File Photo: Kagina ngali mu lukiiko
Abakozi abawerera ddala 890 beebagobeddwa okuva mu kitongole ekikola ku by’enguudo ekya Uganda National Roads Authority.
Mu bagobeddwa kwekuli abaddukanya amawoofisi, abagula ebintu, ebali mu byempuliziganya, ba yinginiya n’abalala bonna ababadde bakola mu kitongole kino.
Kino kikoleddwa okweruula okujjawo omujiji omukadde gwebalumiriza okulya enguzi okuzzaawo abapya abagenda okuwandiisibwa
Akulira UNRA Allen Kagina agambye…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Maama w’omwana eyagaana okumusindika ku ssomero nga kitaawe afudde ayolekedde okusindikibwa mu kkomera.
Omwana ayogerwaako wa myaka 11 nga yagaana okugenda ku ssomero ng’asiiba akaaba olw’okufiirwa kitaawe
Wabula omwana ono kati bamugobye ku ssomero lwabutasoma nga ne nyina ayolese okusindikibwa mu kkomera
File Photo :Kabaka nga samba omupiira
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi asiimye enteekateeka wamu n’obuganda okweyiwa obungi mu kisaawe e Namboole ku mpaka z’amasaza ez’omupiira ezakamalirizo ezaaliwo ku lw’omukaaga.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyemizanyo mu Buganda Herny Ssekabembe ,Omutanda atendereza abategesi olw’okukunga abantu mu bungi okweyiwa mu kisaawe e Namboole.
Omutanda era asiimye engeri abantu gyebatuzibwamu…
File Photo: Omusawo nga koola ku mukyala oli olubuuto
Minisitule ekola ku by’obulamu etendese abasawo abasoba mu 7000 , nga bano bagenda kujanjaba bakyala abagyamu embuto nezibeefulira.
Tutegeezeddwa nti bano okutendekebwa kiddiridde naddala abawala okukulamu embuto nebamala nebeekekwa era bangi mu kino nebafa
Kamisona akola ku by’okuzaala mu ministule eno Dr.Collins Tumwesigwire atugambye nti newankubade mu mateeka ga…
File Photo: Binaisa ngali mu kooti
Mutabani w’eyaliko omukulembeze wa Uganda Godfrey Binaisa kkooti ejulirwamu emujjeko omusango gwokukabasanya omwana atanaba kwetuuka.
Francis Birungi Binaisa, abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye be basazizzaamu ekibonerezo eky’okumusiba emyaka 12 egyali gimuweereddwa kkooti enkulu wano mu Kampala.
Binaisa yali yasingisibwa omusango gw’okukozesa omwana ow’emyaka 12, mu mwaka gwa 2012…
File Photo: Abatuuze be nga bakumyamye
Ku kyalo Bunyagangasa mu disitulikiti ye Sironko,poliisi ebakanye n’omuyiggo gwa Taata akkidde omwana ow’emyaka 5 gyokka n’amutugga ekiso okukkakkana ng’amuse.
Agavaayo galaze nga James Jiga yabadde muganzi w’omukyala maama w’omwana ono, wabula bwebaafunyeemu obutakkaanya ekiruyi n’akimalira ku mwana.
Ayogerera poliisi ya Uganda Fred Enanga atubuulidde nti omusajja ono olumaze okuzza emisango n’adduka,…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Nsangi wano mu Wakiso eriko omukyala gw’eggalidde , nga ono emulanga ku lunga butwa mu mere okukkakkana ng’abantu babiri bafudde , ssonga bana bapookya.
Akwatiddwa ye Margret Babirye omutuuze we Nsangi ku kyalo Kivu, oluvanyuma lw’okujulira abaana be bataano emmere wamu ne kitaabwe wabula bano olwamaze okulya nebatandiika okusesema…
Kooti etaputa ssemateeka eragidde omubaka we Bukonzo East Yokasi Bihande Bwambale okwamuka palamenti era azze omusaala gwonna gw’abadde afuna.
Ono avunaanibwa kunyaga obukadde 20 ezaali ez’okukulakulanya ekitundu kye mu mwaka 2009-2010.
Tutegeezeddwa ng’abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma bwebakkaanyizza nti akageri kekiri nti kkooti ewozesa abalyake yakakasa nti Bwambale ono yalya ensimbi zino, mu kaseera…
Kyaddaaki ekibiina kya NRM kitaddewo olw’okusatu luno ng’olunaku kwebagenda okulondera abakulembeze b’ebyaalo mu gombolola ye Rubaga wano mu Kampala.
Kinajjukirwa nti okulonda kuno kwayimirizibwa oluvanyuma lw’abantu abawerako okwemulugunya ku mivuyo egyetobeka mu kulonda kwonna, era nga mu kaseera kano akalulu kakubibwa ku kitebe kya NRM ezisangibwa ku luguudo lwe Kyadondo e Nakasero.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. Tanga…
Eyaliko meeya wa Kampala r Al- Hajji Nasser Ssebaggala alemereddwa okutwala ebyetaagisa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Ssebaggala olw’eggulo lwaleero abadde azizzaayo emikono gy’abantu abamusemba, wabula nekizuulibwa nti olukalala lwabadde aleese lubaddeko akabuuza
Wabula Ssebaggala atugambye nti abantu be mu kaseera kano bakola kyonna ekisoboka okukola ku mbeera eno
N’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi ng’ayita mu bannamateeka…