Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Iran ekolokkose Saudi Arabia

File Photo:Omukulembeze wa Saudi Arabia Eggwanga lya Iran litegeezezza nga bweryafiiriddwa abalamazi 464 mu kanyigo k’abalamazi mu ggwanga lya Saudi Arabia. Ab’obuyinza mu ggwanga lino bagambye nti tebakyalina ssuubi lyakusanga munansi waabwe yenna ng'akyali mulamu kwabo bonna ababadde bakyabuze. Okusinziira ku b'obuyinza mu ggwanga lya Saudi Arabia, abantu  769 baafiira mu kanyigo kano e Mina nga bbo 934…

Read More

Okugema olukunsense kutuuse

Minisitule y’ebyobulamu yakugema abaana obukadde 7 okuva eri obulwadde bw’olukusense. Okugema kuno okwekikungo kwakutandika okuva nga 3 October omwaka guno. Minisita omubeezi ow’obujanjabi obusookerwako Sarah Opendi agamba bakugem abaana abatanaweza mwezi okutuusa kwabo abalina emyezi 59 okusobola okukendeeza ku kirwadde kino mu baana. Enteekateeka yonna esuubirwa okumalawo obuwumbi 33 nga era bakutwaliramu n’okugema ekirwadde kya Polio mu disitulikiti…

Read More

SSabalamuzi alumbye bannabyabufuzi

File photo: Ababaka ba Palimenti Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Magumba Katureebe avumiridde banabyabufuzi abeyingiza mu mirimu gy’esiga eddamuzi mu kifo ky’okutumbula obukulembeze obulungi. Katureebe ategezezza nti abantu abali mu buyinza nga bannabyabufuzi, ababaka ba pulezidenti, poliisi abamakomera n’abalala balina kukolaganira wamu okulwanyisa obuzzi bw’emisango emisango gireme kwetuuma. Katureebe bino abyogeredde ku kkooti enkulu e Soroti bw’abadde ayogerako eri abakulembeze…

Read More

Omufumbi asse omusomesa

File Photo: Police nga ekola ogwayo Entiisa ebutikidde abayizi n’abasomesa b’essomero lya  Kingsland Junior School Lwankoni mu disitulikiti ye Rakai oluvanyuma lw’omufumbi okubagulawo emmotoka y’essomero n’atomera omusomesa n’amutta wamu n’okulumya abayizi 3. Boaz Tumwiine nga musomesa wa luzungu y’afiiriddewo nga bbo abayizi abalumiziddwa bategerekese nga Everline Nalwanga 12, Phiona Nakeya 9, n’omulala ategerekese nga Juliet ow’emyaka  5. Omufumbi…

Read More

Abavuganya bawagidde okugoba abavubuka n’amaggye

File Photo: Ababaka mu Palamenti Abavuganya mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baanirizza eky’okugoba ababaka b’abavubuka , abakozi ne bannamaggye mu palamenti. Olunaku lwajjo, abalamuzi ba kkooti y’okuntikko bataano awatali kwetemamu basazeewo nti bano tebaddamu kulondebwa kubanga amateeka agabalambika tegaliiwo Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu agambye nti kino ssinga kyabeerawo dda naddala ku maggye kubanga tegalina gwegakiikirira okuleka…

Read More

Abasibe basusse obungi

File Photo: Abasibe ngabali mukoomera Alipoota efulumiziddwa eraga nti abantu bangi abakwatibwa tebatwalibwa mu kkooti mu budde ekisssa omugugu ku muwi w’omusolo. Alipoota eno evudde mu kuonyereza okukoleddwa aba Independent Development Fund ng’abasibe abasing bayisa ennaku ebbiri ezoogerwaako omuntu okutwalibwa mu kkomera. Okunonyereza kuno kutunuulidde amakomera 253 ng’abasibe 16,517 beebatunuuliddwa. Mu ngeri yeemu era kyazuuliddwa nti amakomera gajjula negabooga…

Read More

Omukozi abadde akabasanya omwana

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda Waliwo omukyala wa myaka 22 akwatiddwa ng’akabasanya akaana akalenzi ka myaka etaano. Christine Nakato ng’abeera Walufumbe e Kyanja y’abadde Akaka akaana kano okumukozesa mu nsonga z’omukwano Nakato mukozi wa waka era nga kigambibwa okuba nga abadde akozesa akakisa nga bakadde b’omwana tebaliiwo, n’amulagira okumumalako enyonta mu mukwano Omuwala ono asibiddwa mu kkooti kyokka…

Read More

Teri besimbyeewo kufuna ssente- beebajja okuwaayo

File Photo: Omubaka Odonga Otto nga nyonyora Palamenti esazeewo nti teri kuddamu kuwa Muntu yenna yesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga yadde ekikumi. Ekiteeso kino kireeteddwa omubaka we Aruu Odonga Otto era nekiwagirwa ababaka abawera. Otto agambye nti omuntu yenna w’atuukira okwesimbawo ateekwa okuba ng’ensawo ye ewera kale nga tebalina kubajinya nti babakwasizzaako. Mu kadde kano, omuntu yenna eyesimbyeewo ku bukulembeze…

Read More

Gavumenti yakujulira

File photo: Ababaka ba Palimenti Gavumenti emaze okussaayo okusaba nti okussa mu nkola ebyasaliddwaawo kkooti etaputa ssemateeka ku ky’ababaka b’abavubuka, abakozi n’abamaggye kuyimirizibwe Ssabawolereza wa gavumenti omukulu Fredrick Ruhindi agambye nti kituufu nti tewali mateeka malambulukufu ku ngeri bano gyebalondebwaamu kyokka nga byonna bisobola okukolebwaako. Ruhindi era atangaazizza nti ssi kituufu nti ababaka abaliyo mu palamenti bajjiddwaayo ng’akikkatirizza…

Read More

Okusobya ku baana kususse

File Photo: Omwana nga kutte ekipande Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Lwengo balaze okutya olw’emisango gy’okusobya ku baana egyeyongedde. Obubaka bwatikiddwa omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti  Richard Mwanje Ntulumenaye abitegezezza bannamawulire ku ofiisi ye. Ntulume agamba ekisinga okwenyamiza kwekuba nti absomesa ba pulayimila bebamu ku basinga okuzza emisango gino. Ategezezza nti mu bbanga lya mwezi gumu poliisi efunye emisango gy’okusobya…

Read More