw’okubayisaamu amaaso mu ngeri eyinza okubuzabuuza abawagizi ba CP. Bagaala kkooti eyimirize akakiiko akalondesa okutegeka okulonda okutuusa ng’ensonga za…

Read More