Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Amama ne Besigye beebasigadde mu mukago

Olwokaano lw’anakwatira omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti gusigaddemu abantu babiri bokka.   Ssenkaggale w’ekibiina kya DP  Nobert Mao n’eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga  Gilbert Bukenya bazze ebbali nebalekera DR Kiiza Besigye ne Amama .     Kaakati omwogezi w’omukago guno era akulira oludda oluvuganya gavumenti  Wafula Oguttu agamba olwaleero bakwevumba akafubo wakati wa Besigye ne Mbabazi okulonda anakwatira omukago guno bendera.   Abesimbyewo abana…

Read More

KCCA bagiwaabye, eboye taxi

Kkampuni eyazimba ekifo ekiwummulirwaamu okumpi ne kkanisa ya watoto eyagala KCCA egisasule obuwumbi musatu n’ekitundu lwakumenya ndagaano. Kkampuni eno emanyiddwa nga Jevi Media Solutions Ltd egamba nti KCCA yagiwa omulimu mu mwaka 2012 , bano baali balina okufuna ensimbi eziva mu birango ebissibwa ku kifo kino kyokka nga ssi bweguli. Kkampuni eno egamba nti yadde yamala emirimu,…

Read More

Amasomero gaggaddwa mu Kenya

Mu ggwanga lya Kenya namasomero gaggaddwa nga ensonga za musaala gwa basomesa Abasomesa kati babadde bamaze ssabbiiti ssatu nga tebasomesa nga bagaala kubongeza musaala. Kooti mu ggwanga lino yalagidde nti abasomesa bongezebwe omusaala n’ebitundu 50 ku kikumi kyokka nga gavumentie gamba nti tewali ssente Omukulembeze w’eggwanga lino Uhuru Kenyatta yategeeza dda ng’abasomesa bano bwebasasulwa obulungi ng’okubongeza kujja kukosa…

Read More

Omusirikale asse nyina

Ebadde ntiisa omusajja bw’atomedde nyina n’amuttira ewaka Ekikangabwa kino kibadde ku kyaalo Kakutu mu disitulikiti ye Kibuku Ayogerera poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo ategeezezza nga Adam Mulabbi bw’akoonye nyina w’emyaka 70 ategerekese nga Hajati Aziza Nisemba. Omusajja ono kigambibwa okuba nti abadde atuuse ewaka n’asimba emmotoka era n’avaayo okujja ebintu mu buutu kyokka nga tataddeemu buleeki…

Read More

Baryamureeba azizzaayoe mpappula

Eyesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga Venansius Baryamureeba akomezzaawo foomu ng’akungaanyizza emikono okuva mu disitulikiti 78 Wabula ono asanze obuzibu bwa maanyi olw’ebyuma ebiraga ensimbi ezisasuddwa okufa Omuntu yenna okwekakasibwa mu lwokaano lw’omukulembeze w’eggwanga alina okuleeta emikono okuva mu distulikiti 75 n’okuwaayo obukadde munaana Wabula Baryamureeba taweereddwa alisiiti yakuwaayo nsimbi zino olw’ebyuuma ebibabadde bitakola nga biraga nsimbi nfu Ono nno agambye…

Read More

Munyagwa ayimbuddwa

Meeya wa divizoni ye Kawempe Mubarak Munyagwa kyaddaaki ayimbuddwa Munyagwa yakwatibwa n’aggalirwa poliisi ye Kabalagala oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti ono yajja ku mugagga Francis Kakumba obukadde 60 ng’amusuubizza nti wakukozesa ekifo kye okumulonda ng;akulira olukiiko lwa disitulikiti e Kawempe. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti munyagwa bamukozesezza sitatimenti , era nga kwebaggya okusinziira okunonyereza. Enanga agamba nti…

Read More

Mukole nnyo

Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga asabye abantu okulemera ku byebakola lwebanaafuna byebeetaaga. Ng’ayogerako eri abantu be Wabigalo ababadde bakungaanye okusonda ettofaali, Katikkiro agambye nti ssi kyangu okuzza Buganda ku ntikko mu bigambo kyokka nga ssinga abantu bamanya kyebagaala nebakiremerako, bingi ebiggya okufunibwa Eno Katikkiro gy’asinzidde n’asaba abantu okulonda abo bokka abawagira enteekateeka za Buganda Obwedda katikkiro…

Read More

Aba NRM balwanye e Ssembabule

Abawagizi b’ekibiina kya NRM e  Sembabule  balumbye poliisi ye  Kiruhura nga bawakanya okuyimbulwa kw’abantu abagambibwa okutataganya  enkalala z’abalonzi b’ekibiina. Bano nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, bategezezza aduumira poliisi ye Kiruhura nga bwebatali basanyufu ku kuyimbulwa kw’abantu bano abasatu abasangula amanya gabamemba ku nkalala. Ku lwokutaano poliisi ye  Lushere mu disitulikiti ye  Kiruhura y’akwata abasatu bano…

Read More

Baryamureeba azzaayo leero foomu

Omu kubesimbyewo ku bwa pulezidenti Prof Venansious Baryamureeba asubirwa okuzzayo empapula z’okusunsulibwa okwesimbawo ku bwa pulezidenti olwaleero eri akakiiko k’ebyokulonda. . Baryamureeba asuubirwa ku kakiiko k’ebyokulonda amakya galero nga era enteekateeka yonna ey’okuzzayo ampapula ekomekerezebwa nga  September 29th. Abantu 48 bebagyayo empapula mu ntekateka eyaggulwawo nga 17 August.   Amyuka omwogezi w’akakiiko kano  Paul Bukenya agamba teri yesimbyewo kuggya na…

Read More

Leero lunaku lwa mirembe

Nga ezimu ku ngeri z’okujjukira olunaku lw’eddembe mu nsi yonna,olunaku lwaleero olwa nga , 21st September lulangiriddwa nga olunaku lw’okusomesa ku dembe mu massomero gonna mu Uganda. Okulangirira kuno kukoleddwa ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku byenjigiriza by’abaana  ekya  UNICEF. Atwala ekitongole kino mu ggwanga Aida Girma ategezezza nga bwebaagala okuyamba abaana okuwangalira mu mbeera ey’eddembe. Ye minisita…

Read More