Kkooti eyimbudde omukyala eyakwatibwa ku palamenti wiiki ewedde.
Hamidah Nasimbwa ajjiddwaako emitwalo 30 ate abamweyimiridde nebalagirwa okuwa obukadde butaano ezitali za buliwo.
Kigambibwa nti bwezaali nga 27th September 2015 Hamida ne banne abaali bakulembeddwaamu meeya Mubarak Munyagwa beetaba mu kwekalakaasa ku palamenti ekimenya amateeka g’enkungaana
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda road Flavia Nabakooza omusango agambye nti gwakuwulirwa nga…
File Photo: Bus ya K K travellers
Baasi ebadde ewenyuka obuweewo ekoonye abantu bana nebafiirawo.
Akabenje kano kagudde wali e Kasana Luweero
Baasi ya KK travelers namba UAM 348 H abantu bano b’ekoonye babadde batambulira ku pikipiki.
Ayogerera poliisi mu bitundu bya Savannah, Lameck Kigozi agambye nti piki eno abadde etuddeko abantu bana agivuga abadde asala mu luguudo.
Kigozi agambye…
File Photo: Omusomesa ngali mu kibina
Nga abasomesa bajaguza olunaku lwaabwe olwaleero, gavumenti esabiddwa okwongera okuteeka essira ku mutindo gw’abasomesa ssaako n’okulaba nga bakolera mu mbeera eyeyagaza.
Omulamwa gw'olunaku gugamba nti okutereeza embeera z'abasomesa mu kuleetawo enkulakulana.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga James Tweheyo ategezezza nga abaana bangi kati bwebasobola okugenda ku ssomero wabula omutindo gw’abasomesa gukyaliko…
File Photo: Abayizi e Makerere bekalakasiza
Ab’ettendekero ekkulu e Makerere bakuddamu okutuula olunaku lw’enkya okusalawo ku ky’abayizi okusasula fiizi zonna mu sabbiiti mukaaga ezisooka mu lusoma .
Amakya galeero abayizi bakedde kwekalakaasa nga bawakanya etteeka lino nga bagamba nti linyigiriza omwana w’omunaku.
Mu nsisisnkano gyebabaddemu amakya galeero, ab’olukiiko olutwala ettendekero lino bategezezza nga bwebagenda okutula nabuli gwekikwatako okutuuka…
File Photo: Abantu nga balwanagana na bajasi
Mu ggwanga lya Burundi abantu bongedde okuttibwa nga kati 8 bakubiddwa amasasi mu kibuga Bujumbura agabagye mu budde.
Abatuuze bategezezza omukutu gw’amawulire ogwa Reuters nti poliisi n’abavubuka b’ekibiina ekiri mu buyinza ekimanyiddwa nga Imbonerakure bwebasse abantu bano nga kigambibwa baabadde babbaye amasimu okuva mu mayumba ag’enjawulo.
Emirambo gy’abano gisangiddwa nga gisibiddwa…
File Photo:Omukazi nga ajanjabwa omutwe
Bannayuganda balabuddwa okubeera abegendereza enyo eri embera y’obwongo bwabwe n’obwabalala.
Omulanga guno wegujidde nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza wiiki y’ebyobwongo etandikamokuva leero nga 5 okutuusa nga 10 October.
Omwogezi w’ekibiina ekigatta ababudabuda abantu mu Uganda Ali Male says ategezezza nga abantu bwebalina okwegendereza naddala nga bali ku mirimu era beyune amalwaliro…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Sembabule eriko omusajja ow’emyaka 35 gwekutte lwakugezaako kutta kitaawe.
Francisco Malinde omutuuze ku kyalo Lutunku y’akwatiddwa oluvanyuma lw’okulumba kitaawe Gerald Bbale n’effumu amutte lwakugaana kuwa nyina nyumba.
Abatuuze bebaddukiridde muzeeyi Bbale oluvanyuma lw’okulaya enduulu nga omutabani amutta.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza okukwatibwa kw’omuvubuka ono nga…
Poliisi mu disitulikiti ye Pallisa etandise okunonyereza ku kutibwa kw’abaana 3.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo abagenzi abamenye nga Charles Tukei, Joseph Adupa ne Francis Odeke bano nga batugiddwa emirambo gyabwe negisulibwa mu kitoogo kye Odwarata.
Kigambibwa nti abaana bano babadde benyigira mu bumenyi bw’amateeka obutali bumu ku kyalo wabula nga era bakyanonyereza…
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao tanasalawo ku ky’okwesimbawo ku bukiise bwa palamenti obwa municipaali ye Gulu mu kulonda kw’omwaka ogujja.
Mao agamba abantu bangi bazze bamusaba yesimbewo wabula nga akyayagalayo obudde okwebuuza ku kibiina kye.
Mao agamba okudda kwe mu palamenti kyandimalamu banne ababadde batunulidde ekifo kino amaanyi ekintu kyatayagala.
Mao yaliko omubaka wa municipaali ye…
Embeera ya kiyongobero mu maka g’abadde minisita w’ebyamakolero, James Mutende.
Abakungubazi bakyakungaanidde mu maka gano wali e Lukuli .
Zzo enteekateeka z’okuziika omugenzi zifulumye nga era omulambo gwakutwalibwa mu palamenti ku lunaku olwokusatu.
Okusinziira ku minisita w’ebyamasanyalaze Iren Muloni omugenzi era wakusabirwa ku kanisa ya All Saints ate ku lwokuna bamusabire ku kisaawe kya Cricket e Mbale nga…