File Photo: Besigye Ekanya ne Muntu nga begeyamju
Akutte bendera ya FDC Dr. Kiiza Besigye azzeemu okwekandagga okufuluma akafubo k’omukago gwa TDA.
Besigye nga yakafuluma ategeezezza bannamawulire nti abasigaddeyo basobola okusalawo.
Besigye agambye nti ye yesimbyeewo bwesimbi ng’okusalawo kuli eri omukago.
Bw’abuuziddwa oba akyakkirirza mu mukago, Besigye agambye nti awagira omukago kasita gubaako wegutuuka.
Yye Amama Mbabazi akyaali mu Lukiiko…
File Photo: Abantu nga bali ku lyato
Abantu babiri kikakasiddwa nti bafudde ate abalala musanvu tebamanyiddwaako mayitire oluvanyuma lw’eryaato mwebabadde batambulira okubbira.
Akabenje kano kabaddi wakati w’omwalo gwe Dolwe ne Sagit ng’eryaato eribaddeko abantu 23 likoonye olwaazi neribbira.
Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa Busoga Ashiraf Chemonges agambye nti abantu bano babadde bava Masese e Jinja nga badda dolwe…
File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu
Abantu abakagyayo empapula z’okwesimbawo ku bwa pulezidenti baweze 49.
Amakya galeero Grace Musimani naye yegasse mu lwokaano lw’abayagala okuvuganya pulezidenti Museveni nga ye asuubizza okutumbula eby’obulimi.
Musimani ategezezza nti bangi bagyeyo empapula naye nga tawulira akoona ku kyakutumbula byabulimi kwekusalawo yesowoleyo.
Akakiiko k’ebyokulonda wiiki ewedde kayongezaayo nsalesale w’okuzzaayo empapula zino okuva nga…
File Photo: Kabaka nga yogeera
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II avumiridde ebikolwa by’okusaddaaka abaana ebyeyongedde okwetolola eggwanga.
Mu bubaka bwe obwa Eid beene ategezezza nga okuyiwa omusaayi olw’obugagga bwetali nkola yamubuntu kale nga ekivve kino kisaanye okukoma.
Kabaka ategezezza nga Eid bwelina okubeera eyamakulu eri abakkiriza okujjukira nti ebisolo byebirina okusassakibwa sso ssi bantu nga…
File Photo: Omukazi nga akute omwana agidwa mu tooyi
Poliisi ye Mijwala mu disitulikiti ye Sembabule eri ku muyiggo gwa maama kalittima eyasudde omwanawe ow’ennaku 2 mu kabuyonjo.
Ebbujje lino nyina atanategerekeka lisangiddwa mu kabuyonjo ka Paddy Walakira omutuuze we Kanyumba ku kyalo lwamatabazi .
Omu ku batuuze Ignatius Lukandwa ategezezza nti omwana abadde agenze mu kabuyonjo y’awulidde…
File Photo : Abakaramoja
Abantu abaakafa enjala mu bitundu bye Karamoja kati baweze 28.
Enjala eno y’asooka kutondola abantu 11 mu bitundu bye Kambisi ne Kampswahili mu munisipaali ye Moroto .
Ssentebe w’ekyalo Kambisi Hajji Pamita ategezezza nga abantu mu kitundu kye kati bwebasiiba nga bezingidde mu nyumba awatali kyakulya.
Ye ssentebe wa disitulikiti ya Napak Joseph Lomonyang ategezezza…
File Photo: Akulira Aba ADF
Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’abayeekera ba ADF okulumba enkambi y’amagye eye Rusese e Mpondwe ku ssande.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri Maj. Ronald Kakurungu ategezezza nga bwewabaddewo okuwanyisiganya amasasi wakati w’abajaasi ba UPDF n’abayeekera abaabadde bagezaako okubba emmundu.
Kakurungu ategezezza nga omu ku balumbaganyi bweyatiddwa nga era abamu ku balumbaganyi…
File Photo: Mbabazi nga kutte omugo
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi addukidde mu kkooti ku nsonga z’okumulemesa okwebuuza ku balonzi
Ono awaabye bakozi mu kakiiko ssekinnoomu okuli akakulira Eng Badru Kiggundu, omuwandiisi Sam Rwakoojo ,omwogezi w’akakiiko Jotham Taremwa n’omumyuka we Paul Bukenya
Munnamateeka wa Mbabazi Severino Twinobusingye agambye nti abantu bano babawaabye nga sekinoomu okubayigiriza nti tebalina kulemesa…
File Photo: Abo mukago gwa TDA ngabali mu kutuula lwa bwe
Ng’abavuganya bakyagenda mu maaso n’okukuta okulonda anakwata bendera yaabwe mu kulonda kw’omwaka ogujja, ababaka abamu batandise okwekengera.
Bano batudde olunaku lwajjo lwonna kyokka nebafundikira ng’era tebalonze yadde nga kati kyakakasiddwa nti olwokaano lwasigaddemu abantu babiri bokka.
Okusinziira ku babaka okuli Beatrice Anywar ,Oddo Tayebwa, ne Roland Mugume,…
File Photo: Abasilamu nga bagenda okusaala ebislolo ku Eid
Nga ebula olunaku lumu abayisiramu bakwate Eid enkulu ey’okusala ebisolo, abasuubuzi abatunda engoye z’ekiyisiramu bakaaba lwa baguzi abatalabikako.
Abasinga baayiye ekanzu ne Shariyah ku ngundo za Kampala wakati mu kulabiriza abasirikale ba KCCA.
Ku nguudo Shariyah zitandikira ku mutwalo okutuuka ku mitwaalo 3 ate nga mu maduuka ziva ku…