File Photo: Kabaka nga yogeera
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muteebi 11 akunze abantu okujjumbira bulungi bwansi olwo basobole okulwanyisa endwadde.
Mu kusabira Omutanda okubadde mu muzikiti e Kibuli, Minisita wa ssabasajja akola ku byenjigiriza owe Dr. Twaha Kawaase agambye nti abantu okumala gamansa kasasiro kwekiviriddeko endwadde okweyongera.
Kawaase agambye nti ssabasajja kabaka ayagala abantu okuba abayiiya nga…
File Photo: Omusajja nga ka mukinya
Poliisi ye Kawempe eriko omukyala gw’enunudde okuva mu kinnya kya fuuti 50
Sarah Namatovu ng’alina olubuto lwa myezi mwenda kigambibwa okuba nti okugwa mu kinnya abadde agenze kutyaaba nku
Bba nga batuuze be Wamala e Kawempe nga ye Joseph Kibinge ategeezezza nti yabadde talina ssente n’atasobola kulekawo za manda
Aduumira poliisi ye Kawempe…
File photo: Enyonyi ku kisawe e'kajjansi
Abazungu mwenda ababadde batambulira mu nyonyi emitima gibewanise oluvanyuma lw’enyonyi eno okulemererwa omugoba waayo n’agikuba wansi
Atwala ebyentambula mu minisitule y’ebyentambula Benon Kajuna agambye nti enyonyi eno eyabise omupiira gwaayo ng’ekka.
Ababadde mu nyonyi eno bonna bavuddemu nga tebakoseddwa
Wabula tukitegeddeko nti ekifo awagwa enyonyi kijjudde binnya ng’enyonyi zisanga obuzibu nga zikka
Ekifo kino…
File Photo: Akulira Akakiiko ke byo kulonda
Abesimbyewo ku kifo ky’obukulembeze bw’eggwanga bakusunsulibwa nga 3 ne 4 November.
Okulangirira kuno kukoleddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu.
Kiggundu agambye nti balina obuyinza okusalawo nga bwebagaala era nga tewali yabasindikirizza
Zzo ennaku z'okuwandiisibwaako ababaka ba palamenti n'abalala zisigaddewo ku nga 2 ne 3 omwezi gwa December.
Ono era asabye abeesimbyeewo abaali…
File Photo:Omusajja nga yikuula entaana
Poliisi mu disitulikiti ye Moroto ekutte omusomesa w’ettendekero ly’e Makere lwakuyikuula ntaana.
Ronald Ntenze ne banne abalala 4 basimudde amalaalo galimbo y’ekeleziya ku kyalo Kangole wamu ne pasita olwababuzizza ekibasimuza amalaalo nebategeeza nga bwebaabadde bayikuula ekyobugagga kya Mercury.
Irene Aceng nga ye mwogezi wa poliisi e Karamoja akakAsizza okukwatibwa kwabano n’ategeeza nga bwebatataganya…
File Photo:Abasomesa ngali mu mutuulwa lwabwe
Abasomesa balayidde obutakkiriza bakungu mu minisitule ya bya njigiriza ku mikolo gyaabwe egy’abasomesa.
Emikolo gino gya nga ttaano omwezi guno nga gyakutambulirura ku mulamwa ogugamba nti sanyusa omusomesa ozimbe eggwanga.
Ssabawandiisi w’omukago gw’abasomesa James Tweheyo agambye nti abakulu bano baalya ensimbi z’abasomesa era tewali nsonga lwaki beefuula ababaagala
Tweheyo asabye gavumenti okukola ku…
File photo: Ababaka ba Palimenti
Ekiteeso kya palamenti okwongeza ensimbi ezisasulwa abesimbawo okukiika mu palamenti kikyajjamu abantu omwasi.
Olunaku lwajjo, palamenti yasazeewo nti buli ayagala okufuuka omubaka alina okusasula obukadde busatu okuva ku mitwalo abiri agabadde gasasulwa
Ababaka okuli Lulume Bayiga,Hassan Caps Fungalo ne Simon Mulongo bagamba nti kino kigenda kulemesa abavubuka okukiika mu palamenti n’okulemezaayo abakadde.
Bano basabye…
File Photo: Ezimu ku ngudo ezikoredwa ekitongole kya UNRA
Akulira ekitongole ky’enguudo ekya UNRA Allen Kagina alagidde nti abantu bonna abakosebwa okugaziya oluguudo lwa Northern Bypass basasulwe mu bwangu.
Ng’alambula oluguudo luno oluli mu kukolebwa, Kagina agambye nti bano abawadde emyezi ebiri okusasula abo bonna abagenda okukosebwa olwo omulimu gutambula nga tewali kusibamu.
UNRA yapatana ne kkampuni ya…
File Photo:Munyagwa nga tambula
Meeya we Kawempe Mubarak Munyagwa asimbiddwa mu kkooti gy’awerennemba n’emisango gy’okunyooma ebiragiro ebiri mu mateeka.
Munyagwa avunaaniddwa n’abantu abalala bana abasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Flavia Nabakooza.
Oludda oluwaabi lugamba nti Munyagwa ne banne bwezaali nga 29th omwezi oguwedde beetaba mu kwekalakaasiza ku palamenti nga tebafunye lukusa.
Beegaanye emisango era nebayimbulwa ku kakalu ka kkooti ka…
File Photo: Chris Mubiru nga akwalidwa e'Luzira
Eyali maneja wa SC Villa Chris Mubiru ajulidde ekibonerezo ky’emyaka 10 egyamuweebwa olw’okusiyaga omulenzi omuto.
Mubiru era mu kujulira kw’atadde mu kkootie nkulu ewakanya n’eky’okusingisibwa omusango.
Ono kkooti ento eya Buganda road yeeyamusingisa emisango era n’alagirwa okusasula obukadde 50 eri omuvubuka gweyaiyaga
Okusingisa mubiru omusango, omulamuzi yasinziira ku bujulizi obwaleetebwa abantu bataano…